TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Famire ya Mulindwa Muwonge egobye abakazi 3 n'abaana 8

Famire ya Mulindwa Muwonge egobye abakazi 3 n'abaana 8

Added 28th July 2017

Bayola yategeezezza Bukedde nti omuwendo gw’abaana ba Mulindwa Muwonge kati guli 30 abalala abatali mw'abo bateekwa okusooka okwekeneenyezebwa ennyo wabula bwe kinaakakasibwa nti baana ba mugenzi bajja kuyisibwa kyenkanyi ng'abaana abalala bonna.

Amaka ga Mulindwa amakulu. Mu katono Mulindwa bw’abadde afaaanana.

Amaka ga Mulindwa amakulu. Mu katono Mulindwa bw’abadde afaaanana.

Bya HANNINGTON NKALUBO

ABA famire ya Mulindwa Muwonge bataddewo akakiiko akasunsudde abaana omugenzi be yaleka era ne kagoba abakyala basatu n'abaana baabwe munaana ababadde baasooka okussibwa ku lukalala.

Olukalala olwabaddeko abaana 38 kati lusigaddeko 30 era kino Bammemba b'akakiiko baakituuseeko nga bamaze okwetegereza ebimu ku biwandiiko Elias Mulindwa Muwonge bye yalekede mikwano gye ab'omunda.

Abaana omunaana be baagobye ne bannyaabwe, kisaliddwaawo bamale kutwalibwa bakeberwe omusaayi (DNA) okukakasa nti ddala Mulindwa Muwonge y'abadde abazaala.

Omugabi Mulindwa Muwonge eyafudde ku Lwokusatu lwa wiiki ewedde yalese abakazi abawerako be yazaalamu abaana era wadde baasooka kwesowolayo musanvu, abalala bana nabo beegasseeko wabula ku bano ne bagobako basatu n'abaana munaana abagamba nti Mulindwa ye kitaabwe.

Wadde Mulindwa yazaala mu bakazi bangi kyokka abatwalibwa nga Bannamwandu abatongole bali bana okuli Hellen Nambi omukyala omukulu atudde mu maka e Nalumunye, Conie Naluggwa omukozi ku leediyo Simba gwe yali yazimbira e Nansana n’abalala babiri.

Ensonda mu famire zaategeezezza nti ku baana omunaana be baagobye kwabaddeko babiri abaabadde wansi w'emyaka ebiri ate nga Mulindwa Muwonge yategeeza mikwano gye ng'obulwadde tebunnamugonza nti talina mwana ali wansi wa myaka ebiri.

Abaana abalala omukaaga baabadde tebalina we balabikira mu biwandiiko ate ng'abamu ku bano kizze kiwulirwa nti baagabwako mu bika ebirala.

Nga Mulindwa yaakamala okuziikibwa e Mwalo - Lwengo, olukiiko lwa famire olwakubirizibwa Swaib Muwonge (muganda wa Mulindwa Muwonge) lwatuula ne bakkaanya ku kakiiko ka bantu bana akanaddukanya ensonga za Mulindwa era ekimu ku bye baalina okutandikirako kwe kusunsula abaana n'abakyala bamanyire ddala abantu abatuufu be balina okuyambako.

Olukiiko lwa famire baalwanjulira abantu abana era ne balutegeeza nti abantu abo, Mulindwa Muwonge yennyini ye yabasalawo ng'akyali mulamu n'abakalaatira okutuukiriza obuvunaanyizibwa bw'okuddukanya ebintu bya famire ye engazi ennyo gye yalese.

Ku kakiiko kano kuliko abaana ba Mulindwa Muwonge abakulu babiri okuli munnamawulire Moses Bayola n’omusawo akolera e Kenya Habiba Namulindwa.

Bayola eyayogedde ku bya Mulindwa.

 

Abaana bano era be yali akkirizza okumujjanjaba e Nsambya okwewala akavuyo akaali kayinza okuleetebwa bakazi baggya. Omu ku baana Moses Bayola yagambye nti wadde abamu balowooza nti tebeemanyi kyokka abasinga bamanyiganye era abaana 30 tebaliiko kabuuza konna ye abamanyi era omugenzi weyafiira ng’amubalekedde ssaako okubassa mu kiwandiiko kyeyaleka ekibawa obuyinza.

Mulindwa Muwonge yasooka kukolera ku CBS gye yamala emyaka etaano ne yeegatta ku Super FM n'amalayo emyaka 10 oluvannyuma n'adda ku Star FM gye yabadde akola okutuusa lwe yafudde.

Bayola yategeezezza Bukedde nti omuwendo gw’abaana ba Mulindwa Muwonge kati guli 30 abalala abatali mw'abo bateekwa okusooka okwekeneenyezebwa ennyo wabula bwe kinaakakasibwa nti baana ba mugenzi bajja kuyisibwa kyenkanyi ng'abaana abalala bonna.

Abamu ku bamulekwa ba Mulindwa Muwonge (mu katono waggulu).

 

OKUSIKA OMUGUWA

Ng'oggyeeko okukoonagana mu muwendo gw'abaana kigambibwa nti ate wabaluseewo okusika omuguwa mu bannamwandu n’abaana ba Mulindwa Muwonge ku ngabanya n’enzirukanya y’ebyobugagga.

Abamu ku bakyala n’abaana Basiraamu ate abalala baatwala ddiini ya jjajjaabwe omukazi Maria Tereza Namagembe era Bakatoliki era akakuubagano kaatandikidde wano.

Kigambibwa nti abaana Abasiraamu baagala engabanya y’ebintu ekwatibwe mu nkola ya ddiini ya Busiraamu eya Sharia kyokka abatali Basiraamu tebakiwagira.

Mu byobugagga Mulindwa bye yaleka kuliko poloti endala nnya e Nalumunye abamu ku baana ne Bannamwandu ze balowooza nti byonna ekiseera kino biteekwa kugabibwa mu nkola ya Sharia.

Mu nkola eno emigabo egisinga obunene bagigabira Nnamwandu alina abaana abangi era kino abaazaala omwana omu oba ababiri bakiwakanya nnyo nga baagala engabana etambulire ku mateeka g'ensi era bikwasibwe ofiisi ya Administrator General abalamule.

Aba famire baasabye basisinkane pulezidenti Museveni bamubuulire bye bayitamu okuva Mulindwa Muwonge lwe yabafaako; kyokka ne ku nsonga eno waliwo okusika omuguwa ku baani abalina okusisi

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Embeera y'amasiro nga bwegali mu kiseera kino

Omuwanika wa Buganda Waggwa...

OMUMYUKA ow’okubiri owa Katikkiro era Omuwanika wa Buganda,Robert Waggwa Nsibirwa bwe yabadde asoma embalirira...

Abakozi abakolera mu Owino balaajanidde Gavumenti ku mmaali yaabwe

Abakolera mu Owino balaajan...

ABASUUBUZI abakolera mu katale ka St.Balikudembe balaze obutali bumativu olw'abeebyokwerinda okubagaana okutaasa...

Eyafumitiddwa ebiso nga bw'afaanana

Kamyufu afumise munne ebiso...

OLWAMAZE okufumita munne ebiso n’agenda nga yewaana nti, ‘mumaze naye agende yejjanjabe nga nange bwe ngenda okwejjanjaba’....

Nnamwandu Sarah Nassiwa ng'akungubagira bba

Kamyufu afumise munne ebiso...

OLWAMAZE okufumita munne ebiso n’agenda nga yewaana nti, ‘mumaze naye agende yejjanjabe nga nange bwe ngenda okwejjanjaba’....

Ronald Kyobe ng'alaga emmwanyi ze. Ebifaananyi bya Ssennabulya Baagalayina

Abalimi b'emmwanyi e Lwaben...

ABALIMI b'emmwanyi mu ggombolola y'e Lwabenge e Kalungu kwe basinzidde okusaba Gavumenti nti tekoma kubakunga wazira...