TOP

Owa MOVIT atuuyanidde mu kakiiko k'ebyettaka

Added 28th July 2017

Bwe baatandise okumubuuza annyonnyole ky’amanyi ku ttaka ly’e Jinja kwe yasengula abantu, awo n’asaba Omulamuzi Catherine Bamugemereire amukkirize ayogere mu Lunyankole kubanga mw’asinga okwegazaanyiza.

Simpson Birungi owa MOVIT ne Jovias Birungi mukyala we nga yaakatuuka mu kakiiko.

Simpson Birungi owa MOVIT ne Jovias Birungi mukyala we nga yaakatuuka mu kakiiko.

Bya BENJAMIN SSEBAGALA NE ALICE NAMUTEBI

OMUGAGGA wa MOVIT olwatuuse mu kakiiko akaamuyise ku by’ettaka kwe yasengula abantu, yasoose kulagirwa akube ebirayiro. Ekiragiro yakikubye mu Lungereza era akakiiko ne katandika okumubuuza nga kakozesa Olungereza.

Munnamateeka w’akakiiko Ebert Byenkya yamubuuzizza amannya ge mu bujjuvu n’emirimu gy’akola gyonna.

Yategeezezza nti ye nannyini kkampuni ya Simplastics ekola ebintu bya pulasitiki, dayirekita mu Birus Property Services era y’akulira Movit ekola ebizigo eby’olususu n’enviiri.

Bwe baatandise okumubuuza annyonnyole ky’amanyi ku ttaka ly’e Jinja kwe yasengula abantu, awo n’asaba Omulamuzi Catherine Bamugemereire amukkirize ayogere mu Lunyankole kubanga mw’asinga okwegazaanyiza.

 

Ekizimbe ekyazimbibwa ku ttaka erikaayanirwa.

 

Omulamuzi yalagidde bawummule nga banoonya omutaputa w’Olunyankole.

Awo abantu abaasengulwa mu kizimbe ekiri ku poloti 60/62 mu kibuga Jinja kwe kutandika okukuba jjejjerebu nti “Ettaka limulakidde.”

Birungi yabadde awerekeddwaako munnamateeka Bernard Mutyaba, era obwedda amwebuuzaako ku bibuuzo ebyabadde bimubuuzibwa.

Omutaputa w’Olunyankole yalabise era akakiiko ne kaddamu.

Baatandise okubuuza Birungi Badayirekita abalala mu kkampuni ya Birus mwe yayita okufuna ettaka eryo n’ategeeza nti kuliko ye (Simpson Birungi), Jovias Birungi mukyala we, Bernard Mutyaba omuwandiisi ku lukiiko lwa Birus era ye munnamateeka eyamuwerekeddeko, kuliko mutabani we n’ategeeza nti amannya g’abalala yabadde ageerabidde.

Byenkya yamujjukizza nti Mutyaba gwe yabadde atambudde naye ye muwandiisi wa kkampuni ate munnamateeka we n’olwekyo asobola okumutuma n’aleeta ebiwandiiko ebirambika Badayirekita.

Byenkya yamulagidde annyonnyole ku ngeri gye yafunamu ettaka lino n’ategeeza nti babbulooka be baamutwalayo ne bamulaga poloti ng’eriko ekizimbe kikadde nnyo nga kirimu abantu kyokka teyabeebuzaako kubanga batera okuwa ebitakwatagana.

Babbulooka baamutegeeza nti ettaka lino yali asobola okulifuna ku ssente entono ate nga liri mu kifo ekirungi.

Ettaka eryogerwako ly’eririko Busoga Mall ku Aridina road e Jinja ekizimbe ekikwatagana n’akatale k’e Jinja.

Byenkya yabuuzizza Birungi annyonnyole ku muwendo gwe yasasula okufuna ettaka lino n’ayanukula nti bwe yatuukayo n’alaba nga mulimu abantu n’asooka yeekuba ng’amanyi nti bajja kumutawaanya.

Babbulooka baamusaba ssente ebisigadde abibalekere babikoleko.

Akakiiko bwe kaamubuuzizza omuwendo gwa ssente ze yasasula n’ategeeza nti emyaka mukaaga mingi yabadde tasobola kujjukira.

Byenkya yamulabudde ayogere amazima kubanga okuwa eby’obulimba kivaamu ebizibu.

Yasumulukuse n’ategeeza nti yabasasula obukadde 70 bakole omulimu guggwe bamukwase ekyapa.

Baamubuuzizza erinnya lya bbulooka w’ettaka gwe yayitamu n’agamba nti ajjukirako limu lyokka erya Ibanda.

Yalabuddwa ajjukire ebintu nga bwe byali kubanga okwerabiralabira kiyinza okuvaamu ebizibu.

Byenkya yamubuuzizza oba bwe yagenda mu minisitule y’ebyettaka okulaba ebikwata ku ttaka teyakizuula nti poloti 60/62 yaliko liizi ya myaka 99.

Yategeezezza nti teyafaayo kusoma mu fayiro kumanya birimu.

 

Birungi yagambye nti bwe yamala okusasula n’atuma abantu abaamuleetera ebbaluwa eraga nti bamuwadde omukisa okugenda mu maaso.

Awo n’awandiikira Uganda Land Commission eyamuwa liizi ya myaka etaano kyokka nga bamulagidde nti singa emyaka etaano giggwaako nga tazimbye bagimuggyako.

 

Liizi yagisasulira 2,300,000/- olwo n’asasula 115,000/- nga “Ground rent”.

Alumirizza Otafiire

Birungi nga tannaba kutuula mu maaso g’Omulamuzi waasoseewo Emmanuel Olauna Orum eyali Under Secretary mu minisitule y’ebyobusuubuzi mu kiseera we baamenyera ekizimbe okwali abasuubuzi.

Olauna yategeezezza nti yawandiika ebbaluwa eraga nti ettaka eririko enkaayana mu kiseera kino yalaga nti tewaali buzibu okuliwa Birungi.

Yategeezezza nti waliwo eyakiikrira Birus eyamuvuga okumutwala e Jinja okulambula ettaka lino nga June 12, 2014 bwe yavaayo enkeera yamukeera bukeezi okumusaba amuwandiikire ebbaluwa emukkiriza okutwala ettaka lino.

Yategeezezza nti bino byonna yabikola ng’agoberera ebiragiro bya Gen. Kahinda Otafiire kubanga y’eyali minisita w’ebyobusuubuzi.

Yategeezezza nti yejjusa okubeera nga yakola kino kubanga azze akifuniramu ebibonerezo bingi okuva mu bakamaabe.

Abasuubuzi abaali bakolera ku kizimbe kino e Jinja abalumiriza omugagga wa Movit okubamenyera ekizimbe n’asaanyawo bizinensi zaabwe nabo baayongedde okumulumiriza ng’ali mu kakiiko.

Abasuubuzi abeegattira mu Aridina Twegaite Traders Association baalumiriza nti kkampuni ya Birus Property Services eya Birungi yamenyawo ekizimbe ng’eyambibwako poliisi mu matumbi budde ne bafiirizibwa.

Byenkya yamubuuzizza oba teyafuna kwekengera nga bamusasuza sente ntono okufuna liizi kyokka nga babbulooka yabawa obukadde 70 n’amuteeka ku nninga akakase oba ddala kuno tekwali kuwagira babbi okutwala ebintu bya Gavumenti.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mwanje (wakati) nga "bamunywedde"

Ofiisa munsonyiwe nva kuziika!

MAKANIKA eyeeyise owa poliisi bamukutte n’alwanagana n’abaserikale ng’agamba nti tebalina kye bayinza ku mukola....

Abawawaabirwa, Christine Guwatudde Kintu, Joel Wajala , John Martin Owor  ne Lutimba Kyeyune Fred Martin nga bali mu kaguli

Bana basimbiddwa mu kkooti ...

Abakungu bana okuva mu ofiisi ya Ssaabaminisita abavunaanibwa okulya eza COVID19 basindikiddwa mu kkooti ewozesa...

Sazir Lumala disitulikiti Kaadi w'e Mukono ng'ayogera n'abamawulire ku poliisi e Mukono.

Disitulikiti Kaadi w'e Muko...

Bya ERIC YIGA POLIISI e Mukono ekutte disitulikiti Kaadi waayo Sheikh Sazir Lumala naggulwako omusango gw'okukozesa...

Abasiraamu balabuddwa okuko...

BYA JAMES  MAGALA  Kino kidiridde Poliisi okuyoola abasiraamu 25 e Mpingi nga bagambibwa okuba abayeekera mu...

Bagudde ku mulambo gwa mutu...

Abatuuze b'e Kawaala zooni 2 mu divizoni y'e Rubaga baguddemu ekyekango bwe basanze mutuuze munnaabwe nga yafiridde...