TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Eyapangisiddwa okutta omuntu yasasuddwa emitwalo 20!

Eyapangisiddwa okutta omuntu yasasuddwa emitwalo 20!

Added 7th August 2017

OMUKOZI wa kkampuni enkuumi eya Tiger Security Group Limited eyapangisiddwa okutta omuntu baamusasudde emitwalo 20 okutuukiriza omulimu.

 Bruhan agambibwa okupangisa Omala (mu katono) nga yeewozaako.

Bruhan agambibwa okupangisa Omala (mu katono) nga yeewozaako.

Bya MOSES LEMISA NE MOREEN NABWEETEME

OMUKOZI wa kkampuni enkuumi eya Tiger Security Group Limited eyapangisiddwa okutta omuntu baamusasudde emitwalo 20 okutuukiriza omulimu.

Yabadde waakwongerwa 100,000/- ng’omulimu agumaze. Kyokka n’abakulira kkampuni eno bagambye nti beetegefu okuyamba ku poliisi okumuwaako obujulizi kubanga y’avunaanyizibwa ku bikolwa bye ng’omuntu, kuba si nkola ya kitongole kyabwe.

Joseph Owulo, omu ku baddukanya kkampuni eno ekozesa Alex Omala yategeezezza nti beetegefu okuwa poliisi obujulizi bwonna kuba bbo tebakkiriziganya na bamenyi b’amateeka.

“Omala eky’okumupangisa agende atte omuntu yakikoze ku bubwe ng’omuntu so ssi kkampuni era ffe tuli beetegefu okukolagana ne poliisi okulaba ng’avunaanibwa.

Kkampuni yaffe eriwo kukuuma bantu n’ebintu byabwe, si kumenya mateeka.

Omusango bwe gumusinga oba bw’aguwangula tetukyamwetaaga, agobeddwa,” Owulo bwe yategeezezza.

Ku Lwokubiri akawungeezi, Alex Omala omutuuze w’omu Katanga mu munisipaali ye Kawempe ng’akolera mu kkampuni ya Tiger Security Group Limited esangibwa e Ntinda, yalumba Claire Nimusiima 25, ku mulimu w’addukanyiza ‘mobile money’ e Wandegeya n’ekigendererwa eky’okumutta kyokka essasi ne litamukwata bwatyo Nimusiima n’adduka.

Omala yakwatibwa poliisi y’omu Kimwanyi eduumirwa Lonah Kamugisha eyamwongerayo e Wandegeya.

Omala ng’ali ku poliisi yategeezezza nti waliwo mukwano gwe Bruhan Hakim omuzimbi eyamuwadde ddiiru y’okumuttira muganzi w’e Nimusiima ng’era baateesa amusasula emitwalo 30, n’amusasulako 20.

Bruhan naye yakwatiddwa kyokka ne yeegaana okupangisa Omala. Bagguddwaako omusango ku fayiro SD REF:63/02/08/2017

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Amaka ga Bisaka agali ku kyalo Kapyemi.

Obugagga bwa Bisaka buwunii...

OBUGAGGA Bisaka bw'alese obuli mu buwumbi buwuniikirizza abantu abagamba nti, tabadde na mulimu mutongole gw'aggyamu...

Abantu nga baaniriza Pulezidenti e Busega.

Abawagizi ba pulezidenti Mu...

Abawagizi ba pulezidenti Museveni wano mu Kampala bakwatiridde ku makubo okuva e Busega okumwaniriza nga bamukulisa...

Honarebo Ssegirinya ng'alumya abayaaye.

Ssegirinya wansuubiza okunf...

NKUBAKYEYO Goolixy Nalumansi eyali muninkini w'omubaka omulonde owa Kawempe North, Muhammad Ssegirinya akiise ensingo....

Kansala Bitamiisi (ku kkono) abantu gwe baagambye nti muto.

Omwana asuuzizza maama eggaati

ABANTU bawuniikiridde bwe balabye omuwala abamu gwe baayisa omwana ng'awangudde obwakansala okukiikirira eggombolola...

Bakaluba Mukasa.

NUP ewangudde disitulikiti ...

EKIBIINA kya National Unity Platform (NUP) kyeyongedde okweriisa enkuuli mu kulonda kwa bassentebe ba disitulikiti...