TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Bagobye omusomesa abadde aganza abayizi mu masomero ga Mukiibi

Bagobye omusomesa abadde aganza abayizi mu masomero ga Mukiibi

Added 20th August 2017

Bagobye omusomesa abadde aganza abayizi mu masomero ga Mukiibi

 Omusomesa Kabenge

Omusomesa Kabenge

ABAKULIRA amasomero ga St. Lawrence bagobye omu ku basomesa baabwe nga bamuteebereza okukozesa abayizi b’asomesa mu nsonga z’omukwano. Omusomesa eyagobeddwa ye Ronald Brian Kabenge abadde asomesa essomo ly’ebyafaayo ku Horizon Compus e Nabbingo.

Akulira essomero lino Rose Galabuzi yategeezezza Bukedde nti essomero lyatudde ne lisalawo okugoba Kabenge oluvannyuma lw’okuzuula nti abadde yeeyisa mu ngeri etesuubirwa mu musomesa yadde babadde tebannafuna bukakafu bwa nkukunala nti ddala abadde akozesa abayizi b’asomesa.

Muky. Galabuzi yategeezezza nti okusitukira mu Kabenge kyaddiridde omuyizi omuwala owa S.6 (amannya gasirikiddwa) okubula ku ssomero olweggulo nga bamalirizza okusomesa nga baddayo mu bisulo byabwe.

Baatandise okumunoonya n’ababula era ne bateebereza nti yabadde afulumiziddwa omusomesa ono Kabenge. Kyokka oluvannyuma baatandise okuyita abayizi omu kw’omu (Roll call) we baazuulidde nti omuyizi yabaddewo nga yabadde yeetooloddemu katono!

Wano okunoonyereza we kwatandikidde ku musomesa ono era kwe kusalawo bamugobere ddala kuba bye baazudde bibadde biraga nti abadde akola ebintu ebimenya amateeka g’essomero.

Kyokka waliwo abayizi abamu abategeezezza nti Kabenge abadde mukwano gwabwe nnyo kati abawala b’asomesa nga oluusi bafunamu ensaalwa nga balengera bannaabwe bali naye kwe kusalawo okutambuza ebigambo nti ayagala abayizi b’asomesa.

Galabuzi eyagobye Kabenge

 

Kino Muky. Galabuzi teyakyogeddeko wabula yagambye nti agamu ku mateeka Kabenge ge yamenye mwe mubadde okwesembereza ennyo abayizi abawala ng’ate etteeka ligamba nti “teri musomesa musajja anaasembereranga abayizi bawala okuggyako nga bali mu kibiina basomesa!

Etteeka lino Kabenge abadde yalimenya dda nga takoma awo wabula ng’amanyi n’okuwa abawala essimu ye ne bakubirako bazadde baabwe ne banyumyamu mu biseera nga tebali mu bibiina. Amasomero gano gaatandikibwawo Polof. Lawrence Mukiibi eyafa ku nkomerero ya May.

Nga yaakafa, waaliwo abaana bangi bamulekwa abaaleetebwa nga bagamba nti bonna Mukiibi ye yali abazaala ng’ate abamu ku bamaama baabwe baali bayizi be.

Kino kyawaliriza abamu ku bakyala abeeyita abalwanirizi b’eddembe ly’abakyala okugenda mu Palamenti ne bagisaba enoonyereze ku Polof. Mukiibi n’ebigambibwa nti yazaala mu bayizi b’asomesa. Kyokka bino byonna abaana ba Mukiibi nga bakulirwa addukanya amasomero ge Justine Tulina baabisambajja ne balagira abakyala bano abeefula ababalumirirwa bagende bakole ebirala.

Eky’okugoba Kabenge nakisazeewo nga muzadde Galabuzi yategeezezza nti okugoba Kabenge yakisazeewo nga talina gwe yeebuuzizzaako kuba yeerowozezzaako ng’omuzadde ne yessa mu bigere by’omuzadde omulala eyamuweereza muwala we okusoma ate n’awulira nti atiguka na basomesa!

“Ndi mukyala ate omuzadde, neetadde mu bigere by’omukyala azaala omwana oyo ne ng’amba nti naye bw’aba wange nga gwe basobyako ddala nkolaki?

Nange nnina abaana naye bano be bantu be tukwasa abaana okubeera nabo?! Ye omuzadde eyankwasa omwana we okumusomesaagenda okuwulira nti yeerigomba n’abasomesa?!

Abo bampaayiriza - Kabenge Omusomesa ono Kabenge eyatandikira okusomesa ku ssomero lya Mutundwe Upland S.S Lungujja ng’eyo gye yava okugenda ku St . Lawrence yategeezezza Bukedde nti byonna bye bamwogerako bamuwaayiriza kumwonoonera linnya. Ng’ayita ku ssimu gye twamukubidde, yagambye nti ensonga ezo zaamuleetedde okutawaanyizibwa kw’omubiri n’obwongo (stress) era yasazeewo kusirika. Yatusuubizza okutuwa essimu ya looya we y’aba atubuulira ekiddako.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ow'emifumbi eyagobeddwa mu ...

OMUZANNYI w’emifumbi Geoffrey Lubega eyagobeddwa mu nyumba olw’okulemererwa okusasula ensimbi z’obupangisa adduukiriddwa....

Empaka za FEASSSA zisaziddw...

OMUKISA gwa Uganda okulwanirira okweddiza ekikopo ky’emizannyo gy’amasomero ga ssiniya ag’obuvanjuba bw’Afrika...

Nankabirwa ng'asanyusa bato banne

Omuyimbi muzibe asaba kuvuj...

BYA SOPHIE NALULE Angel Nankabirwa ow'emyaka 12 bw'omuwulira ng'ayimba ku muzindaalo odduka mbiro otere esange...

Kabineeti eteesezza okuggul...

KABINEETI eggulo yateesezza ku kuggulawo akeedi n’ebirina okussibwa mu nkola nga ziggulwawo.

Ekibalo ky'okulima ennyaany...

ENNYAANYA kireme ekyettanirwa abangi olw’okuba kikula mangu ate nga kirina akatale okutandikira ku bantu b’okukyalo...