TOP

Emigotteko mu Afrika egimenyeewo Katwe Kinyoro

Added 23rd August 2017

BANNAYUGANDA abasinga obungi bennyamivu olw’embeera ekibuga ekikulu Kampala gye kirimu olw’obucafu, enguudo enfunda, obulippagano bw’ebidduka, enfuufu, okwanjaala kw’amazzi, emyala egikulukusa kazimbi, obuveera, kasasiro n’obumenyi bw’amateeka.

 Obumu ku buyumba obusangibwa mu mugotteko e Bwaise.

Obumu ku buyumba obusangibwa mu mugotteko e Bwaise.

Bya MUSASI WAFFE

BANNAYUGANDA abasinga obungi bennyamivu olw’embeera ekibuga ekikulu Kampala gye kirimu olw’obucafu, enguudo enfunda, obulippagano bw’ebidduka, enfuufu, okwanjaala kw’amazzi, emyala egikulukusa kazimbi, obuveera, kasasiro n’obumenyi bw’amateeka.

Kituufu Kampala kibuga ekitawa maanyi kwenyumirizaamu ng’ekibuga ky’eggwanga naddala olw’ebifo eby’omujjuzo gw’abantu n’omugotteko gw’obuyumba ebikwaniriza ku njuyi zonna ng’oyingira Kampala.

Ekifo kya Namuwongo, Katwe Kinyoro, Makerere Kivvulu, Ekimombasa, Katanga, Kifumbira, Bwaise, Makerere Kikoni, n’ebifo ebirala bw’obituukamu naddala mu biseera eby’enkuba bw’oba ow’emmeeme terema kukusinduukirira.

Wabula nga bwe bagamba nti, “ atannayitaayita…”, bw’otuukako mu bibuga by’amawanga ga Afrika amalala omuli n’ensi ezisinga Uganda nga Misiri, South Afrika, Ghana, Nigeria, Kenya n’endala, oddamu ku maanyi nti Uganda teri bubi nnyo.

Embwa efudde okumpi n’ekifo ky’e Mathare awasula abantu.

 

Leero mu muko gwaffe, Ensi Mawuuno, tukuleetedde ebifo eby’omugotteko gw’amayumba n’omujjuzo gw’abantu ebiri mu bibuga ebinene mu Afrika

EBIFO 20 EBY’OMUGOTTEKO N’OMUJJUZO GW’ABANTU EBY’OBULABE MU AFRIKA

Kibera (Kenya)

Kenya erina likoda y’okubeera n’ekifo eky’omujjuzo n’omugotteko gw’abantu n’obuyumba ekisinga obunene n’obulabe mu Afrika yonna.

Kirimu abantu obukadde bubiri n’ekitundu nga bali mu byalo ebisukka mu 10 okuli: Gatwekera, Kianda, Kisumu Ndogo, Lindi, Laini Saba, Siranga, Makina, Mashimoni ne Soweto East.

Abantu 50 ku buli 100 abakolera mu kibuga Nairobi basula Kibera wabula ng’ebintu ebyetoolerako obulamu ng’amazzi amayonjo, enguudo, amasomero, amalwaliro n’ebirala bya mutindo gwa wansi nnyo.

Kroo Bay (Sierra Leone)

Kroo Bay kye kimu ku bitundu ebikola ekibuga Freetown ekya Sierra Leone.

Kirimu abantu 10,989 wabula basula bubi. Obuyumba ebitundu 95 ku 100 mu Kroo tubulina kaabuyonjo, abantu beeyambira mu buveera.

Enkuba bw’etonnya, omugga oguyita wakati mu Kroo Bay nga guwaguza ng’obukyafu bwonna buyingira mu buyumba bw’abantu era kkolera taggwa mu kifo kino.  

Mathare (Kenya)

Abantu abasukka mu 500,000 be basula e Mathare, ekifo eky’omugotteko ekyokubri mu bunene e Kenya. Kifo kya babbaaya beerere era okwekalakaasa okwabadde mu Kenya nga Raila Odinga awakanyizza obuwanguzi bwa Pulezidenti Uhuru Kenyatta kwatandikidde wano, omusaayi ne guyiika. Omulimu gwabwe omukulu kuyiisa nguuli n’okuginywa era obumenyi bw’amateeka buli waggulu nnyo.

Basula mu buyumba bw’abibaati, ebibaawo n’ebipapula era tebalina kaabuyonjo n’amazzi amayonjo.

West Point, Monrovia (Liberia) West Point kisangibwa ku lubalama lw’oguyanja Atlantic Ocean wakati w’emigga ebiri ogwa Saint Paul River ne Mesurado River.

Abantu nga 75,000 be basula mu buyumba obw’omugotteko era kafo kafunda nnyo. Olw’omujjuzo gw’abantu, ekitundu tekiggwaamu ndwadde nga kkolera, ekiddukano, omusujja gw’omu byenda n’endala.  

Makoko

 

Makoko (Nigeria)

Makoko kye kifo ky’omugotteko gw’amayumba ekisinga obukadde mu kibuga Lagos ekya Nigeria.

Abantu nga 86,000 be basula ng’emmese mu kifo kino eky’olutobazzi n’amazzi ag’oku mwalo.

Obuyumba obusinga obungi bwazimbibwa ku nkondo z’emiti era abantu abamu okuyingira mu buyumba bwabwe batambulira ku bwato obubatuusa ku mulyango.

Omulimu ogw’abantu abasula mu Makoko gwa buvubi.

Korogocho (Kenya)

Korogocho nakyo kifo eky’ababaaya ekisulamu abantu nga 200,000. Korogocho kigambo kya Luswayiri ekitegeeza okwetikka obuzito obw’amaanyi ku mutwe n’ebibegaabega byombi.

Ekifo kino kinene nga kiwerako yiika nga 900 nga kisangibwa mu nkingizzi z’ekibuga Nairobi. Abantu basula bubi nnyo, tebalina kaabuyonjo n’amazzi amayonjo.

Kawangware (Kenya)

Kirimu omugotteko gw’ama-yumba nga kiri mu mayiro nga 10 mu bugwanjuba bw’ekibuga Nairobi.

Kawangware kisuza abantu nga 70,000 kyokka abasinga bamenyi b’amateeka. Bava mu buyumba bwabwe ne bayingira Nairobi nga tebalina kye bagenze kukola okuggyako okweyiiya.

Kiambiu (Kenya)

Abantu nga 50,000 be basula e Kiambiu, ekimu ku bifo eby’omuggotteko gw’amayumba mu kibuga Nairobi. Kiri mu nkingizi z’ekibuga Nairobi ekijjudde obuyumba obubi obw’embaatibaati n’obulala obw’emmuli n’akadongo ng’abantu babuuka myala okuyingira mu buyumba bwabwe. Tebalina kaabuyonjo n’amazzi banywa macafu.

Kibera mu Kenya

 

Agbogbloshie (Ghana)

Ghana y’emu ku nsi za Afrika ezeegombesa okubeeramu. Ekibuga kyayo ekikulu Accra kikulaakulanira mu sipiidi nnene wabula ne mu Accra mulimu abantu abali obubi mu by’ensula n’embeera.

Ekifo kino kisulamu abantu 80,000 b’oyinza okugamba nti basula ku kasasiro kubanga ekifo we baazimba bayiwawo kasasiro okufaananako Kiteezi.

Abantu bakeera kufuuza kasasiro okunoonya sikulaapu, obucupa ne kalonda omulala gwe batunda okufuna ejjamba.

Clara Town (Liberia)

Ekifo Clara mu Liberia tekirina njawulo na Ilje ekya Nigeria. Byombi bisangibwa mu mazzi kyokka kiri bubi nnyo olw’omujjuzo gw’abantu abasula mu kifo ekifunda.

Kisangibwa mu kitoogo ku kazinga Barshod Island mu kibuga Monrovia, nga mwaka ku mwaka kibeeramu omujjuzo gw’amazzi era mu njogera ennyangu osobola okugamba nti abantu nga 90,000 basula mu bidiba.

Obuyumba baabuzimba ku nkondo kwe baabuyigiikiriza era bbo beewaana nti basula mu kalina.

Ilaje (Nigeria)

Kino kifo ekiri ku mwalo nga Ggaba wabula embeera abantu gye basulamu eyungula ezziga. Obuyumba abantu mwe basula baabuzimba ku nkindo z’emiti ze baasimba mu mazzi era bw’otuukawo weewuunya engeri abantu gye bayingira n’okufuluma mu buyumba bwabwe. Abangi bakozesa maato ng’era n’abaana abato tebatya mazzi.

Kangemi (Kenya)

Kisangibwa mu kikko okufaananako ng’Ekivvulu kya wano mu Kampala. Kisulamu abantu nga 120,000 aboogera ennimi ezisukka mu 25 era kye kimu ku bifo ebisingamu abantu ab’amawanga amagatte mu Kenya. Abantu basula nga mbwa era bali mu mbeera mbi nnyo olw’akasasiro n’emyaala egikulukusa kazambi.

Shomolu (Nigeria)

Kisangibwa mu kibuga Lagos ekya Nigeria nga kirimu obuyumba obw’omugotteko omusula abantu nga 380,000 nga kumpi bonna tebaasoma. Tebalina mirimu mitongole wabula beeyiiya bweyiiya nga bayita mu bumenyi bw’amateeka omuli n’ettemu.

Abantu bano kumpi n’emmese zibasinga okusula obulungi.

Mathare (Kenya)

 

Mukuru kwa Njenga (Kenya)

Kano kafo katonotono nga bw’olaba Kimombosa e Bwaise wabula kajjudde omugotteko gw’obuyumba obwazimbibwa mu bibaatibaati n’ebideeya nga kasuza abantu abasukka mu 100,000. Buli sizoni y’enkuba mu Kenya, obulwadde bwa Kkolera butandikira mu kifo kino era mu 2009 abantu nga 800 baafa.

Cazenga (Angola)

Abantu nga 425,000 be basula mu mugotteko gw’obuyumba mu kitundu kino. Y’emu ku Munisipaali omusanvu ezikola ekibuga Luanda ekya Angola.

Cazenga kye kifo kye wandiyise eky’abaavu lunkupe era abantu basula mu mbeera mbi so nga Luanda kye kimu ku bibuga ebisinga okubeera eby’ebbeeyi mu Kennedy Road, Durban (South Afrika) Obuyumba obw’omugotteko nga 7,000 bwe busangibwa mu kifo kino ekya Kennedy Road mu nkingizzi z’ekibuga Durban ekya South Afrika.

Abantu basula mu mbeera mbi nnyo bw’ogeraageranya ku bibuga bya South Afrika naddala Durban ekimu ku bisinga obunene n’ebbeeyi mu Angola.

Nima Slum (Ghana)

Nima kifo eky’omugotteko gw’obuyumba ekisinga obunene mu kibuga Accra ekya Ghana.

Abantu nga 45,000 basula mu buyumba bwa bibaati n’ebibaawo, tebalina kaabujonjo era amazzi banywa ga myala.

Kroo Bay (Sierra Leone)

 

Ebifo ebirala kuliko:

Ezbet el-Haggana (Misiri) ekisangibwa okumpi n’ekibuga Cairo ekya Misiri. Alexandra, Gauteng (South Afrika) kisangibwa mu kibuga Alexandra ku ludda olumu olw’ekibuga Johannesburg.

Kino kye kifo ky’abaavu abasingayo mu South Afrika ng’era abantu bali mu mbeera mbi.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

UNEB ewadde abayizi wiiki 5...

MINISITULE y’ebyenjigiriza ewadde abazadde n’abayizi omwezi gumu okusasula ssente z’ebigezo n’okwewandiisa okukola...

Trump ne Biden

Omugagga asasulidde abasibe...

OMUSAJJA bifeekeera, omu ku basinga obugagga mu Amerika akutte doola obukadde 16 n’asasulira abasibe 32,000 engassi...

Abawagizi ba Rukutana nga bajaganya

Engeri ebya Rukutana gye bi...

EBY’OBULULU bw’e Rushenyi bikyuse minisita Mwesigwa Rukutana bw’alangiddwa ng’eyawangudde akalulu k’essaza lino...

Omuyimbi Pia Pounds yeekokk...

Sheilah Gashumba kirabika kati ye yeekwatiramu mu kukuba ebifaananyi

Malokwezza ne mukazi nga bajaganya

Tofiri Malokweza (92): Ayog...

Bw’OLABA omuntu ow’emyaka 92 tolemwa kutendereza Katonda ate ng’eno bwe weebuuza ekyama kye ekimusobozesezza okuwangaala....