TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Amasasi ne ttiyaggaasi binyoose nga poliisi etaasa abaazirwanako

Amasasi ne ttiyaggaasi binyoose nga poliisi etaasa abaazirwanako

Added 25th August 2017

Amasasi ne ttiyaggaasi binyoose nga poliisi etaasa abaazirwanako

Amasasi ne ttiya gaasi binyoose nga poliisi etaasa abatuuze n'abaazirwanako be basanze nga basaawa emmwaanyi n'ensuku zaabwe eBunjako.

Ekibinja kyabatuuze abasoba 500 balumbye abaazirwanako abasoba mu 30 ababadde bagumbye ku ttaka ly'abatuuze nga basaawa emmwaanyi zaabwe n'ensuku nga bagamba nannyini ttaka Omulangira David Mawanda Namugala yabawaawo.

Abatuuze be Bunjoko mu gombolola ye Buwama mu mpigi okulumba abaazirwanako kiddiridde abaazirwanako okusaawa emisiri gy'emmwaanyi za batuuze egisoba mw'ena n'ensuku ekibagye mu mbeera ne baddukira ew'omubaka waabwe John Bosco Lubyayi kyokka bwe bamututte mu nnimiro zaabwe ezaasaayiddwa nga bamulambuza ne basangayo abaazirwanako nga basaawa ne bakubagana emiggo okukakkana nga poliisi ebakubyemu amasasi ne ttiyagaasi.

Nga poliisi emaze okubakubamu omukka ogubalagala ne babuna emiwabo abaazirwanako we bafunidde omwagaanya ne badduka era abatuuze ne bateekera obuyumba bwabwe bwe babadde basulamu omuliro n'ebikozesebwa byabwe ebirala okuli nengoye.

Abatuuze bano balumiriza Col Alfred Nangendo akulira Bonna bagaggawale okukulemberamu abantu bano okubasaayira ebirime byabwe nga agamba nti nannyini ttaka omulangira Mawanda yeyabawaddewo balimiriwo kasooli era nga kigambibwa yabawadde yiika 100 ezirimu emmere yabatuuze kye bagamba nti kiyinza okubaviirako okufa enjala ng'ate President Museveni yabasuubiza okulibagulira ettaka lino baleme kubasengula.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Matia Lubega eyabula ku bakadde be

Eyabula kati emyezi ebiri y...

Omwana eyabula kati emyezi ebiri nga n'okutuusa kati tannamanyikako mayitire yeeraliikirizza bazadde be nga bagamba...

Omuwala atuuyanidde mu ofii...

OMUWALA agambibwa okubba ensimbi emitwalo 290,000/= ku muvubuka yakiguddeko omuvubuka bwe yamuguddeko mu Kampala...

Ensi kuyiiya: Wuuno nnamuka...

ABAVUBUKA bangi banyooma emirimu olwo ne badda mu kwekubagiza nga bwebatalina mirimu n’obwavu obubalemesa okubaako...

Ensi ekalubye omukazi ow'em...

Nansubuga agamba ku myaka 75 asoboola okwetuusaako buli kimu.

Dr. Diana Atwine n'abakulu abalala nga balambula eddwaaliro

Dr. Atwine alagidde eddwali...

MINISITULE y'ebyobulamu ekkirizza eddwaliro ly'e Kayunga erimaze emyaka ebiri nga liddaabirizibwa litandike okujjanjaba...