TOP

Laddu ekubye abayizi 7; Bana bafu

Added 11th August 2017

Abatuuze n'abasomesa be Kitagobwa mu ggombolola ye Ngando mu Butambala bali mu kiyongobero oluvanyuma lwa laddu okukuba abayizi musanvu, bana ne bafiirawo basatu ne batwalibwa mu ddwaliro nga bataawa.

 Omuyizi ng'alteereddwako eccupa atwalibwa mu ddwaliro e Gombe

Omuyizi ng'alteereddwako eccupa atwalibwa mu ddwaliro e Gombe

Bya Paddy Bukenya

Abatuuze n'abasomesa be Kitagobwa mu ggombolola ye Ngando mu Butambala bali mu kiyongobero oluvanyuma lwa laddu okukuba abayizi musanvu, bana ne bafiirawo basatu ne batwalibwa mu ddwaliro nga bataawa.

 Abayizi bano laddu ebasanze mu kisaawe nga basamba mupiira gw'empaka z'amasomero ga pulayimale wakati mu bukubakuba obubadde bufuuyirira.

Omu ku bayizi abasimattusse ng'addusibwa mu ddwaliro

 

Ambyulensi eyatutte abamu ku bayizi abaalumiziddwa

 

Abafudde kuliko Isma Sseruga 12, mutabani wa Abdu Kasozi owe Kasambya, Erias Muhamood omuyizi wa Saidina Abu baker Lwanjiri, Huzairu Ntale ne Abdu Marick Busuulwa nga bonna bayizi ba Kitagobwa Umea.  

Abasimattuse n'ebisago ye Huzairu Yiga owa Kitagobwa Umea, Ashiraf Ssempa ne Yasin Ssemeere nga bonna bongeddwayo mu ddwaliro e Gombe nga embeera mbi nyo.

Abantu nga badduukirira omu ku bayizi eyalumiziddwa
Abantu nga basobeddwa olw'ekingabwa ekyaguddewo

 

Abayizi nga bali mu kiyongobero olw'abannaabwe abaafiiridde mu kisaawe.

 

 

 

Gibadde miranga nakwaziirana ng'abazadde balabye ku mirambo gy'abaana baabwe.

 

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

RDC Kirabira ne ssentebe Matia Bwanika nga batema ddansi. EBIFAANANYI BYA PETER SSAAVA

CAO wa Wakiso atabaganyizza...

Akabaga kano akaabaddewo ku Lwokuna ku Maya Nature resort mu ggombolola y'e Nsangi e Wakiso, keetabiddwaako abakulira...

Omugenzi Sgt. Dick Magala

Abapoliisi abaafiiridde mu ...

GIBADDE miranga na kwazirana ku kitebe ky’ekitongole kya poliisi ekinoonyereza ku buzzi bw’emisango (CID) e Kibuli...

Ebimu ku bibala ebitwalibwa ebweru. Mu katono ye Kanyije.

Abatwala ebirime ebweru bee...

Abat wala ebirime ebweru w’eggwanga beemulugunya ku buseere bw’entambula y’ennyonyi ez’emigugu ng’ebisale byalinnyisibwa...

Ssentebe wa Luwafu B, Iga Gonzaga ng’annyonnyola abamu ku batuuze be ebyavudde mu kkooti.

Kkooti eyimirizza NEMA okug...

ABATUUZE b’e Kansanga abasoba mu 300 bafunye ku buweerero Kkooti Enkulu bw’efulumizza ekiragiro ekigaana ekitongole...

Abamu ku baffamire mu maka ga Maj. Mukasa e Kagoma.

Munnamagye eyayambako okule...

MUNNAMAGYE omulala, Maj. Gen. Eric Mukasa 60, eyakuba emmundu okuwamba enkambi y’e Kaweeweeta mu lutalo olwaleeta...