TOP

Omujaasi wa UPDF afiiridde mu sauna

Added 28th July 2017

Tinka abadde kasitoma waffe okumala ebbanga ddene ate nga tayosa nnaku naye kyatukubye wala kubanga tubadde tetufunangako mbeera bw’etyo.”

 Gen. David Muhoozi ng’ateeka ekimuli ku ssanduuko omuli omulambo gwa Tinka. Mu katono bwabadde afaanana.

Gen. David Muhoozi ng’ateeka ekimuli ku ssanduuko omuli omulambo gwa Tinka. Mu katono bwabadde afaanana.

Bya Joseph Makumbi

ABAKUNGUBAZI bawuniikiridde olw’engeri ey’entiisa omujaasi alwanye entalo e Congo, Somalia ne mu bukiikakkono bwa Uganda n’aziwangula nga tatuusiddwaako yadde ekisago gye yafudde ng’ava mu sauna.

Maj. Alex Tinka 44, yafudde ku Mmande ekiro mu ddwaaliro ly’e Nakasero oluvannyuma lw’okufuna obuzibu nga yaakamala okweyoteza ku Canopy Country Club e Mutungo.

James Wandera alabirira ekifo kino yannyonnyodde engeri Tinka gye yatuuse okufunira obuzibu mu kifo kyabwe n’engeri gye yatwaliddwa e Nakasero Hospital gye yafiiridde n’agamba nti; Zaabadde zikunukkiriza ssaawa 1:00 ey’akawungeezi, Tinka n’ajja ne mukwano gwe omukyala ne bayingira sauna okwoyoteza.

Yamazeeyo akaseera akawera era zaabadde nga ssaawa 3:00 ez’ekiro n’afuluma n’agenda n’anaaba era n’ayambala bulungi n’atuula mu ntebe alinde munne gwe yabadde azze naye eyabadde akyali munda.

Ebweru waabaddewo bakasitoma abalala abaabadde batudde nga nabo bava mu sauna.

Mukulu w’omugenzi, Jordan Tinka ng’asitudde omu ku bamulekwa, addiriddwa nnamwandu. Baabadde mu kusabira omwoyo gw’omugenzi.

 

Baamulabye ayeba omulundi gumu ne bamuggya mu ntebe mwe yabadde atudde ne bamugalamiza wansi wabula ng’embeera ye eraga nti obulamu bugenda.

Omukyala gwe yabadde naye yatidde nnyo n’okumukwatako teyamukutteko n’akubira mukwano gwa Tinka Herbert Kamugisha essimu mu bwangu.

Herbert yatuuse era omukazi n’amugamba nti ali mu paakingi.

Mu kiseera ekyo nange nabadde nnoonya ddereeva waffe tumutwale mu ddwaaliro wabula nga talabika ne ngamba Herbert asembeze mmotoka ya Tinka ne tumuteekamu ne ntuula ne mmuteeka omutwe mu kifuba kyange.

Bwe namukutteeko nawulidde ng’entunnunsi zikuba kitono ne mmanya nti obulamu asigazza butono ne mbagamba tumutwale mu ddwaaliro ery’okumpi ne balemerako nga bagamba nti waliwo muganda wa Tinka eyakubidde abasawo e Nakasero era balinze.

Omukazi gwe yabadde naye mu mmotoka yatudde mu maaso naye ng’atidde nnyo.

Twagenze okutuuka e Nakasero ng’abasawo balinze wabula waayise eddakiika nga 20 omusawo n’akatutema nti afudde!

Tinka abadde kasitoma waffe okumala ebbanga ddene ate nga tayosa nnaku naye kyatukubye wala kubanga tubadde tetufunangako mbeera bw’etyo.”

OWOOLUGANDA EYAMUYODDEYODDE ANNYONNYODDE

Herbert Kamugisha eyayitiddwa nga Tinka amaze okugwa yategeezezza nti, ku Mmande ku ssaawa nga 4:00 ez’ekiro baamuyise nga Tinka agudde kyokka teyategedde nti ayinza okuba nga yabadde afudde.

Yagambye nti yamututte mu ddwaaliro e Nakasero nti kyokka baagenze okumuyingiza mu kasenge nga yakutuse dda era abasawo baamutadde ku byuma bimuyambeko okussa wabula ne birema.

Yagasseeko nti, abasawo baabategeezezza nti omutima gwalemereddwa era kirabika nga kye kyamuviiriddeko okufa.

AMAGYE GAMUKUNGUBAGIDDE;

Eggulo, baategese okusabira omwoyo gwa Tinka ku Church Of Resurrection e Bugoloobi bannamagye abaakulembeddwa omuduumizi waago Gen. David Muhoozi, aba famire n’emikwano gy’omugenzi ne batendereza emirimu gy’akoledde eggwanga.

Okusaba kuno kwakulembeddwa Rev. Capt. David Sserunjoji. Gen. Muhoozi yategeezezza abakungubazi nti, Tinka tabadde mulwadde wa kintu kyonna, ekibakwasa ennaku, obulwadde bwamusanze mu mirembe gye ne bumukwata ddakiika budakiika ng’afudde.

Yagasseeko nti, ebitonotono bye baakafuna okuva mu lipooti y’abasawo eyakoleddwa, omutima gwalemereddwa kyokka n’abategeeza nti ebirala bajja kubibategeeza leero mu kuziika.

“Ng’abaganda bwe bagereesa nti awafiira omuzira tewaba nsiitaano, ne Tinka we yafiiridde tewaabadde nsiitaano,” Gen. Muhoozi bwe yagambye.

Yagaseeko nti, omugenzi akabanga akatono k’amaze ng’aweereza eggwanga lye, alese omukululo ogutaliiko nziro yonna.

NNAMWANDU AKAABIZZA ABAKUNGUBAZI

Nnamwandu Maureen Tinka bwe yakutte akazindaalo okwogerako eri abakungubazi, yagambye nti bba yavudde awaka ku makya n’agenda okukola wabula bwe zaabadde zinaatera okutuuka mu ssaawa z’atera okuddirako awaka, yagenze okutunula ku ssimu ye ng’alabako essimu ya mulamu we Barnabas Tinka gy’ataakutte.

Yagambye nti zaabadde mu ssaawa 3:00 ez’ekiro era wayise akaseera katono n’addamu n’amukubira n’amugamba nti bba afunye obuzibu ali ku ddwaaliro e Nakasero wabula yagenze okutukayo ng’afudde.

Bino yabadde tannabimala mu kamwa, amaziga ne gamuyitamu n’abakungubazi abaabadde bamuteze amatu n’okumwegeka amaaso nabo ne batandika okukaaba ne bamuggyawo. Kamugisha yagambye nti, Tinka agenda kuziikibwa leero e Rwampara mu disitulikiti y’e Mbarara.

Alese abaana bana okuli n’omulenzi gwe yazaala ng’akyasoma kati ali ku yunivasite.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ezimu ku Akeedi z’omu Kampala. Mu katono ye Minisita Amelia Kyambadde

Minisita Amelia alambise ku...

EKIRAGIRO ky'okukkiriza abasuubuzi abakolera ku nguudo za Nasser ne Nkurumah kyawuddemu abasuubuzi abakolera mu...

Omulambo gwa Lubanga nga kukomezebwawo awaka. Ku ddyo, ye Ssendi eyasse kitaawe

Akubye kitaawe akakumbi ku ...

OMUVUBUKA akkakkanye ku kitaawe n’amutema enkumbi bbiri ku mutwe n’amutta ng’amulanga okumulyako emmere buli lunaku...

Abaana nga bagumbye ku

Bakubye ssengaabwe mu mbuga...

ABAANA batutte ssengabwe mu kakiiko k'eggombolola y'e Kyazanga nga bamulumiriza okubawuddiisa ne yezibika obukadde...

Komakech n'ebizibiti bye ku poliisi y'e Kawanda.

Abadde yakayimbulwa e Luzir...

Komakech ategeezezza nga bwabadde agenda okufa enjala nga yali asiiga njala z’abakazi wabula okuva bwe bayimiriza...

Testing video to see if it ...

aojdjadjdadojajdndn