TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Nannyini ssomero lya Mukono Junior asangiddwa mu buliri ng'afudde!

Nannyini ssomero lya Mukono Junior asangiddwa mu buliri ng'afudde!

Added 17th August 2017

Nannyini ssomero lya Mukono Junior asangiddwa mu buliri ng'afudde!

ABAYIZI, abasomesa n'abazadde b'essomero lya Mukono Junior School erisangibwa ku kyalo Ngandu mu munisipaali y'e Mukono baguddemu encukwe bwe bafunye amawulire g'okufa kwa dayirekita w'essomero eryo. Ronald Mubiru y'afudde mu ngeri ey'entiisa erese abantu nga boogera bwama olw'obutamanya kiki ekimuviiriddeko okufa.

Berna Naluyange mukyala w'omugenzi agambye nti yakomyewo eggulo ssaawa nga 4 ez'ekiro n'abasanga nga balaba mawulire Agataliiko Nfuufu n'ayitawo buyisi n'agenda yeebaka.

Naluyange ategeezezza nti yagezezzaako okumubuuza oba alina obuzibu nga tanyega n'amuleka ne yeebaka. Agamba nti baasuze ku bitanda byanjawulo nga bw'azuukuse ku makya New kusanga ng'ali ku kapeti wansi we yeebase. "Bwe ntaddeko ettaala ne mmuyita nga tayitaba ne mukwatako ku bigere ng'akaluba kwe kudduka engulu ne mpita maama amuzaala Sarah Kigongo ng'azze n'abantu abalala abamwekebezze ne bazuula nga yafudde" bwe yannyonnyodde.

Poliisi y'e Mukono omulambo egutadde ku kabangali n'egutwala mu ggwanika ly'eddwaliro e Mulago okugwekebejja. Kaweefube okufuna aduumira poliisi y'e Mukono Rogers Sseguya abeeko ky'ayogera ku kufa kwa Mubiru agudde butaka bw'ategeezezza nga bw'abadde mu lukiiko ne bakamaabe.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omugenzi Dan

Kamaanyi eyatolosa Ssekabak...

Dan Kamaanyi, eyatolosa ssekabaka Muteesa II ekibabu kya Milton Obote eyalumba olubiri mu 1966 ng'ayagala okumutta,...

Muyigire ku bajulizi abakki...

MUK'OMULABIRIZI wa West Buganda Can.Elizabeth Julia Tamale y'ayigirizza mu kusaba okw'okujjukira abajulizi ba...

Mwesigwa eyagudde mu bazigu mu Kampala ne bamukuba ne bamubbako n'essimu

Eyakedde mu Kampala bamukub...

POLIISI mu Kampala etandise omuyiggo okuzuula abavubuka abateega n'okukuba abantu abakeera mu kibuga okuyiiya....

Dr. George Kiwanuka

E Gomba bazuddeyo omulwadde...

ABATUUZE b'e Gomba basattira oluvannyuma lw'okuzuula omusuubuzi abadde abasuubulako ebirime ng'alina ekirwadde...

 James Kasozi Muwonhe ne muzzukulu we Allan Kazibwe

Omwana atemyetemye kitaawe ...

Omwana akkidde kitaawe n'amutemaatema ng'amulanga kugaana kumuwa mugabo gwe.