TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Paasita akwatiddwa lwa kubba obukadde 20 ku mugoberezi we

Paasita akwatiddwa lwa kubba obukadde 20 ku mugoberezi we

Added 20th August 2017

POLIISI eggalidde omusumba w’abalokole ku bigambibwa nti aliko omugoberezi we gwe yabbyeeko obukadde 20.

 Richard Ssenyondo, Pasita Muyingo (wakati) ne Umar Mwanje ku poliisi e Katwe.

Richard Ssenyondo, Pasita Muyingo (wakati) ne Umar Mwanje ku poliisi e Katwe.

Bya Eria Luyimbazi

POLIISI eggalidde omusumba w’abalokole ku bigambibwa nti aliko omugoberezi we gwe yabbyeeko obukadde 20.

Yabadde amusuubizza okumusabira awone ebizibu.

Bright Muyingo ow’ekkanisa ya God’s Healing Power e Nabweru ye yaggaliddwa ku poliisi e Katwe oluvannyuma lw’omugoberezi we, Sanny Kyomuhendo okumuwaabira okumubbako ssente ezo n’abantu abalala.

Okukwata Muyingo ne banne okuli Richard Ssenyondo ne Umar Mwanje kyaddiridde ekitongole kya poliisi ekirondoola enneeyisa n’okukwasisa empisa mu baserikale ekya Professional Standards Unit (PSU) okukwata abaserikale okuli AIP Edward Kasango ne Suleiman Kato nga August 16, 2017 abagambibwa okumuyambako mu kubba.

Omwogezi wa poliisi ow’ekitongole kino Vincent Ssekate yagambye nti Kyomuhendo yagenda ewa Pasita Muyingo okumusabira oluvannyuma lw’okufuna obutakkaanya ne kitaawe n’amulagira okusasula 90,000/- ez’amafuta ag’omukisa ssaako emirala 90,000/- ez’entambula n’ekifaananyi kya kitaawe.

Yamutwala mu kifo gy’agamba nti gye yali agenda okumusabira wabula olwatuuka e Kibuye n’amwefuulira n’amubbako obukadde 20.

Kyomuhendo yaggulawo omusango ku poliisi e Katwe.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abaana nga bagumbye ku

Bakubye ssengaabwe mu mbuga...

ABAANA batutte ssengabwe mu kakiiko k'eggombolola y'e Kyazanga nga bamulumiriza okubawuddiisa ne yezibika obukadde...

Komakech n'ebizibiti bye ku poliisi y'e Kawanda.

Abadde yakayimbulwa e Luzir...

Komakech ategeezezza nga bwabadde agenda okufa enjala nga yali asiiga njala z’abakazi wabula okuva bwe bayimiriza...

Testing video to see if it ...

aojdjadjdadojajdndn

Omusajja yansuulawo ng'omwa...

Nze Scovia Twetise 28, mbeera Bulamu-Gazaya, Texas. Mu 2005, nalina emyaka 15 omusajja yantuukirira n’ahhamba nti...

Eyagenda okusoma ddiguli e ...

Talina mpapula kw’akolera era agamba tasobola kudda kubanga bw’adda taddayo