TOP

Zari atunze ebya Ssemwanga ssezaala n'atabuka

Added 26th July 2017

Luyinda yafunye Bannamateeka e South Afrika okubalungamya ku ngeri gye bayinza okweddizaamu ebintu bya Ssemwanga

 Zari

Zari

Bya Martin Ndijjo

KITAAWE wa Ivan Ssemwanga omuto, Herbert Luyinda yagenze kipayoppayo e South Afrika oluvannyuma lw’okutegeezebwa nti Zari ali ku bintu bya Ssemwanga abitunda okubimalawo.

Luyinda yagenze ku lunaku lwennyini nga baziika nnyina wa Zari, ng’ekyamututte kulaba ngeri gy’aggya Zari mu bintu bya Ssemwanga okubiddukanya akole enteekateeka empya ez’okubirabirira bikuumibwe okutuusa abaana bwe banaakula.

Aba famire ya Ssemwanga abali mu South Afrika be baayise Luyinda nga bamutegeezezza nti ku ngeri gye balaba Zari yeeyisaamu, bwe watabaawo kikolebwa ebintu byonna ajja kubitunda abimalewo abaana baviiremu awo.

Ssemwanga bwe yali ku mmotoka ye Lamborghini.

 

Kyokka Zari bwe byamugudde mu matu nti Luyinda agenze South Afrika, naye olwamaze okuziika nnyina n’alinnyirawo ennyonyi n’ayolekera South Afrika bubeefuke n’aba famire ya Ssemwanga ku byobugagga by’omugenzi.

Luyinda e South Afrika yatuuseyo ku Ssande era ku Mmande ya wiiki eno yatuuzizza olukiiko mu maka g’omugenzi Ssemwanga e Waterkloof mu Pretoria olwetabiddwaamu abamu ku ba famire nga bakulembeddwaamu King Lawrence abaamulombojjedde embeera Zari gy’abayisamu omuli n’obutabawa mukisa kumanya bigenda mu maaso ku masomero g’omugenzi.

Zari era bamulumiriza okugaana akakiiko ak’abantu abana (4) naye kw’ali akaalondebwa famire okuddukanya emmaali y’omugenzi n’okuva ku bye bakkiriziganyaako ne famire, nga kati akola by’ayagala awatali kukubwa ku mukono.

Baganda ba Ssemwanga baamenyedde Luyinda emmotoka ez’ebbeeyi ezaali ez’omugenzi, Zari z’azze atunda ensimbi zonna n’azeekomya ng’ali ne bba, omuyimbi Diomand Platnamz.

Ku zino kuliko; Lamborghini, BMW X6 ne Range Rover Sport abooluganda lwa Ssemwanga gye bagamba nti yagitonera bba Diamond y’agicakaliramu.

Luyinda ng’abuuza ku Zari mu lumbe lwa nnyina ku Lwokutaano oluwedde.

 

ZARI AZZIZZA OMULIRO

Bwe yatuukiriddwa, Zari yagambye nti ekisinga okumubobbya omutwe, ye famire ya Ssemwanga okumulwanyisa n’awera nkolokooto nti ne bwe kinaaba kiki tajja kubakkiriza kuddukanya bintu bya Ssemwanga kubanga tebalina busobozi bubiddukanya.

“Olw’okuba tebanjagala kati batandise kunkonjera naye olutalo lwe balwana njagala bakimanye nti tebasobola kuluwangula.

Ssemwanga ng’akyali mulamu talina waaluganda yadde n’omu gwe yayingiza mu byabugagga bye. Emmaali yonna y’abaana si ya baaluganda nga bwe baagala,” Zari bwe yategeezezza ku ssimu.

Yagambye nti, mu kuziika nnyina yawulidde aba famire ya Ssemwanga nga balumiriza nti ensimbi ezijjanjabye nnyina zibadde za Ssemwanga kye yagambye nti si kituufu kubanga naye Zari ng’omuntu akola ate alina mikwano gye egiyinza okumuyambako.

EBY’OKUTUNDA EMMOTOKA

Ku nsonga eno, Zari yannyonnyodde nti emmotoka ekika kya Lamborghini, Ssemwanga yagenda okufa nga yagitunda dda ate Range Rover Sport yategeezezza nti eno Ssemwanga yagirekako ebbanja lya bbanka era olw’okutya bbanka okugitwala ssinga erinnya ku luguudo, yasalawo okugikweka okutuusa ssente ezibanjibwa bwe ziriggwaayo kuba azisasula mpola.

Wabula yakkirizza eky’okutunda mmotoka emu ekika kya BMW X6 ng’agamba nti erudde ng’etudde awaka kubanga ne Ssemwanga we yafiira yali takyagivuga n’asalawo okugitunda agulemu mmotoka za kabangali bbiri zikole emirimu gy’essomero.

 

ZARI NE KING LAWRENCE BEERANGIDDE

Zari alumiriza King Lawrence omu ku booluganda lw’omugenzi nti y’akuma omuliro mu lutalo olumugguddwaako n’okuwa Luyinda amagezi, ky’ayise okumuwubisa.

“Byonna ebigenda mu maaso nkimanyi King Lawrence y’abikola kubanga okuva Ssemwanga lwe yalwala, yasala olukujjukujju okwagala okugabana ku byobugagga by’omugenzi nze ng’omu kye nagaana,” Zari bwe yategeezezza.

Wabula King Lawrence naye gwe twatuukiridde ku ssimu e South Afrika, yawakanyizza eby’okwagala okugabana ku mmaali y’omugenzi n’agamba nti ky’ayagaza Zari kiri kimu kugoberera kyasalibwawo mu famire ku ngeri y’okukuumamu ebintu by’omugenzi.

Ettabi lya Brooklyn City Colleges ekkulu, erimu ku masomero ga Ssemwanga.

 

King Lawrence era awakanyizza Zari ku mabanja g’agamba nti Ssemwanga yagaleka n’agamba nti kano kakodyo ka Zari kuliirako ssente nga yeefuula aliko amabanja g’asasula.

King Lawrence yasoomoozezza Zari nti ddala bwe kiba kituufu nti omugenzi yaleka amabanja, aleete olukalala bw’abantu ababanja na ssente mmeka ze babanja abisse ku mmeeza bitunulwemu.

Olwaleero Luyinda ayise olukiiko e South Afrika gy’ali batuule nga ne Zari mw’ali bannyonnyolegane ku bigenda mu maaso n’oluvannyuma basalewo eky’enkomerero.

Luyinda yafunye Bannamateeka e South Afrika okubalungamya ku ngeri gye bayinza okukwatamu ensonga zino.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omu ku bakadde abasinga ob...

Omu ku bakadde ababadde basinga obukulu mu Uganda afudde!

Nantume ng'akaaba

Nantume atulise n'akaaba bw...

Omuyimbi Moureen Nantume atulise n'akaaba bw'ajjukidde engeri Katonda gye yamuggya mu bwayaaya n'amufuula sereebu...

Kangave ne Deborah nga bamema

Eyali omwogezi wa Poliisi a...

Eyali omwogezi wa poliisi mu bitundu okuli e Luweero ne Masaka, Paul Kangave ayanjuddwa mu bazadde ba mukyalawe...

Katikkiro Charles Peter Mayiga n'omuyimbi Carol Nantongo

Carol Nantongo afe essanyu ...

OMUYIMBI Carlo Nantongo kate afe essanyu Katikkiro Charles Peter Mayiga bwe yamuwaanye nti ayimba ‘ebiriyo'. ...

Nina Roz ne Daddy Andre nga bamema

Nina Roz asekeredde abamuye...

" NG'ENZE ne Andre abalala bali ku byabwe. Okukyala kuwedde kati mulinde kwanjula na mbaga," bwatyo omuyimbi Nina...