TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Mathiew Kanyamunyu kkooti ezzeemu okugaana okumweyimirira

Mathiew Kanyamunyu kkooti ezzeemu okugaana okumweyimirira

Added 24th August 2017

Mathiew Kanyamunyu kkooti ezzeemu okugaana okumweyimirira

 Kanyamunyu nga bamuggya mu kkooti.

Kanyamunyu nga bamuggya mu kkooti.

MATHEW Kanyamunyu, kkooti ezzeemu okumugaana okweyimirirwa omulundi ogwokusatu. Kanyamunyu n’abehhanda ze, baabadde basuubira nti ku mulundi guno omulamuzi Yasin Nyanzi agenda kukkiriza okweyimirirwa kyokka kyababuuseeko okulaba nga bamulinnyisa bbaasi bamuzzaayo mu kkomera e Luzira.

Muganzi we Cynthia Munwangari bwe baali baasibwa yabaddewo okumugumya nga bamuzzaayo e Luzira naye nga bombi bawotofu. Kanyamunyu bwe baamuzzizza mu kaduukulu, abehhanda ze baamuletedde omusawo okumwekebejja n’okumuwa obujjanjjabi nga bagamba nti mulwadde, kyokka bwe yali asaba okweyimirirwa teyategeeza kkooti nti alina obulwadde obumutawaanya.

Mu nsala y’omulamuzi eyasomeddwa omuwandiisi wa kkooti Rwatooro Muhendo, Nyanzi yagambye nti bukyanga agoba okusaba kwe okwokubiri nga March 28, 2017 tewali nsonga mpya gyamuwadde kw’ayinza okwesigama okukkiriza okusaba kwe okw’omulundi ogwokusattu.

Kanyamunyu mu kusaba okwokusatu kwe yakola yategeeza nti ennaku ze yaakabeera ku limanda ng’omusango gwe teguwulirwa zeeyongera buli kaseera nga n’omujjuzo mu kkomera gunafuya obulamu bwe. Wano omulamuzi Nyanzi yagambye nti eky’ennaku z’abadde ku limanda okuba nga zeeyongera buli kaseera si nsonga kkooti gy’eyinza okwesigamako okumukkiriza ave mu kkomera .

Mu kusaba kwe okwokubiri Kanyamunyu yategeeza kkooti nti muntu wabuvunaanyzibwa era Ssemateeka amukkiriza okusaba okweyimirirwa kuba omusango gw’obutemu tegunnaba kumusinga. Nyanzi bwe yali awa ensala yakkiriza muganzi we Cynthia Munwangari ne muganda we Joseph Kanyamunyu okweyimirirwa kyokka Mathew Kanyamunyu n’amugaana ng’agamba nti ensonga z’awa nti muntu waabuvunaanibwa era Ssemateeka amukkiriza okweyimirirwa nnafu.

Nyanzi yamugambye nti waddembe okugenda mu maaso n’addamu okusaba okweyimirirwa naye ensonga bw’aba akyalina ze zimu okusaba kwe kulina kuweebwa mulamuzi mulala so si ye kuba tasobola kulya bigambo bye. Kanyamunyu avunaanibwa okutta Kenneth Akena bwe yamukuba essasi e Lugogo ng’amulanga kukalabula mmotoka ye. Kigambibwa nti Kanyamunyu yali ne muganzi we Munwangari mu mmotoka ng’atta Akena

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mbuga ne Vivian

Ebya SK Mbuga ne mukyala we...

JALIA Vivian Mbuga yasoose kuvaayo ng’ayita ku mukutu gwe ogwa Face book n’avumirira ebikolwa by’obutabanguko mu...

Obutungulu busobola okukugg...

GWE abadde alowooza nti obwavu bwakwesibako era nga n’olumu weeyita mwavu, okukaaba kwo kukomye anti obutungulu...

Paul Kafeero

Ebya Kafeero okuziikuulwa b...

ABAANA ba Paul Kafeero bana bapangisizza looya omupya okubawolereza mu musango ogwabawawaabiddwa bannaabwe 10....

Engeri Corona gy'akosezzaam...

Engeri abatawulira, abatayogera n’abaliko obulemu obulala ate nga balina obulwadde bw’olukonvuba gye bakoseddwaamu...

Ennyumba Ssendawula gye yazimba e Kayunga.

Famire y'omusama amansa sse...

OLUKIIKO lwa ffamire olwatudde ku nsonga z’omuvubuka wa ‘Rich Gang’ Luke Junior Ssendawula lwasazeewo aziikibwe...