TOP

Abatemu mbalina - Kayihura

Added 22nd August 2017

OMUDUUMUIZI wa poliisi mu ggwanga, Gen. Kale Kayihura azzeeyo e Njeru n’ayogera n’abatuuze b’e Bujowali ne mu disitulikiti y’e Buikwe gye battira Omuzungu Remus Manfred.

 Kayihura ng’awuubira ku batuuze b’e Njeru.

Kayihura ng’awuubira ku batuuze b’e Njeru.

Bya MUSASI WAFFE

OMUDUUMUIZI wa poliisi mu ggwanga, Gen. Kale Kayihura azzeeyo e Njeru n’ayogera n’abatuuze b’e Bujowali ne mu disitulikiti y’e Buikwe gye battira Omuzungu Remus Manfred.

Omugirimaani ono, abatemu baasooka kumusaba ssente z’ataalina mu kiseera ekyo, ne bamuttisa emmundu ye gye yalina mu nju.

Kayihura yakubye olukungaana e Njeru omwabadde abatuuze, abaserikale ba polisi n’abakulembeze.

Lwabaddewo ku Lwomukaaga mu kisaawe kya Njeru pulayimale mu Triangle Zooin.

Yawadde abatuuze omwagaanya boogere ebibaluma ne bamutegeeza nti obumenyi bw’amateeka bweyongedde okuva eyali aduumira poliisi y’e Njeru, Christopher Kiggundu Katumba lwe yateekebwa ku katebe olw’emisango egimu egitatambula bulungi.

Lydia Balemezi eyaliko omubaka omukazi owa greater Mukono, yagambye nti obubbi bususse naddala e Bukaya awasula abagagga ne bamusigansimbi.

Abatuuze baagambye nti obumenyi bw’amateeka buva ku bavubuka n’abakadde mu kitundu okukozesa ebiragalalagala okuli enjaga, amayirungi ne Kuber.

Baanokoddeyo akabinja ka ‘NRM Buikwe north brigade’ akatuula mu miti ku nkulungo y’oku Nile ne bafuuwa enjaga awatali abagambako. Baagasseeko nti kano akabinja bwe buziba, ke kabatigomya.

Wabula abavubuka bano beerwanyeko ne bamutegeeza nti basolooza ssente ku takisi ezitikkira e Njeru era nti Pulezdenti Museveni yabawa entandikwa, si babbi.

Baamugambye nti tebaagala Katumba eyali DPC w’e Njeru akomewo kubanga abadde asusse okubatulugunya.

Abatuuze abalala nga bakulembeddwaamu Harriet Nankabirwa baasabye Kayihura akyuse abaserikale b’e Njeru bonna kuba tebayamba kitundu.

Era baamusabye aweereze abakwasisa empisa n’okunoonyereza ku baserikale b’e Njeru.

Ye Ruth Nakwaro (nnamwandu w’Omuzungu Manfred Remus), yasiimye poliisi olw’okumuyamba mu kaseera akazibu ke yalimu nga bba afudde. Yasabye Kayihura aggyewo akabinja ka ‘NRM Buikwe north Brigade’ kuba keenyigira mu bumenyi bw’amateeka.

KAYIHURA ABAGUMIZZA

Kayihura mu kwogera kwe, yagumizza abatuuze nti, ebizibu ebiri mu poliisi bigenda kugonjoolwa.

Ataddewo obukiiko busatu nga bukulirwa omumyuka we Okoth Ochora, Sgt. Mark Odongo ne Joel Baguma okunooyereza ku baserikale b’e Njeru.

Yalabudde abanywi b’enjaga nti yenna anaakwatibwa ng’aginywa waakusibwa mayisa. Yalagidde abaserikale be okukomya okukwata abantu ekiro.

Yabalagidde okusomesa abakyala ne bamalaaya ku ngeri gye bayinza okwekuuma abamenyi b’amateeka.

Yeebazizza David Opio omutuuze w’e Mpummudde mu Jinja eyakwata Abdallah Lulaga 26, eyatta Omuzungu. Lulaga yakwatibwa e Mpummudde ne mukwano gwe Hamidu Bogere oluvannyuma lw’ennaku bbiri ng’Omuzungu atemuddwa.

Ensonda zaategeezezza nti Lugala olwatta Omuzungu, yeekweka ewa Bogere n’emmundu y’omuzungu. Wabula bwe baafunamu obutakkaanya, Lulaga yakuba Bogere essasi mu kibatu, abatuuze ne bayita poliisi.

Bogere apooca mu ddwaaliro e Jinja era akuumibwa butiribiri. Kayihura yagambye nti Lulaga ali mu kaduukulu e Nalufeenya era n’emmundu bagirina.

Yagumizza Bannayuganda nti ettemu lyakuggwaawo naddala mu Kampala n’emiriraano kuba abatemu atandise okubakwata. Yasabye abantu okukozesa enkola ya kaliisoliiso ne ‘mayumbakkumi’ n’okuwandiisa abali ku buli kyalo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abawawaabirwa, Christine Guwatudde Kintu, Joel Wajala , John Martin Owor  ne Lutimba Kyeyune Fred Martin nga bali mu kaguli

Bana basimbiddwa mu kkooti ...

Abakungu bana okuva mu ofiisi ya Ssaabaminisita abavunaanibwa okulya eza COVID19 basindikiddwa mu kkooti ewozesa...

Sazir Lumala disitulikiti Kaadi w'e Mukono ng'ayogera n'abamawulire ku poliisi e Mukono.

Disitulikiti Kaadi w'e Muko...

Bya ERIC YIGA POLIISI e Mukono ekutte disitulikiti Kaadi waayo Sheikh Sazir Lumala naggulwako omusango gw'okukozesa...

Abasiraamu balabuddwa okuko...

BYA JAMES  MAGALA  Kino kidiridde Poliisi okuyoola abasiraamu 25 e Mpingi nga bagambibwa okuba abayeekera mu...

Bagudde ku mulambo gwa mutu...

Abatuuze b'e Kawaala zooni 2 mu divizoni y'e Rubaga baguddemu ekyekango bwe basanze mutuuze munnaabwe nga yafiridde...

Owoolubuto lw'emyezi 8 alum...

ZAKIYA Sayid omutuuze mu Sankala zooni-Lukuli mu munisipaali y'e Makindye apooceza mu ddwaaliro lya Ethel clinic...