TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Muganda wa Kamoga bamuvunaanye kulya mu nsi lukwe

Muganda wa Kamoga bamuvunaanye kulya mu nsi lukwe

Added 24th August 2017

Muganda wa Kamoga bamuvunaanye kulya mu nsi lukwe

 Sheikh Bukenya

Sheikh Bukenya

SHEIKH Murta Mudde Bukenya muganda wa Sheikh Kamoga bamuleese mu kkooti ne bamuvunaana omusango omulala ogw’okulya mu nsi olukwe. We baamuleetedde eggulo, nga kkooti ky’ejje emusalire okusibwa amayisa oluvannyuma lw’okumusingisa ogw’obutujju ne banne bataano okuli ne mukulu we Kamoga.

Eggulo Abasiraamu 19 baaleeteddwa mu kkooti enkulu mu bukuumi obw’amaanyi nga basuubira nti omusango gw’okulya mu nsi olukwe ogubavunaanibwa gugenda kutandika okuwulirwa kyokka omulamuzi Wilson Masalu Musene yagwongezzaayo okutuusa nga September 18, 2017 ng’oludda oluwaabi lumaze okuwaayo obujulizi bwalwo.

Kkooti yalagidde gavumenti okuwa balooya b’abawawaabirwa obujulizi bwe bagenda okukozesa mu musango omupya ogwabaggulwako ogw’okulya mu nsi olukwe; nabo basobole okutegeka empoza yaabwe.

Sheikh Bukenya avunaanibwa n’abalala 18 okuli mulamu wa Dr. Aggrey Kiyingi ayitibwa Aisha Nakasibante, Amir Kinene ne Hakim Kinene Muswaswa kkooti be yejjeerezza ku Mmande omusango gw’okutta Abasiraamu n’obutujju kyokka ne batayimbulwa olw’omusango gw’okulya mu nsi olukwe gwe bavunaanibwa.

Abalala kuliko, Muzamilu Kasawuli, Arafat Serunjogi, Alex Okot, Joseph Olanya, Charles Okidi, Arajab Mubajje, Issa Matanda, Hajji Abdul Ratif Byamukama, Asadu Ssemwogerere, Solomon Kibirige, Safiyi Wadwali, Yusuf Ssentamu, Muhammad Kaloddo ne Ismail Ssentongo.

Ku musango guno, Sheikh Kamoga taliiko. Kigambibwa nti wakati wa 2013 ne 2015 mu bifo eby’enjawulo, abawawaabirwa baagezaako okuggyako gavumenti nga bagula emmundu n’ebissi eby’amaanyi ssaako okutendeka abavubuka eby’ekijaasi n’okubasendasenda bayingire obuyeekeera.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Embeera y'amasiro nga bwegali mu kiseera kino

Omuwanika wa Buganda Waggwa...

OMUMYUKA ow’okubiri owa Katikkiro era Omuwanika wa Buganda,Robert Waggwa Nsibirwa bwe yabadde asoma embalirira...

Abakozi abakolera mu Owino balaajanidde Gavumenti ku mmaali yaabwe

Abakolera mu Owino balaajan...

ABASUUBUZI abakolera mu katale ka St.Balikudembe balaze obutali bumativu olw'abeebyokwerinda okubagaana okutaasa...

Eyafumitiddwa ebiso nga bw'afaanana

Kamyufu afumise munne ebiso...

OLWAMAZE okufumita munne ebiso n’agenda nga yewaana nti, ‘mumaze naye agende yejjanjabe nga nange bwe ngenda okwejjanjaba’....

Nnamwandu Sarah Nassiwa ng'akungubagira bba

Kamyufu afumise munne ebiso...

OLWAMAZE okufumita munne ebiso n’agenda nga yewaana nti, ‘mumaze naye agende yejjanjabe nga nange bwe ngenda okwejjanjaba’....

Ronald Kyobe ng'alaga emmwanyi ze. Ebifaananyi bya Ssennabulya Baagalayina

Abalimi b'emmwanyi e Lwaben...

ABALIMI b'emmwanyi mu ggombolola y'e Lwabenge e Kalungu kwe basinzidde okusaba Gavumenti nti tekoma kubakunga wazira...