TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Abakulu b'ekika bakubaganye empawa ku by'olumbe lwa Zigoti

Abakulu b'ekika bakubaganye empawa ku by'olumbe lwa Zigoti

Added 6th August 2017

EBY’OKWABYA olumbe lwa Enock Kisuule Kato Zigoti, eyali omugagga w’e Mityana byongedde okukaluba, omukulu w’essiga mu kika bw’ategeezezza nti olumbe yaluyimiriza dda ng’alaba abaana balina enkaayana ezeetaaga okusooka okumalawo.

 Omugenzi Kato Zigoti

Omugenzi Kato Zigoti

Bya KIZITO MUSOKE

EBY’OKWABYA olumbe lwa Enock Kisuule Kato Zigoti, eyali omugagga w’e Mityana byongedde okukaluba, omukulu w’essiga mu kika bw’ategeezezza nti olumbe yaluyimiriza dda ng’alaba abaana balina enkaayana ezeetaaga okusooka okumalawo.

Steven Sempewo, omukulu w’essiga lya Ndibaddukirawa omwali muva Zigoti mu kika kye Nnyonyi-Nakinsige yategeezezza nti yatuuza abaana b’ennyumba ya Mulaliira omuva omugenzi oluvannyuma lw’okubalaba nga balina enkaayana.

Bwe yalaba ng’ensonga zimulemeredde yasalawo okuyimiriza olumbe era n’abawa n’ebbaluwa eruyimiriza nga June 30, 2017.

Yawandiikira Katikkiro wa Buganda, Charles Peter Mayiga ebbaluwa ng’amusaba okuyingira mu nsonga eno.

Katikkiro ensonga yazikwasa, minisita we by’obuwangwa, Denis Walusimbi eyatuuza enjuyi zombi ku Lwokubiri nga August 1, 2017.

Minisita oluvannyuma lw’okuwuliriza enjuyi zombi yabasuubiza okubaddamu, kyokka nga we bwatuukidde ku Lwokutaano akawungeezi yabadde tannabaddamu.

Sempewo yeewuunyizza byawulira nti olumbe lwatambuzibwa ne lukkirizibwa kuba y’alina obuvunanyizibwa okulutwala ew’omukulu w’akasolya, ekintu ky’atakolangako.

Yagasseeko nti olumbe luno lwali lulina kumuleeterwa mukulu w’omutuba, Eria Mulaliira, era ng’ono ye mukulu w’oluggya era nga y’alina n’ekifundikwa ky’omukulu w’omutuba.

Kyokka Steven Kasanvu, muganda w’omugenzi yakakasizza nti olumbe lwatambuzibwa mu makubo amatuufu era n’omukulu w’ekika kye Nnyonyi-Nakinsige n’alukkiriza.

Omugenzi Kato ku mbaga yaabwe ne mukyalawe Rose Kato

 

OMUKULU W’EKIKA BY’AGAMBA

Omutaka Fred Mayega Kyeyune, Omukulu w’ekika ky’Ennyonyi Nakisinge, yategeezezza nti ye ng’omukulu w’ekika olumbe luno lwamutuukako nga balusaba okwabizibwa era n’abakkiriza okulwabya.

Yategeezezza nti omukulu w’oluggya ye yaluleeta ewuwe era n’alukkiriza.

Yagambye nti wadde abaana balinamu obutakkaanya ku nzirukanya y’ebyobugagga, kyokka kino tekiyimirizisa lumbe kuba olumbe nsonga za nnono.

Bwe yabuuziddwa eyatambuza olumbe okulumutusaako nga Eria Mulaliira omukulu w’oluggya era ow’omutuba awamu n’omukulu w’essiga nga tebakimanyi, yagambye nti omukulu w’oluggya ye yalutwala gyali.

Wadde omukulu w’oluggya teyamwogedde linnya eyamutwalira olumbe, kyokka abaana abawakanya olumbe okwabizibwa bagamba nti omukulu w’oluggya atali Eria Mulaliira y’ani?

OMUKUBIRIZA W’OLUKIIKO LWA BATAKA ALUhhAMIZZA

Omutaka Fredrick Kasibante Kayiira, omukulu w’ekika ky’ Embogo era omukubiriza w’olukiiko lw’Abataka yagambye nti ekigendererwa ky’okutambuza olumbe mubeeramu; okulaga obumu, okunyweza oluganda, okuggyawo enkaayana awamu n’okumanyisa abanti nti gundi yafa.

Mu kutambuza olumbe, obuvunanyizibwa butandikira mu nnyumba ne budda mu luggya, mu lunyiriri, ne bweyongerayo mu mutuba, mu ssiga okutuukira ddala ku mukulu w’akasolya.

Mu kutambuza olumbe temubeeramu kubuuka macco, wabula obeera olina okuyita mu buli mutendera.

Omukulu w’akasolya talina buyinza bukima lumbe wansi ku luggya oba ku mutuba alina kulinda mukulu wa ssiga n’amuleetera olumbe.

 

FAMIRE YA ZIGOTI EKYETEMYEMU

Olumbe lwa Zigoti lwategekebwa okwabizibwa ku Lwomukaaga nga August 12, 2017 e Zigoti.

Kyokka oluvannyuma abaana ne beetemamu olw’okulemwa okukkaanya ku nzirukanya y’eby’obugagga by’omugenzi.

Abaana abamu ne bannamwandu bawakanya eky’okwabya olumbe.

Baateeka ebirango mu mawulire nga balanga nti famire ya Eriya Mulaliira e Mairye Busujju omuzaalibwa omugenzi Kato Zigoti basazizzaamu olumbe olwali olw’okwabizibwa ku Lwomukaaga lwa wiiki eno.

Zigoti yaleka abaana 28 n’abakazi mukaaga.

Famire yeeyawulamu, abamu abakulemberwa namwandu Rose Kato ne Samuel Kasanvu, muganda w’omugenzi bwe baategeeza nti bo balina okwabya olumbe.

Zigoti olwafa obuvunaanyizibwa bw’okuddukanya ebyobugagga by’omugenzi byonna baali babitadde mu mannya ga namwandu Rose Kato.

Bakkaanya nti mu maaso bajja kulonderako abantu abalala, ekintu kye baagala okusooka okukola ng’olumbe terunnayabizibwa.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mwanje (wakati) nga "bamunywedde"

Ofiisa munsonyiwe nva kuziika!

MAKANIKA eyeeyise owa poliisi bamukutte n’alwanagana n’abaserikale ng’agamba nti tebalina kye bayinza ku mukola....

Abawawaabirwa, Christine Guwatudde Kintu, Joel Wajala , John Martin Owor  ne Lutimba Kyeyune Fred Martin nga bali mu kaguli

Bana basimbiddwa mu kkooti ...

Abakungu bana okuva mu ofiisi ya Ssaabaminisita abavunaanibwa okulya eza COVID19 basindikiddwa mu kkooti ewozesa...

Sazir Lumala disitulikiti Kaadi w'e Mukono ng'ayogera n'abamawulire ku poliisi e Mukono.

Disitulikiti Kaadi w'e Muko...

Bya ERIC YIGA POLIISI e Mukono ekutte disitulikiti Kaadi waayo Sheikh Sazir Lumala naggulwako omusango gw'okukozesa...

Abasiraamu balabuddwa okuko...

BYA JAMES  MAGALA  Kino kidiridde Poliisi okuyoola abasiraamu 25 e Mpingi nga bagambibwa okuba abayeekera mu...

Bagudde ku mulambo gwa mutu...

Abatuuze b'e Kawaala zooni 2 mu divizoni y'e Rubaga baguddemu ekyekango bwe basanze mutuuze munnaabwe nga yafiridde...