TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Engeri Paasita w'e Kenya gy'afezeemu Abazungu ng'abaguza aba ana ab'ebyamagero

Engeri Paasita w'e Kenya gy'afezeemu Abazungu ng'abaguza aba ana ab'ebyamagero

Added 6th August 2017

PAASITA Munnakenya omufere bamutisse ku nnyonyi ne bamuzza ku butaka okuva mu Bungereza gy’amaze emyaka 14 lwa kubba baana mu malwaliro n’abanjula mu kkanisa ye nti baana ba kyewuunyo, abakazi be bafuna ng’amaze okubasabira!

 Paasita Deya (wakati) lwe yasisinkana Kkwiini.

Paasita Deya (wakati) lwe yasisinkana Kkwiini.

Bya MUSASI WAFFE

PAASITA Munnakenya omufere bamutisse ku nnyonyi ne bamuzza ku butaka okuva mu Bungereza gy’amaze emyaka 14 lwa kubba baana mu malwaliro n’abanjula mu kkanisa ye nti baana ba kyewuunyo, abakazi be bafuna ng’amaze okubasabira!

Obufere bwa Paasita Gilbert Deya 65, owa Gilbert Deya Ministries mu kibuga Peckham mu South London bw’efaanaanyirizaako obwa bapaasita b’abalokole bangi mu Uganda.

Deya yali yakuba abagoberezi be ‘akatabo’ nti asobola okusabira abakazi abatazaala, abakuliridde n’abo abalina obulemu bwonna obubagaana okuzaala, nti okumanya essaala ye ekola, mu myezi ena ng’akusabirre, ne bw’oba teweegasse na musajja ozaala omwana ow’ekyewuunyo!

Kyokka bazuuliddwa luvannyuma nti abaana abadde ababba mu mawanga ga East Afrika omuli ne Uganda, okusingira ddala mu ddwaaliro lya Pumwani Maternity Hospital mu Kenya gye kyazuuliddwa nti yabbayo abaana abamanyiddwaako bataano.

Ekimu ku kyambalo ky’Obwassabasumba ky’abadde akozesa okufera.

 

Omusango gumaze emyaka egisoba mu 10 nga gumusinze, naye akoze obukodyo bwonna obutazzibwa Kenya okutuusa enjogera ya guluma yaguzza bw’etuukiridde, wiiki eno ne bamuzza e Kenya.

Mu kibuga Peckham e Bungereza, Deya abadde yeeyita ‘Ssaabasumba w’e Peckham, nga yatungisa n’ekyambalo ng’ekya Ssaabasumba ky’akozesa okufera abantu.

Enjiri ye nga bw’olaba bano abakugamba nti jjangu n’eggi, enkoko oba ente ofune ekyamagero kyo, eyiye abadde awetera ku kya kusabira bakazi abagumba, ababuliddwa abaana n’abakazi abakuliridde mu myaka nga tebakyazaala, nti ye essaala ye ekola nnyo era omwana ofuna nga wa mwwoyo mutukuvu!

Era kyazuuliddwa nti abantu bangi ababbyeeko ssente buwanana, anti ‘abaguza’ abaana ab’omwoyo omutukuvu sso ng’ababbye bubbi. Kino kizzeewo nga mu malwaliro mangi mu Uganda babba abaana ku bakazi abakyali mu leeba.

Okusinziira ku mawulire g’e Bungereza aga Daily Mail, Deya abadde yeetaagibwa gavumenti ya Kenya avunaanibwe emisango gy’okuwamba n’okutunda abaana bataano be yawamba wakati wa 1999 ne 2004.

Ekkanisa ya Deya okusinziira ku kibanja kye ku yintanenti, eweza abagoberezi 34,000 mu Bungereza mwokka, kale abadde n’abantu bangi b’asobola okukamulamu ssente.

Obuvuyo bwa Deya bwatandika mu 2004, ye ne mukyala we Mary bwe baatandika okutegeeza nga bwe basobola okusabira abakyala abagumba n’abo abaayitako emyaka egizaala nga tebakyagenda na mu nsonga ne bazaala olw’amaanyi g’essaala!

Kigambibwa nti abadde abba abaana abali wansi w’emyaka 14 era wakati wa 1999 ne 2004 yabba abaana abasukka mu bataano mu ddwaaliro ly’e Kenya.

Gavumenti ya Kenya yatandika okunoonyereza n’okusaba Bungereza okubawa Deya azzibwe ku butaka gye yazza emisango gino avunaanibwe mu 2007 kyokka Deya abadde akuumibwa amateeka g’eddembe ly’obuntu mu Bungereza n’alema okuzzibwa ku butaka kati emyaka 10 be ddu!

Eyaliko minisita w’ensonga z’omunda mu Bungereza, Theresa May yalagira Deya azzibwe mu Kenya owozesebwe kyokka ekiragiro kino kyagwa butaka okutuusa jjo ly’abalamu abalamuzi bulijjo gy’addukira lwe bakkiriziganyizza ne bayisa ekiragiro azzibwe mu Kenya era nga kati akuumibwa mu kkomera okutuusa August 10 okuwuliriza okusaba kwe okw’okweyimirirwa.

Omuduumizi wa poliisi y’e Kenya, Joseph Boinnet yategeezezza nti Deya yazziddwa mu Kenya era oludda lwa gavumenti oluwaabi lwetegefu okumutwala mu kkooti avunaanibwe.

N’EKITIIBWA YAKIFERA

Deya abadde agamba abagoberezi be nti yaweebwa ekitiibwa kya Ssaabasumba mu Amerika mu 1992.

Kyokka abamumanyi nga bagamba nti Deya kuva mu myaka gya 1980 ne 1990 ng’atandika ng’abuulira njiri ku nguudo, kale nga beebuuza obwassaabasumba gye yabuggya!

Ate ng’okuva e Kenya, yagenda butereevu e Bungereza ne mukyala we ne batandika okufera Abazungu.

OLUGENDO LW’OKUMUZZA E DEYA

Deya yasooka kukwatibwa e Kenya mu December wa 2006, poliisi yaayo bwe yakolagana n’Ensi yonna ng’emulanga kubba baana.

Deya yeekubira enduulu mu kkooti z’e Bungereza, nti ssinga azzibwa e Kenya kijja kuba kirinnyirira eddembe lye ery’obuntu, wabula abalamuzi mu November wa 2007 kino ne bakiwaako ensala nti tewali ddembe lyonna liba lirinnyiriddwa.

Mu mwezi gwe gumu, Home Secretary wa Bungereza Jacqui Smith, yayisa ekiragiro okutikka Deya azzibwe e Kenya, kyokka Deya n’addukira mu kkooti ng’agamba nti mu kkomera ly’e Kamiti gye yali agenda okusibibwa batulugunya abasibe.

Ebyo yabitegeeza kkooti mu London mu December wa 2008, kyokka mu October wa 2008 yali amaze okussaayo ekiwandiiko ekirala ng’agamba nti e Kenya bamwagala lwa byabufuzi.

Mu August wa 2009, Home Secretary wa Bungereza Alan Johnson, yayimiriza okuzza Deya e Kenya bamale okunoonyereza ku mbeera z’ekkomera.

Ate mu October wa 2009, Deya n’ajja n’ekiwandiiko ekitaategeerekeka okuva mu bakulira ekkomera lya Kamiti ng’agamba nti e Kenya baami bamuggyeeko emisango gyonna, era bwatyo n’asigala mu Bungereza, kyokka mu June wa 2011, Gavujmenti ya Kenya yaweereza okwemulugunya kwayo, nti Deya ekiwandiiko kye yawa kkooti e Bungereza yali akijingiridde bujingirizi!

Mu September wa 2011, Home Secretary wa Bungereza Theresa May, yaddamu okulagira okuzza Deya mu Kenya, kyokka Paasita ne yeekubira enduulu ng’agamba nti ekkomera gye bamutwala bajja kumutulugunya nnyo.

Kino kyawaliriza mu November wa 2013, Lord Ramsbotham okuva mu Bungereza n’akyalira ekkomera ly’e Kamiti mu Nairobi era n’ategeeza nti embeera zaalyo zimatiza. Mu October wa 2015, Muky. May yaddamu okulagira Deya azzibwe e Kenya owozesebwe naye era tekyakolebwa.

Omwaka oguwedde, Deya yaddamu n’afuna ebiwandiiko ebirala nga biraga era nti Gavumenti ya Kenya tekyalina musango gw’emuvunaana era n’ebibaluwa bibakuntumye tebikyakola. Kyokka tebyaliko mikono na sitampu gy’abakungu mu Gavumenti ya Kenya era yabyegaana.

Okuva olwo entegeka z’okutikka Deya ne zitojjera buto, okutuusa omwezi guno lwe yakomezeddwaawo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abaana nga bagumbye ku

Bakubye ssengaabwe mu mbuga...

ABAANA batutte ssengabwe mu kakiiko k'eggombolola y'e Kyazanga nga bamulumiriza okubawuddiisa ne yezibika obukadde...

Komakech n'ebizibiti bye ku poliisi y'e Kawanda.

Abadde yakayimbulwa e Luzir...

Komakech ategeezezza nga bwabadde agenda okufa enjala nga yali asiiga njala z’abakazi wabula okuva bwe bayimiriza...

Testing video to see if it ...

aojdjadjdadojajdndn

Omusajja yansuulawo ng'omwa...

Nze Scovia Twetise 28, mbeera Bulamu-Gazaya, Texas. Mu 2005, nalina emyaka 15 omusajja yantuukirira n’ahhamba nti...

Eyagenda okusoma ddiguli e ...

Talina mpapula kw’akolera era agamba tasobola kudda kubanga bw’adda taddayo