TOP

Kalinda: Baakaleeta abaana 28

Added 9th August 2017

Mwannyina wa Kalinda, Beatrice Nampiima yategeezezza nti ekituufu mwannyina alese abaana bangi era tamanyidde ddala muwendo mutuufu kubanga mulimu n’abalongo kyokka n’alaga essuubi nti bajja kubakuza mpola.

 Omugenzi Kalinda

Omugenzi Kalinda

Bya VIVIEN NAKITENDE

OMUGENZI Cranmer Kalinda yeegasse ku basajja emmekete ng’omugenzi Polof. Lawrence Mukiibi ne Mulindwa Muwonge, abakazi bwe batandise okusomba abaana nga we bwazibidde eggulo, abaana 25 be baabadde baakaleetebwa bamaama ab’enjawulo.

Omu ku bawala ba Kalinda abakulu, Dr. Fiona Kalinda, yakubirizza bamaama bonna gye bali okuleeta abaana babakumeekume babeere bumu nga abooluganda.

Ku baana bano kuliko abasajja abakulu n’abakazi abakulu ate n’abato ddala abali wansi w’emya etaano.

Abamu ku bamulekwa b’omugenzi Kalinda (ku kkono) mu kumusabira eggulo.

 

Mu bamu ku baana abaaleteddwa kwe kuli; Daudi Katudde, ng’ono ye mulenzi omukulu mu luggya, F. Kalinda, S. Kalinda, E. Muwanga, D. Mugambe, R. Muwanga ne J. Kalinda.

Abalala kuliko JM Kalinda, J. Mbolanyi, S. P. Nakandi, D. Nalubowa, nga bano be baasobose okutegeerekeko amannya. Abaana bano bali ne bannyaabwe mu bitundu eby’enjawulo.

Omu ku bannamwandu ayitibwa Betty Muhaye yalaze obweraliikirivu ku ngeri gy’agenda okulabiriramu abaana be ababiri bba be yamulekedde.

Nnamwandu Muhaye ne bamulekwa; Janet Museveni Nakalinda ali mu P5 (ku kkono) ne Daphine Nalubowa owa S2.

 

Muhaye agamba nti baasisinkana n’omugenzi Kalinda mu zimu ku kampeyini za Pulezidenti Museveni ne basiimagana era ekyaddirira kuzaala baana bano n’asaba pulezidenti Museveni abadduukirire bakuze abaana bano.

Mwannyina wa Kalinda, Beatrice Nampiima yategeezezza nti ekituufu mwannyina alese abaana bangi era tamanyidde ddala muwendo mutuufu kubanga mulimu n’abalongo kyokka n’alaga essuubi nti bajja kubakuza mpola.

MUSEVENI AWEEREZZA OBUBAKA

Mu bubaka Pulezidenti Museveni bwe yaweerezza mu kusabira omwoyo gw’omugenzi mu kkanisa ya St. Stphen e Kabowa, yayogedde ku mugenzi ng’akoledde ennyo NRM.

Minisita Beti Kamya ng’aganzika ekimuli ku ssanduuke ya Kalinda.

 

Obubaka buno yabutisse minisita wa Kampala, Beti Kamya n’agamba nti Kalinda amumanyi nnyo kye yava amuwa ebifo eby’enjawulo mu gavumenti ye.

Agambye nti Kalinda ng’oggyeeko okubeera omuwabuzi we, abadde mukwano gwe ng’omuntu, era asaaliddwa nnyo okuviibwako omuntu ow’omugaso bwatyo.

Asaasidde bamulekwa n’abeemikwano n’abakubagiza n’amabugo ga bukadde 10 gayambeko mu nteekateeka z’okuziika.

Okusaba kwetabiddwaamu abakulembeze mu biti eby’enjawulo okwabadde; eyaliko meeya wa Kampala mu myaka gya 1990 Christopher Mukasa Iga, nga ku mulembe gwe ne Kalinda yali kansala akiikirira Makindye mu lukiiko lwa KCC.

Amwogeddeko ng’omusajja omukozi, awaayo omutima gwe n’amaanyi ge gonna okutuukiriza obulungi ekyo ky’aba akutteko ate omwetoowaze.

“Emirimu gya Kalinda gyeyolekedde mu ebyo by’alese akoze, wadde afudde, naye asigaddewo nga mulamu olw’emirimu emirungi gy’akoledde eggwanga,” Iga bwe yagambye.

Aba NRM e Lubaga nga bateeka bendera y’ekibiina ku ssanduuke ya Cranmer Kalinda.

 

Mmengo esiimye Kalinda

Meeya wa Lubaga, Joyce Nabbosa Ssebuggwawo akiiridde Mmengo mu kusabira omugenzi, mu bubaka obuvudde e Mmengo basiimye Kalinda olw’okutumbula Buganda ng’ayita mu kusomesa n’okutumbula olulimi Oluganda ng’akozesa ekitone kye eky’okuwandiika ebitabo.

Baagambye nti, Kalinda atadde ettoffaali ddene, mu kuzimba Obwakabaka n’ekitiibwa kya Buganda ng’ayita mu kutumbula olulimi oluganda.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abamu ku Badiventi nga balaga ekkanisa yaabwe eyamenyeddwa.

Bamenye ekkanisa y'Abadiventi

ABAADIVENTI balaajanidde gavumenti n'ekitongole ky'ebyokwerinda kinoonyereze ku baamenye ekkanisa yaabwe. Ekkanisa...

Omubaka Ssebunya (akutte akazindaalo). M katono ye Nanteza

Nnamwandu wa Kibirige Ssebu...

OMUBAKA Kasule Sebunya owa Munisipaali ya Nansana agumizza Abalokole muka kitaawe be yagabira ettaka ng'akyali...

Omubaka Zziwa (ku kkono) ng’ayogera eri abakungubazi mu kusabira omwoyo gwa nnyina mu katono.

Batenderezza maama wa Marga...

BANNADDIINI batenderezza omukwano Josephine Mugerwa 76, Maama wa Margaret Zziwa Babu gw'abadde nagwo ne basaba...

Katende

Eyakubiddwa akakebe ka ttiy...

ABOOLUGANDA lw'omusuubuzi mu katale ka St. Balikuddembe eyakubiddwa akakebe ka ttiyaggaasi mu Kampala mu kwekalakaasa...

Ssegirinya atenda Nalufeenya

Ssegirinya yandyesonyiwa ''Struggle'' ! sikuntenda gyatendamu Nalufeenya.