
Abayimbi; Lutalo, King Saha ne Sheebah
Abayimbi okuli; Juliana Kanyomozi, King Saha, David Lutalo, Sheebah, Naava Grey, Minah Inzah ne Geo Steady bagenda kwetaba mu bikujjuko ebimanyiddwa nga Summer's Ultimate Event 2017 ebitegekeddwa ekibiina kya UNAA Causes ekimu ku bigatta Bannayuganda abali mu Amerika.
Bagenda kubeera mu kibuga Las Vegas eky’essaza ly’e Nevada nga kw'abo ate bagasseeko n’abayimbi Abanigeria okuli P Square n'abalala.
Ebikujjuko ebyo ebya Labor day weekend, bigenda kutandika nga 31 August omwaka guno biggwe nga 3 September mu woteeri ya Aria Resort and Casino hotel e Las Vegas nga Bannayuganda bagenda kusisinkana okumanyagana, okwogera ku by’okwekulaakulanya n’okutwala eggwanga lyabwe mu maaso, okusanyukira awamu, obwegassi n’ebirala.
Akulira eby’entambuza y’emirimu mu kibiina kya UNAA Causes, David Muwanga agamba nti bagenda kusooka kulambula ku kibuga kya Las Vegas ekimanyiddwa nga ‘sin city’ kye boogerako ng’ekyakabi mu bisanyusa nga kye kyavaako n’enjogera ya ‘What happens in Vegas, stays in Vegas’ ekitegeeza nti, ebibeerayo tebyogerwa, olwo akawungeezi balye eky’eggulo ekituumiddwa 'Business Social Networking Dinner' n’ebirala bigoberere okumala ennaku ssatu ng’abayimbi abo basanyusa abantu buli lunaku ku mikolo egy’enjawulo.
Mu basinze okwesunga olugendo ye Minah Inzah alabika ng’agendayo omulundi ogusooka, King Saha gwakubiri ne David Lutalo, Geo Steady naye agendayo gusooka wamu ne Sheebah ate nga Juliana abeerayo nnyo.