TOP

Ebula ennaku musanvu amasimu gasalweko

Added 22nd August 2017

KKAMPUNI z’amasimu zirangiridde nti Bannayuganda abasoba mu bukadde busatu abatannawandiisa masimu gaabwe ng’amateeka bwe galagira, bagenda kusalibwako ku Lwokusatu lwa wiiki ejja nga August 30, 2017.

Abantu nga basimbye enyiriri okuwandiisa layini zaabwe e Lugogo.

Abantu nga basimbye enyiriri okuwandiisa layini zaabwe e Lugogo.

Bya AHMED MUKIIBI NE SYLVIA ZAWEDDE

KKAMPUNI z’amasimu zirangiridde nti Bannayuganda abasoba mu bukadde busatu abatannawandiisa masimu gaabwe ng’amateeka bwe galagira, bagenda kusalibwako ku Lwokusatu lwa wiiki ejja nga August 30, 2017.

Kino kiddiridde nsalesale owa August 30, 2017 okukuba kkoodi wabula nga Bannayuganda bangi amasimu gaabwe si mawandiise olw’abasinga obutaba na densite y’eggwanga, esabibwa buli awandiisa essimu ye.

Ab’amakampuni g’Amasimu; Airtel, MTN, Africell beeyanjudde mu kakiiko ka Palamenti akavunaanyizibwa ku by’Empuliziganya ne Tekinologiya (ICT) okunnyonnyola ababaka ku nteekateeka ze gakoze okussa mu nkola ekiragiro ky’ekitongole ekya Uganda Communications Commission (UCC) eky’okuggyako amasimu gonna agatali mawandiise ku lwa August 30, 2017.

Akulira kkampuni ya MTN, Wim Vanhelleputte yategeezezza ababaka abaakuliddwa ssentebe waabwe Max Akora nti MTN erina bakasitoma obukadde 10 n’emitwalo 20 (10,200,000) ng’abasinga bonna ssimu zaabwe mpandiise ng’oggyeeko bakasitoma 700,000 nga bano bakola 7 ku 100 ebya bakasitoma ba MTN.

Vanhelleputte yategeezezza nti MTN egenda kugondera ekiragiro kya UCC okuggya ku mpewo essimu za MTN zonna ezitali mpandiise n’ategeeza nti bo mu MTN baasazeewo okutandika ku Lwomukaaga nga August 26, 2017 okuggyako ku mpewo essimu 700,000 ezitali mpandiise.

Omukungu wa Airtel avunaanyizibwa ku byamateeka, Denis Kakonge yagambye nti bakasitoma ba Airtel 26 ku 100 be boolekedde okuggyibwa ku mpewo olwa ssimu zaabwe obutabeera mpandiise.

Airtel erina bakasitoma abasoba mu bukadde munaana nga kino kitegeezza nti bakasitoma 26 ku 100 babeera bakasitoma obukadde 2 era bano be bakasitoma ba Airtel abagenda okuggyibwa ku mpewo singa nsalesale wa August 30, 2017 tayongezebwayo.

Katongole yasabye gavumenti okwongezaayo nsalesale wa August 30, okutuusa nga Bannayuganda bonna bafunye densite y’eggwanga kubanga amateeka ag’okuwandiisa essimu galagira essimu ya buli muntu okuwandiisibwa ku nnamba ya densite ye eyitibwa NIN number.

Yagambye nti obuzibu bwe basanze nga kkampuni z’amasimu, ke kasoobo ak’ekitongole kya UCC n’ekitongole ekya National Identifi cation and Registration Authority (NIRA) mu kukakasa essimu eziwandiisiddwa nga buli Sim card yeetaaga ennaku ttaano okuva lw’ewandiisiddwa okutuusa lw’ekakasibwa nti ddala ewandiisiddwa.

Gavumenti yali yassaawo nsalesale ow’okuwandiisa amasimu ng’aggwaako May 19, 2017 kyokka Pulezidenti Museveni n’awa ekiragiro okwongezaayo emyezi esatu okutuuka August 30,2017 wabula ab’amakampuni g’amasimu bategeezezza nti abantu bangi tebannawandiisa ssimu zaabwe kubanga tebalina densite ya ggwanga.

Ababaka ku kakiiko ka ICT omwabadde Kato Lubwama (Lubaga South), Muhammad Nsereko (Kampala Central), Peter Sematimba (Busiro South) n’abalala baatadde ku nninga aba kkampuni z’amasimu naddala ku ky’abantu abaawandiisa edda essimu zaabwe kyokka nga n’okutuusa kati bafuna obubaka obulaga nti essimu zaabwe si mpandiise.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mmotoka ya minisita Atwoki eyakubiddwa amasasi.

Minisita asimattuse amasasi

Minisita omubeezi avunaanyizibwa ku byenfuna mu offiisi y'omumyuka wa Pulezidenti, Dr Baltazar Kasirivu-Atwooki,...

Kiddu (ku kkono) ne munne.

Bannabyamizannyo abattiddwa...

Nga December 30 omwaka oguwedde, abantu abatamanyiddwa baasindiridde Isaac 'Zebra' Senyange, eyaliko kapiteeni...

Sserunjogi ng’alaga ebintu by’atonaatona omuli essaati, ebikopo n’ebirala ebikozesebwa mu kunoonya obululu okusikiriza abalonzi.

Sserunjogi kkampeyini aziko...

AWAGWA ekku tewabula kalondererwa, ekiseera kya kkampeyini bangi bakikozesezza okuyiiya ssente era gubeera mugano...

Ssentebe Andrew Kasatiiro ng'agezaako okunnyonnyola abaatafunye butimba.

Ab'e Jinja Kalooli batabuki...

Abatuuze b'e Jinja Kalooli mu Wakiso beeweereza ebisongovu n'abakulembeze baabwe lwa butabawa butimba bwa nsiri....

Kasibante ku mpingu  ng'akwatiddwa.

Agambibwa okugezaako okufum...

OMUSUUBUZI   aloopye omuvubuka ku poliisi n'amulumiriza  okumuggyiraayo ekiso amufumite abaduukirize ne bamutaasa....