TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Nnamukadde yeekomeredde omusumaali mu mutwe lwa bwavu

Nnamukadde yeekomeredde omusumaali mu mutwe lwa bwavu

Added 15th August 2017

Mzee avudde mu mbeera n’akwata omusumaali gwa yinki mukaaga n'agwekomerera mu mutwe ng’agamba nti ensi ebadde emuzitoweredde nnyo olw’ebizibu ebyesomba buli budde!.

Mzee Amos Kibi eyeekomeredde omusumaali mu mutwe

Mzee Amos Kibi eyeekomeredde omusumaali mu mutwe

BYA PROSSY KALULE

Bakira yeekomerera ayogera nga bw’awogganira waggulu nti 'ennaku ennyonka butaaba kati ka nneekomerere waakiri nfe ndeke ensi n’abagyeyagaliramu'.

Mzee Amos Kibi omutuuze w’e Ssumba Nakasozi y’aleetedwa mu ddwaaliro e Mulago ng’afuuwa musaayi oluvannyuma lw’okukwata omusumaali n’agwefumita mu mutwe olw’ebizibu ebimususseeko.

Mulirwana we eyamusanze ng’akutte ekiti yeekomerera ategeezezza nti embeera ye mbi nnyo era ddala eyeefumise n'afa n'ava mu nsi y'asinga.

​Abantu baakung'aanye ne bamwanguyira gattako okumuwooyawooya ne bamutwala mu ddwaaloro e Mulago okugumuggyamu nga bw'afuna obujjanjabi.

Mu ddwaaliro abuuziddwa ekyamunaayizza okwekomerera omusumaali

uuziddwa lwaki yeekomeredde ategeezezza nti abooluganda lwe baamuggya e Masaka ne bamuleeta awaka e Nakasozi babeere naye kyokka babaddenga bamuleka waka w'asiiba ng'omukozi kyokka nga n'ensimbi ze yandyeyambisizza okugula by'ayagala tazirina kwe kusalawo waakiri afe nalwo luggwe!

Akyajjanjabirwa mu ddwaaliro e Mulago.  

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Avuganya Ssekandi ku ky'omu...

RICHARD SEBAMALA avuganya omumyuka wa Pulezidenti, Edward Kiwanuka Sekandi ku babaka bwa Palamenti obwa Bukoto...

Lubega

Ebikonde sibyevuma - Lubega

OMUGGUNZI w'ehhuumi, Joey Vegas Lubega annyuse ebikonde oluvannyuma lw'emyaka 23 bukya alinnya kigere kye ekisooka...

Donald Trump

Trump alemeddeko ku by'akal...

EBY’AKALULU ka ssaayansi byongedde Donald Trump n’ategeeza nga bw’ali omusajja omukulu atayinza kukkiriza kuleka...

Paapa eyawummula Joseph Aloisius Ratzinger

Paapa Joseph Aloisius Ratzi...

PAAPA Benedict XVI eyawummula ng’amannya ge ag’obuzaale ye Joseph Aloisius Ratzinger muyi. Ratzinger 93 obulwadde...

Abaabadde balambula ppaaka ekolebwa.

Abakola ppaaka enkadde bale...

Bakansala ba KCCA abatuula ku kakiiko akateekerateekera ekibuga n’okuzimba nga bali wamu n’abakugu baalambudde...