TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Poliisi ekutte agambibwa okusasula'omutemu' amuttire mukazi we eyanoba

Poliisi ekutte agambibwa okusasula'omutemu' amuttire mukazi we eyanoba

Added 31st July 2017

Makanga yategeezezza Bukedde nti omulundi gwe yasooka okusisinkana omusajja ono yamusuubiza okumuwa ssente singa anaasobola okulondoola ssimu ya mukazi we n’azuula w’abeera n’amufunira n’omutemu anaamukuba amasasi n’amutta oba okumusalako omutwe.

 Lamula Namaato (32) (ku kkono) bba Kaweesi gwe yabadde apangisirizza abatemu okumutta ate owookubiri ye Zainabu Nagonje (24) naye eyabadde alina okuttibwa.

Lamula Namaato (32) (ku kkono) bba Kaweesi gwe yabadde apangisirizza abatemu okumutta ate owookubiri ye Zainabu Nagonje (24) naye eyabadde alina okuttibwa.

Bya ROGERS KIBIRIGE

POLIISI e Nansana eggalidde omusajja eyapangisizza omutemu okumuttira mukazi we Lamula Namaato gw’alinamu abaana bataano ng’amulanga kumukyawa n’afumbirwa omusajja omulala.

Zaifu Kaweesi omutuuze w’e Kibanga mu Masaka ye yakwatiddwa poliisi y’e Nansana eyakuliddwaamu omukwanaganya wa poliisi n’omuntu waabulijjo e Nansana Conrade Muzoora.

Kaweesi yavudde e Masaka ku Lwokutaano n’agenda e Nansana mu Ocheng zooni ewa mwannyina Rehema Namaganda okusisinkana Haruna Makanga gwe yawa omulimu gw’okumufunira omutemu anaasobola okukuba mukazi we amasasi oba okumusalako omutwe.

Ku Lwomukaaga ku makya, Kaweesi yakubidde Haruna Makanga asobole okumuleetera omutemu era ne basisinkana mu kabanda ka Nakakande akatunda amanda, ebyokulya n’ebirime we baabadde balukira olukwe okulaba nga battibwa mu bwangu baleme na kwetaba ku Duwa egenda okubeera e Kibanga mu August. Bano be baatemezza ku poliisi n’emukwata.

Makanga yategeezezza Bukedde nti omulundi gwe yasooka okusisinkana omusajja ono yamusuubiza okumuwa ssente singa anaasobola okulondoola ssimu ya mukazi we n’azuula w’abeera n’amufunira n’omutemu anaamukuba amasasi n’amutta oba okumusalako omutwe.

Makanga yaleeta mukwano gwe Sula n’asisinkana Kaweesi ne bakkaanya okumuwa emitwalo 40 okukola obutemu era ga mu kusooka yabaweereza emitwalo 15 ku ssimu n’addako n’abasindikira 90,000/- kyokka bino byonna babadde babitegeezaako poliisi y’e Nansana.

Yayongeddeko nti olumu baasisinkana mukazi we ono nga beefudde abamukwana era oluvannyuma ne bakubira Kaweesi essimu ne bamubuulira nti bamuzudde kyokka omutemu n’alemwa okumutta era bwe wayise ekiseera Kaweesi kwe kusalawo okudda e Nansana asisinkane ‘omutemu’ Sula amuggyeko ssente ze.

Kaweesi ng’atuusiddwa ku poliisi y’e Nansana bino byonna yabyegaanyi ng’agamba nti ye ekigendererwa kye yabadde ayagala Makanga amulondoolere mukazi we eyamubulako nga bafunye obutakkaanya asobole okumuzzaayo mu maka.

Yagguddwaako omusango gw’okugezaako okutta omuntu ku fayiro SD: 29/29/07/2017 ku poliisi y’e Nansana gy’akuumibwa ne mwannyina Nakakande ng’okunoonyereza bwe kugenda mu maaso.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abakungu mu kibiina kya Gen.Muntu nga baslaa Cake okwaniriza Winnie Kiiza

Winnie Kiiza yegasse ku kib...

OMUBAKA omukyala owa Kasese, Winfred Kiiza yegaasse ku kibiina kya Alliance for National Transformation (ANT) n’aweza...

Bannayuganda muve mu tulo -...

PULEZIDENTI Museveni akunze Bannayuganda okuva mu ttulo bataandike okusala amagezi g’okunoonya obuggagga n’asaba...

Gavana Mutebile

COVID19 ayigirizza Bannayug...

GAVANA wa bbanka enkulu Tumusiime Mutebile agambye nti Bannayuganda bagenda kukendeeza ku kumala gasasaanya nsimbi...

Nunda yeesize Katonda ku ky...

JACKSON Nunda olukutudde ddiiru ne URA FC n’asuubiza okuddamu okwaka nga bwe yali nga tannafuna buvune mu KCCA...

Golola

Golola alidde ogwa Tooro Un...

OMUTENDESI Edward Golola olumuwadde omulimu gwa Tooro United FC n’akomyawo banne bwe baawangula ekikopo ky’Essaza...