TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Ebivvulu bya Lutaaya ne Namatovu e South Afrika bizzeemu obunkenke

Ebivvulu bya Lutaaya ne Namatovu e South Afrika bizzeemu obunkenke

Added 29th July 2017

OBUNKENKE bwefuze ekivvulu kya Geoffrey Lutaaya, Irene Namatovu ne kazanyirizi MC Mariach e South Afrika nga buva ku ntalo za Zari Hassan n’abehhanda z’omugenzi Ivan Ssemwanga abakaayanira ebintu bya Ssemwanga.

Mariach (ku kkono), Namatovu ne bba Lutaaya.

Mariach (ku kkono), Namatovu ne bba Lutaaya.

OBUNKENKE bwefuze ekivvulu kya Geoffrey Lutaaya, Irene Namatovu ne kazanyirizi MC Mariach e South Afrika nga buva ku ntalo za Zari Hassan n’abehhanda z’omugenzi Ivan Ssemwanga abakaayanira ebintu bya Ssemwanga.

Abayimbi bano abafumbo nga be bananyini kibiina kya Da New Eagles, baagenze e South Afrika ku Lwokusatu okukola ebivvulu mu bifo eby’enjawulo okusanyusa Bannayuganda.

Ku Lwokuna nga 27 July baakoze ekivvulu ekyasoose mu kibuga Durban ne boolekera ekyalo Umtata gye baabadde balina okukola ekivvulu ku Lwokutaano nga 29 kyokka olw’obunkenke obungi ne kiyimirizibwa ssaawa envannyuma olw’entalo mu Bannayuganda ezaalemeredde ab’ebyokwerinda okukkakkanya ne batuuka okwewera okulwanira mu kivvulu ekyo nga bakuhhaanye.

Obutakkaanya obusinga buli mu njawukana ng’abantu bano beetemamu okuva Ivan Ssemwanga lwe yafa ate ebintu bye ne bitandika okulwanirwa wakati wa Zari n’abehhanda za Ssemwanga.

Abamu bawagira Zari nti ye mutuufu okusigaza ebintu ebyo omuli amasomero ga Brooklyn Colleges nga gali mu bibuga eby’enjawulo mu ggwanga eryo n’ebyobugagga ebirala kubanga y’alina abaana ba Ssemwanga abasatu ate nga waliwo abawagira abehhanda nga bagamba nti emmaali ebeera ya kika noolwekyo ab’ekika batwale ebintu balabirire n’abaana nga bagamba nti Zari ssente ajja zizza mu za bba omupya, omuyimbi Diamond Platinumz.

Ssemwanga yayamba Bannayuganda bangi okugenda ku kyeyo mu ggwanga eryo, abamu y’abadde abalabirira ate ng’abalala y’abadde abakozesa, okuwa abalina obwetaavu omuli ne tikiti z’ennyonyi ne bakomawo okulaba ku bantu baabwe e Uganda n’ebintu ebirala bingi era abakwatako nnyo.

Wabula ebya Ssemwanga nga tebinnabaawo, Bannayuganda bano bemnyini baasangibwa n’entalo zaabwe ezirimu empalana z’emirimu ne batuuka n’okweroopanga ku poliisi nti gundi ne gundi tebalina mpapula oba viza zaabwe nga ziweddeko olwo poliisi bw’ebalondoola n’ebakwata ng’ebazza e Uganda.

Ensonda e South Afrika zigamba nti waliwo Bannayuganda bangi naddala mu tawuni y’e Umtata (Mthatha bwe bagiyita kati) nga y’esinga obunene mu ssaza ly’e Eastern Cape e South Africa abazziddwa e Uganda olw’empalana olwo ababagobesezza ne badda ku mirimu gyabwe abamu ne babalesaayo abaana, ebintu byabwe ne bakyala baabwe oba bonna okubazza n’abantu baabwe.

Ensonga endala eva ku ngabana ya ssente nga waliwo abakola ddiiru ne ziyitamu wabula engabana ya ssente n’egaana ne basalawo okweryamu akanaana ng’enjogera y’enaku nga kitegeeza okweryamu olukwe.

Abazziddwa emmaali baleka poliisi egibasuuzizza ate olwo abaawaddeyo amawulire agaaleetedde poliisi okukwata ababadde mu ddiiru ne bagabana ku kasiiimo akasuuziddwa bannaabwe.

Abategesi b’ekivvulu kino bagamba nti ebya Ssemwanga ewaabwe tebibadde nnyo na nsonga kubanga abadde asinga kugobera Pretoria gy’alina amaka wabula eby’empalana y’emirimu n’okweroopa mu poliisi ye yasinze okubakaka okusazaamu ekivvulu .

Abategesi baategeezezza Bukedde nti, olw’entalo ezo zonna, ebibinja ebinenehhana byabadde byeweredde okugwahhana mu malaka nga bisisinkanye ku kivvulu ekyabadde kirina okubagatta kwe kubatebuka ne kisazibwamu.

Namatovu eyabadde e South Afrika eggulo yategeezezza nti, baabadde tebayinza kulemerako ng’abaabasasudde babasabye baleke kukola kivvulu ekyo kwe kusalawo bamalirize ebivvulu byabwe ebiri mu bitundu omuli emirembe nga e Pretoria gye bakitegese leero ku Lwomukaaga ate ku Ssande babeere e Cape Town olwo bakomewo e Kampala.

Bino we bijjidde ng’obugulumbo obuliwo bwa bahhanda za Ssemwanga kutiisa kwasa byama bya Ssemwanga eyali agobeddwa e South Afrika n’adda e Uganda n’akyusa amannya n’afuna paasipooti mu mannya ga Ali Ssenyomo n’addayo ng’omuntu omulala era ng’ebyobugagga biri mu mannya ga Ssenyomo, wabula abaana bamanyiddwa nga ba Ssemwanga ekitegeeza nti omuntu yenna ayinza okuleeta obujulizi nti Ssenyomo yafa tazadde ne yeesiba ku bintu bya Ssemwanga abaana ne baviiramu awo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omusajja yansuulawo ng'omwa...

Nze Scovia Twetise 28, mbeera Bulamu-Gazaya, Texas. Mu 2005, nalina emyaka 15 omusajja yantuukirira n’ahhamba nti...

Eyagenda okusoma ddiguli e ...

Talina mpapula kw’akolera era agamba tasobola kudda kubanga bw’adda taddayo

Abatudde okuva ku kkono; Godfrey Nyola, Saul Kizito, Isaac Ngobya ne Pasita Paul Musisi ate abayimiridde okuva ku kkono; Kennedy Lubogo, Edward Baguma, Jimmy Ssekandi

Aba 'Former Footballers In...

Abaaguzannyako abaabaddewo kuliko; Saul Kizito (Nile FC), Isaac Ngobya (Bell), aba Express okuli Kennedy Lubogo,...

Kamaanyi eyatolosa Ssekabak...

Dan Kamaanyi, eyatolosa ssekabaka Muteesa II ekibabu kya Milton Obote eyalumba olubiri mu 1966 ng'ayagala okumutta,...

Muyigire ku bajulizi abakki...

MUK'OMULABIRIZI wa West Buganda Can.Elizabeth Julia Tamale y'ayigirizza mu kusaba okw'okujjukira abajulizi ba...