TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Okusimba ekipande ekyawula Buganda ku Bunyoro kuyimiriziddwa

Okusimba ekipande ekyawula Buganda ku Bunyoro kuyimiriziddwa

Added 28th July 2017

OMUKOLO gw’okusimba ekipande ekirambika ensalo z’essaza lya Buweekula ku Bukama bwa Bunyoro guyimiriziddwa abakungu ba Buganda ne Bunyoro bwe batakkaanyizza mu kifo awalina okusimbibwa ekipande na nsonga lwaki kyetaagisa okusimbibwa.

 Ekipande ekiraga Buweekula w’asaliza ku Bunyoro nga kiri ku mmotoka.

Ekipande ekiraga Buweekula w’asaliza ku Bunyoro nga kiri ku mmotoka.

Bya MUSA KABOGGOZA, Mubende

OMUKOLO gw’okusimba ekipande ekirambika ensalo z’essaza lya Buweekula ku Bukama bwa Bunyoro guyimiriziddwa abakungu ba Buganda ne Bunyoro bwe batakkaanyizza mu kifo awalina okusimbibwa ekipande na nsonga lwaki kyetaagisa okusimbibwa.

Omukolo gwabadde gwakubaayo ku Lwokusatu, era omumyuka wa minisita owa gavumenti ezeebitundu owa Buganda, Joseph Kawuki ne minisita Hajati Mariam Mayanja ow’ebyabakyala n’okutambula kwa Ssaabasajja, ekipande baabadde bakitutte ku mugga Nkuse awali ensalo kisimbibwe. Baasanzeewo ekibinja ekiva mu Bukama bwa Bunyoro nga kiriko abakungu b’Obukama abaabadde baalinze edda.

Kwabaddeko amyuka Katikkiro w’e Bunyoro ate nga ye minisita w’ebyamawulire, Ronald Isagala eyasoose okwemulugunya nti aba Buganda baabadde baleese ekipande ekisalawo ensalo nga tebamaze kubategeezaako.

“Buganda ne Bunyoro tewali alina buzibu ku munne, bannabyabufuzi be bakuma omuliro mu njawukana n’ensalo,” Isagala bwe yagambye.

Yawadde amagezi nti Buganda eyite abakulembeze ba Disitulikiti y’e Kakumiro ne Mubende bagonjoole ensonga y’ensalo, we banaasimba ekipande kya Buweekula we kijja okusimbibwa.

Ssentebe w’e Kakumiro, Joseph Sentayi Senkusu yagambye nti Buganda ng’eri wamu n’abakulembeze ba disitulikiti y’e Mubende bakola lukujjukujju okunyaga ekitundu kyabwe n’agamba nti kyetaagisa okusooka okukozesa abakugu bayambeko okugonjoola ensalo zino nti bwe binaaba bigaanye ng’ensonga bazongerayo mu Palamenti.

Okuva edda, ensalo za Buganda ne Bunyoro kibaddenga ku mugga Nkuse, wabula bwe baatondawo disitulikiti empya ey’e Kakumiro, abakulembeze ba disitulikiti eno ne bakyusa ekipande kya disitulikiti ne balya ku Mubende ekitundu.

Obutali bumativu ku ludda lwa Buganda awo we bwava, era gye buvuddeko abakungu okuva e Mmengo baalambula ekitundu kino ne balaba nga Bunyoro ekola kyoknna okusala ku ssaza lya Buweekula ekyezze.

Minisita wa Buganda Kawuki (ku kkono) ng’annyonnyola Senkusu Sentayi, ssentebe w’e Kakumiro . Addiriddwa Zziwa ow’e Mubende.

 

Luweekula (atwala essaza lya Buweekula) Immaculate Nantayi Kafeero yagambye nti obutakkaanya ku nsalo buludde. “Ab’e Bunyoro tebaawula bitoogo na mugga kale sisuubira nti enkaayana ziyinza okuggwa amangu,” bwe yagambye.

Amyuka sentebe wa disitulikiti y’e Mubende, Joseph Zziwa Amooti yagambye nti kyetaagisa ensonga zirinde mukama we kubanga ye yazitandika.

“Nze ndowooza ekipande kirina kusimbibwa wakati w’omugga Nkuse nga bwe kyabanga edda, kyokka kino Abanyoro tebakyagala,” bwe yagambye.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Katikkiro Mayiga ng’ayogera.

▶️ Ebibuuzo 10 eri Katikkir...

ABATAKA abakulu b'ebika n'abantu ab'enjawulo bavuddeyo ku byayogeddwa Katikkiro Charles Peter Mayiga ku mbeera...

Fr. Musaala ng'akulembeddemu okusinza.

▶️ Fr. Musaala ng'akulembed...

▶️ Fr. Musaala ng'akulembeddemu okusinza mu Lutikko e Lubaga.

Abamu ku ba NUP e Jinja.

Aba NUP bamalirizza olusiri...

PULEZIDENTI wa NUP, Robert Kyagulanyi Sentamu asabye bannakibiina abalondebwa ku mitendera egy'enjwulo naddala...

Ennyanja ya Kabaka.

Abadde adduka ekikwekweto a...

ABADDE adduka ekikwekweto kya poliisi ne LDU mu Ndeeba agudde mu nnyanja ya Kabaka mu Ndeeba n'afiiramu. Brian...

Ggoolokipa wa KCCA Charles Lukwago ng’abuuse okulemesa aba Villa okumuteeba.

KCCA ne Villa zeenyooma

Egyazannyiddwa mu liigi URA 3-1 BUL Kitara 0-3 Vipers Leero (Ssande) KCCA - Villa, Lugogo 10:00 KCCA ne...