TOP
  • Home
  • Amawulire
  • 'Eyasengula abantu e Nakaseke yannyiga ebitundu by'ekyama'

'Eyasengula abantu e Nakaseke yannyiga ebitundu by'ekyama'

Added 6th August 2017

Ayongedde n’ategeeza nti bino Yiga yabimutuusaako oluvannyuma lw’okumuteeka mu mmotoka ye n’amuvuga n’amutwala mu musiri gwa kasooli ng’eno gye yamwambulira engoye ng’ayambibwako ddereeva we n’akwata magalo n’amunyiga ebitundu by’ekyama era n’amulagira obutakuba nduulu kubanga yali ayinza okumutta.

 Ssali (ku ddyo) omu ku baatunza omugagga Yiga ettaka ng’ayogera n’abamu ku baabadde mu kakiiko k’ettaka.

Ssali (ku ddyo) omu ku baatunza omugagga Yiga ettaka ng’ayogera n’abamu ku baabadde mu kakiiko k’ettaka.

Bya EDWARD LUYIMBAAZI

OMWANA ow’emyaka 15 asinzidde mu kakiiko k’ebyettaka akakulemberwa omulamuzi Catherine Bamugemereire n’alumiriza omugagga, Hajji Swaibu Yiga agambibwa okusengula ebyalo 6 e Nakaseke okumutulugunya n’amunyiga ebitundu bye eby’ekyama ng’akozesa magalo.

Steven Mukumbya 15, ow’e Kabira - Kito mu disitulikiti y’e Nakaseke ategeezezza nti omwaka oguwedde Yiga yajja anoonya abantu abayinza okusimba kasooli mu ffaamu ye esangibwa e Mizimbo e Nakaseke era naye n’asalawo okugenda okukola omulimu guno.

Agamba nti mu April w’omwaka oguwedde, Yiga ng’ali ne ddereeva we baamutulugunya nga bamulumiriza okubba enkumbi, ejjambiya 15, bookisi 5 ez’eddagala, akasawo k’omuceere ne 800,000/- ezaali mu waleti kyokka ng’ebintu bino yali abibbye.

Ayongedde n’ategeeza nti bino Yiga yabimutuusaako oluvannyuma lw’okumuteeka mu mmotoka ye n’amuvuga n’amutwala mu musiri gwa kasooli ng’eno gye yamwambulira engoye ng’ayambibwako ddereeva we n’akwata magalo n’amunyiga ebitundu by’ekyama era n’amulagira obutakuba nduulu kubanga yali ayinza okumutta.

Mukumbya (ku ddyo) ng’alayira mu maaso g’akakiiko k’eby’ettaka.

 

Yeeyongera n’amulagira okwasama n’amunyiga magalo ku lulimi.

Mukumbya agambye nti yamutwala ewa ssentebe w’ekyalo kino n’ayita poliisi n’ategeeza nga bw’agenda okunsiba ne maama. we.

Yabakaka okukola endagaano ne maama we, Teddy Najjuma n’asasasula akakadde kamu obutabasiba era baatunda ezimu ku nte zaabwe okufuna ssente ezo.

Ebisago bino ebyamutuusibwako byamukosa nnyo kuba kati afuka musaayi n’ebyokusoma yabivaako bwatyo n’asaba akakiiko kano okumuyamba kalagire Yiga amujjanjabe nga newankubadde yafuna obujjanjabi mu ddwaaliro ly’e Kiwoko.

Omugagga yanteekako omusango

Mu balala abaawadde obujulizi mwabaddemu n’omusibe Godfrey Sekalongo eyaggyiddwa mu kkomera ly’e Wakyato ng’ono yategeezezza nti ali mu kkomera lino oluvannyuma lwa Yiga okumuteekako omusango gw’okubba ensawo 60 eza kasooli ezibalirirwamu emitwalo 30 ekitali kituufu.

Sekalongo ategeezezza nti nga July 29, omwaka guno ku ssaawa 2:00 ez’ekiro baamukwata ng’avuga pikipiki ye ng’aweeseeko mutuuze munne, Joseph Kasozi nga bayita mu faamu ya Yiga esangibwa e Manywa.

Yagambye nti okumukwata poliisi y’e Kapeeka yamala kukuba masasi mu bbanga ne bagwa wansi, Kasozi ne yeemulula n’adduka wabula ye baamukwata ne bagamba nti yali abbye ensawo za kasooli zino.

Ategeezezza nti ku Lwokuna nga August 3, yasimbiddwa mu kkooti y’e Kiwoko gye baamusomedde omusango guno n’asindikibwa ku limanda mu kkomera e Wakyato okutuuka nga August 17 omwaka guno.

Nnejjusa okuguza omugagga ettaka

Abantu abalala abawadde obujulizi kwabaddeko Robert Wamala Ssali ng’ono muzzukulu w’omugenzi Yakobo Lukwago eyali nnannyini yiika 1000 Yiga kwe yasengula ebyalo 6 ng’ono y’agambibwa okutunda erimu ku ttaka lino.

Ssali ategeezezza nti ku ttaka lye erisangibwa e Balatira eryamuweebwa jjajja we Lukwago yali aguzizzaako Yiga yiika 25 era nga yamala kukkiriziganya n’abatuuze abasangibwa ku ttaka lino oluvannyuma lw’okulemwa okwegula kyokka nga Yiga yalina okusooka okubaliyirira.

Bakkiriziganya nti ssinga Yiga agaana okubaliyirira yali agenda kweddiza ettaka lino wabula ssente ze bakkiriziganyaako obukadde 29 yamusasulako obukadde 12 bwokka.

Ssali bwe baamukunyizza yagambye nti yejjusa okuguza Yiga ettaka lino kubanga yeeyisizza bubi era ayagala kulyeddiza waakiri asasule mpola ssente ze yamuwaako.

Denis Kahubura omuwandiisi mu ofiisi y’ebyettaka e Bukalasa ng’eno Yiga gye yakozesa okwezza ettaka lino naye awadde obujulizi ng’ono akakiiko kamunenyezza olwa ofiisi ye okukola omuvuyo guno.

Eyaliko omulamuzi Kamugisha (akutte ebitabo mu kkooti) ng’akwatiddwa oluvannyuma lw’okutaataaganya emirimu gy’akakiiko.

 

Eyaliko omulamuzi akwatiddwa

Ng’akakiiko kawummuddemu ku ssaawa ttaano ez’oku makya, eyaliko omulamuzi wa kkooti y’e Nakawa, Gastone Kamugisha yakwatiddwa nga kigambibwa nti agezezzaako okutaataaganya emirimu gy’akakiiko kano atyoboola emirimu gy’akakiiko kano.

Omulamuzi Bamugemereire yalagidde n’akwatibwa n’atwalibwa ku poliisi y’e Wandegeya gye baamuyimbulidde ku kakalu ka poliisi naye ng’awereddwa okuddamu okukiika mu kakiiko kano wadde okwesembereza ekizimbe kwe katuula.

Swaibu Yiga yayitiddwa okweyanjula mu kakiiko kano naye teyalabiseeko era looya w’akakiiko kano, Ebert Byenkya n’ategeeza nti bagenda kuddamu okumuyita ng’akakiiko kano kazzeemu okutuula.

Oluvannyuma omulamuzi Catherine Bamugemereire yalangiridde nti akakiiko kawumuddemu okumala ebbanga eritali ggere.

Mu kiseera kino nga kawummudde, kagenda kuba kakola lipoota kw’ebyo ebivuddemu mu bbanga lye baakakolera ery’emyezi esatu.

Akakiiko kano kaatandika okukola mu May w’omwaka guno. 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mwanje (wakati) nga "bamunywedde"

Ofiisa munsonyiwe nva kuziika!

MAKANIKA eyeeyise owa poliisi bamukutte n’alwanagana n’abaserikale ng’agamba nti tebalina kye bayinza ku mukola....

Abawawaabirwa, Christine Guwatudde Kintu, Joel Wajala , John Martin Owor  ne Lutimba Kyeyune Fred Martin nga bali mu kaguli

Bana basimbiddwa mu kkooti ...

Abakungu bana okuva mu ofiisi ya Ssaabaminisita abavunaanibwa okulya eza COVID19 basindikiddwa mu kkooti ewozesa...

Sazir Lumala disitulikiti Kaadi w'e Mukono ng'ayogera n'abamawulire ku poliisi e Mukono.

Disitulikiti Kaadi w'e Muko...

Bya ERIC YIGA POLIISI e Mukono ekutte disitulikiti Kaadi waayo Sheikh Sazir Lumala naggulwako omusango gw'okukozesa...

Abasiraamu balabuddwa okuko...

BYA JAMES  MAGALA  Kino kidiridde Poliisi okuyoola abasiraamu 25 e Mpingi nga bagambibwa okuba abayeekera mu...

Bagudde ku mulambo gwa mutu...

Abatuuze b'e Kawaala zooni 2 mu divizoni y'e Rubaga baguddemu ekyekango bwe basanze mutuuze munnaabwe nga yafiridde...