TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Kayihura ayimirizza abaayamba MOVIT okusengula abantu

Kayihura ayimirizza abaayamba MOVIT okusengula abantu

Added 28th July 2017

Mu kiwandiiko ekyafulumiziddwa poliisi nga kiriko omukono gwa Gen. Kayihura, abaserikale abaayimiriziddwa ku mirimu bagenda kunoonyerezebwako ku ngeri gye beenyigira mu mivuyo gy’ettaka ly’e Jinja.

 Kayihura

Kayihura

Bya ERIA LUYIMBAZI

OMUGAGGA wa MOVIT yabadde tannatuuka mu kakiiko k’ebyettaka, ate Gen. Kale Kayihura n’agoba abaserikale bana mu ofiisi.

Kyaddiridde okubalumiriza mu kakiiko akanoonyereza ku mivuyo gy’ettaka nti baayambako omugagga Simpson Birungi okusengula abantu mu kizimbe e Jinja ne kimukwasibwa.

Kayihura yalagidde bave mangu mu ofiisi kisobozese okunoonyereza okugenda mu maaso.

Mu kiwandiiko ekyafulumiziddwa poliisi nga kiriko omukono gwa Gen. Kayihura, abaserikale abaayimiriziddwa ku mirimu bagenda kunoonyerezebwako ku ngeri gye beenyigira mu mivuyo gy’ettaka ly’e Jinja.

Ettaka lino lyakwasibwa Birungi oluvannyuma lw’okusengula abaali mu kizimbe era ebimu ku bintu byabwe ne byonoonebwa.

Abaserikale abaayimiriziddwa kuliko ACP Julius Twinomujuni ng’abadde akolera mu kitongole kya poliisi eky’amateeka ng’ono ya kulirako ekitongole kye by’ettaka e Kibuli.

SSP Edgar Nyabongo nga y’abadde aduumira poliisi mu kitundu kya Kidepo nga yaliko DPC w’e Ntebe n’okuduumira poliisi mu kitundu kye Kiira (Jinja).

Nyabongo ajjukirwa bwe yakwatagana amataayi ne Christopher Aine eyali kanyama wa Amama Mbabazi mu 2015, poliisi bwe yali eremesa Mbabazi okukuba olukuhhaana e Jinja.

Mu kakiiko, Nyabongo yalumirizza Twinomujuni nti ye yamuwa ebiragiro kwe yakolera ku by’ettaka lino. Abalala SSP Apollo Kateeba nga y’abadde aduumira poliisi e Kasese (Rwenzori East).

Nga tannatwalibwa Kasese yasooka kukolera Katwe ng’omuduumizi wa poliisi n’atwalibwa e Kibuku oluvannyuma n’atwalibwa e Jinja ng’omuduumizi wa poliisi wakati wa 2012 ne 2014 emivuyo ku ttaka lino we gyabeererawo.

Mu kakiiko, ono ye yagambye nti byonna bye yakola yali agondera biragiro ebyamuweebwa omugenzi Andrew Felix Kaweesi mu kiseera we yaduumirira ebikwekweto mu ggwanga. SP Felix Mugizi naye yawummuziddwa era mu kiseera emivuyo ku ttaka eryo we gyabeererawo yali yatwala poliisi y’e Jinja.

Ono ye yabadde abuzaabuza akakiiko era omulamuzi Bamugemereire n’alagira banne be yabadde nabo mu kakiiko okumukwata era yasuze mu kaduukulu ka poliisi. Mu kiseera kino abadde DPC wa Kumi.

Kayihura bwe yabadde mu kakiiko kano yasoose kuteekebwa ku nninga annyonnyole engeri poliisi gye yayamba omugagga okutwala ettaka lino, wabula yabadde azze ne boofiisa be bonna abaatambulirwako ensonga be yasabye bannyonnyole.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sazir Lumala disitulikiti Kaadi w'e Mukono ng'ayogera n'abamawulire ku poliisi e Mukono.

Disitulikiti Kaadi w'e Muko...

Bya ERIC YIGA POLIISI e Mukono ekutte disitulikiti Kaadi waayo Sheikh Sazir Lumala naggulwako omusango gw'okukozesa...

Abasiraamu balabuddwa okuko...

BYA JAMES  MAGALA  Kino kidiridde Poliisi okuyoola abasiraamu 25 e Mpingi nga bagambibwa okuba abayeekera mu...

Bagudde ku mulambo gwa mutu...

Abatuuze b'e Kawaala zooni 2 mu divizoni y'e Rubaga baguddemu ekyekango bwe basanze mutuuze munnaabwe nga yafiridde...

Owoolubuto lw'emyezi 8 alum...

ZAKIYA Sayid omutuuze mu Sankala zooni-Lukuli mu munisipaali y'e Makindye apooceza mu ddwaaliro lya Ethel clinic...

Ssaabawandiisi w'ekibiina kya Nrm Justine Kasule Lumumba ng'ayogera mu lukung'aana lwa NRM

Aba NRM bawagidde enkola y'...

EKIBIINA kya NRM kiwagidde enteekateeka y’akakiiko k’ebyokulonda ey’okuwera enkungaana mu kampeyini z’akalulu ka...