TOP

Eyayimbuddwa bamukutte abbye bodaboda

Added 6th August 2017

Baamusanze akukusa bodaboda ya munne eyabadde ebbiddwa emisana.

 Muhayire ku mpingu ne bodaboda gye yabbye.

Muhayire ku mpingu ne bodaboda gye yabbye.

Bya PATRICK KIBIRANGO

POLIISI y’e Kasubi ekutte owa bodaboda abadde yaakayimbulwa okuva mu kkomera ng’abbye bodaboda ya munne, agikukumye mu kasiko.

Ismail Muhayire 28, ow’e Kasubi mu Zooni I ng’avugira ku siteegi y’e Nakasero mu Kampala ye yakwatiddwa ku Lwokusatu ku ssaawa 2:00 ez’ekiro.

Baamusanze akukusa bodaboda ya munne eyabadde ebbiddwa emisana.

Bright Ndawula naye ow’e Kasubi mu Zooni 1 nnannyini bodaboda eyabbiddwa yagambye nti, yabadde agisimbye mu luggya lwa kawooteeri akamu e Kasubi ng’ayingidde kulya kyamisana ku ssaawa 8.00.

Bodaboda eno Bajaj Boxer nnamba UEC 553V, yagambye nti ya mukamaawe.

Agattako nti, yagenze n’ategeeza poliisi y’e Kasubi kyokka bano baamusibye nti ayinza okutaataaganya okunoonyereza kwa poliisi.

Shiba Nyombi akulira poliisi y’e Kasubi akakasizza okukwatibwa kwa Muhayire ku fayiro nnamba SD:22/02/08/2017 n’ategeeza nti waakutwalibwa mu kkooti. Ono abadde yaakayimbulwa ku bubbi bwa bodaboda.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Trump ne Biden

Omugagga asasulidde abasibe...

OMUSAJJA bifeekeera, omu ku basinga obugagga mu Amerika akutte doola obukadde 16 n’asasulira abasibe 32,000 engassi...

Omuyimbi Pia Pounds yeekokk...

Sheilah Gashumba kirabika kati ye yeekwatiramu mu kukuba ebifaananyi

Malokwezza ne mukazi nga bajaganya

Tofiri Malokweza (92): Ayog...

Bw’OLABA omuntu ow’emyaka 92 tolemwa kutendereza Katonda ate ng’eno bwe weebuuza ekyama kye ekimusobozesezza okuwangaala....

Ziza Bafana

Ziza Bafana akubye oluyimba...

OMUYIMBI Ziza Bafana akaaba lwa bizibu na mabanja ge yaguddemu oluvannyuma lw’okumukwata ng’ava okuyimba e Tanzania....

Eyamezze abawanvu mu kamyuf...

OMUYIMBI Ziza Bafana akaaba lwa bizibu na mabanja ge yaguddemu oluvannyuma lw’okumukwata ng’ava okuyimba e Tanzania....