TOP
  • Home
  • Agawano
  • Abalema bakukkulumidde aba takisi olw'okubaboola

Abalema bakukkulumidde aba takisi olw'okubaboola

Added 29th July 2017

ABALEMA bakkukkulumidde aba takisi olw’okubaboola n’okubaleka ku nguudo ekibazibuwaliza entambula ne basaba abakwatibwako n’aboobuyinza babeeko kye bakola okubataasa embeera eno.

 Omu ku balema atambulira mu kaggaali Emphrahim Ddiba ng’ayogera n’okusindikibwa mu kagaali. EKIF: MUWANGA KAKOOZA

Omu ku balema atambulira mu kaggaali Emphrahim Ddiba ng’ayogera n’okusindikibwa mu kagaali. EKIF: MUWANGA KAKOOZA

Abalema era beemulugunya nti baboolebwa mu kukola enguudo nga tebateerwawo bifo we bayita ne we bayinza okusalira emmotoka ne zitabatomera.

Baagala ebitaala  ne ‘Zebra crossing’ bibeeko amaloboozi  agababuulira ebiseera we balina okusalira enguudo kuba abamu tebalaba ng’ate abalala bazisala kasoobo.

Bino bibadde mu lukiiko lw’okufulumya ebyavudde mu kunoonyereza ku ngeri tekinologiya gy’asobola okuyamba abalema olwabadde mu Hotel Africana.

Okunoonyereza kwakoleddwa ab’ekitongole kya Makerere University Child and Developement Centre n’aba yunivasite y’e Zurich mu Switzerland.

‘’Kizibu nnyo omulema okufuna takisi emutwala ne bw’ayimiriza bamutunula mu mutwe. Nze nsanga obuzibu nga ntambula okuva mu kitundu ekimu okudda mu kirala,’’ omu ku balema, Ephrahim Ddiba okuva e Kamwokya bwe yategeezezza mu lukiiko olwaguddwawo omumyuka wa sipiika Jacob Oulanyah.

Omumyuka wa sipiika Jacob Oulanya ( wakati mu ssuuti) n’abamu ku beetabye mu musomo

 

Ng’ayogera ku byazuuliddwa mu kunonyereza, Dr. Ronald Luwangula yategeezezza nti kyetaagisa enguudo okussibwako embeera esobozesa abalema okwetaaya nga batambula.

Yagambye nti abavuga obugaali bw’abalema tebalina we bayita nga bwe bagenda ku nguudo awayita emmotoka bafuumulwayo ng’ate bwe badda awayita ab’ebigere nabo babasindikiriza nti ssi ba bigere.

Yayongedde ku mabbali g’enguudo ebaayo emiti gy’amasannyalaze, ebipande nga byonna bizibuwaza abalema okweyambisaayo, n’asaba ebifo awali ebitaala wassibwewo ebyuma ebyogera ebisobola okulabula abalema okusala oba obutasala.

Morris Orwengo okuva mu KCCA yagambye nti bagezaako okutereeza embeera naddala bodaboda ezitawaanya abantu omuli n’abalema.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Spoon X Lounge bataddewo amaduuka

Corona anyize ab'ebbaala ne...

Eyo y'embeera ekirwadde kya corona we kituusizza bannannyini bifo ebisanyukirwamu naddala ebbaala. Oluvannyuma...

Omukazi yabuuka n'eyavaako ...

ABAKAZI abasinga tebalina bugumiikiriza! Maama w’abaana bange bwe bansiba mu kkomera e Luzira nagenda okuvaayo...

Pogba owa ManU (ku kkono) ne Zaha owa Palace baddamu leero okusisinkana.

ManU tetidde Crystal Palace

LEERO (lwamukaaga) zaakudda okunywa batabani ba Ole Gunnar Solskjaer (aba ManU) bwe banaaba balwana okukakasa ensi...

Bashir Mutanda

Mbarara etutte Bashir Mutanda

MBARARA City FC eraze amaanyi bw’esitukidde mu abadde omuteebi wa SC Villa, Bashir Mutanda n’assa omukono ku ndagaano...

Kizza (ku ddyo) ng’akwasa Mayeku omujoozi gwa URA.

Tukooye ennyonta y'ebikopo ...

SSENTEBE wa URA FC, James Kizza agambye nti ennyonta y’ebikopo ebasusseeko nga sizoni eno baagala basitukire mu...