TOP
  • Home
  • Agawano
  • Sheikh Kamoga gwe mmanyi: Nzijukira lwe yannumba e Nakasero ng'agamba ntunze omuzikiti - Sheikh Kakeeto

Sheikh Kamoga gwe mmanyi: Nzijukira lwe yannumba e Nakasero ng'agamba ntunze omuzikiti - Sheikh Kakeeto

Added 26th August 2017

ABAMU ku Bamaseeka abaludde nga bakolagana ne Sheikh Yunusu Kamoga battottodde bye bamumanyiiko ebiraga omusajja ayise mu ttanuulu.

 Sheikh Kamoga ( wakati) ng’alinnya bbaasi y’abasibe okuzzibwa e Luzira.

Sheikh Kamoga ( wakati) ng’alinnya bbaasi y’abasibe okuzzibwa e Luzira.

Bya JOSEPH MUTEBI NE MAHAD WAMALA

.....................................................................................

AMIIR SHEiKH SULAIMAN KAKEETO

Sheikh Muhammad Yunus Kamoga nnatandika okumulaba mu myaka gya 1980 ng’ali mu mirimu gye ng’omusuubuzi nga nze omu ku bakulembeze b’e Nakasero nga nkola ng’omuwandiisi era nga ndi Imaam owookubiri nga Sheikh Abdul-Hakim Kimbowa ye yali Imaam omukulu.

Sheikh Sulaiman Kakeeto

 Mu 1991 nnali Saudi Arabia ku misomo ne mpulira nti Abatabbuliiki baawambye ekitebe ky’Obusiraamu e Kampalamukadde era Sheikh Kamoga n’omugenzi Sheikh Abdul-Kalim Ssentamu ne baddukira e Nairobi .

Nga Sheikh Kamoga n’omugenzi Abdul-Kalim Ssentamu abali mu buwahhanguse, bampandiikira ebbaluwa nga bansaba ntwale Obutabbuliiki mu maaso.

Nakkiriza okutwala obukulembeze oluvannyuma lw’okuwagirwa Sheikh Kamoga n’omugenzi Ssentamu.

Mu 1995 nasisinkana Pulezidenti Museveni ne mwetondera byonna ebyaliwo ne mmusaba okuyimbula abantu baffe era batandika okuyimbulwa mu bibinja era ne Jamir Mukulu n’ayimbulwa.

Waayitawo akaseera katono n’ekibinja ekirala ekyali kikulirwa Sheikh Abdul-Hakim Ssekimpi ne kitweyawulako ne badda ku Market Street ne tubeera ebibinja bisatu.

Mu mwaka gwa 2000, Sheikh Kamoga yakomawo ne yeegatta ku Sheikh Ssekimpi ne Hassan Kirya mu 2010 ne balumba Nakasero nga bagamba nti atundiddwa oluvannyuma Kamoga yafuuka Amir Ummah w’Abatabbuliiki mu ggwanga.

Ashiraf Muvawala

Ono y’akulira eby’okunoonyereza n’obulambuzi ku Uganda Muslim Supreme Council agamba nti Kamoga amumanyidde ebbanga okuva mu 1990 era bino wammanga by’amumanyiko:

Nze natandika okumulaba mu 1990 ng’akulira Abatabbuliiki oluvannyuma lw’okuwamba obukulembeze bwa Zubair Bakali Nga Bakali agobeddwa e Nakasero, Kamoga yassaawo embeera ey’obunkenke nti Omutabbuliiki omutuufu alina kubeera wa njawulo nga yakuza ekirevu, yatema empale, okwebikkirira omutwe n’amaaso mu bakyala n’ebirala nga bakukuba ne bakugoba ne mu muzikiti.

Kino kyavako eyali Mufuti mu biseera ebyo Sheikh Rajab Kakooza okuwera Abatabbuliiki.

Amangu ddala ne Kakooza tebyamugendera bulungi kubanga Sheikh Saad Ibrahim Luwemba yali amaze okumuwangula mu kulonda okwaliwo n’agaanira mu ntebe, Luwemba n’agenda mu kkooti era kkooti n’esala omusango Luwemba adde mu nNtebe eno.

Ashiraf Muvawala

 

Wano Sheikh Kamoga yeegatta ku Sheikh Kakooza gwe baali baggye mu ntebe balemese okulayira kwa Luwemba era baakola olutalo, Kamoga n’akunga Abatabbuliiki ne bawamba ekitebe ky’Obusiraamu ekya Kampalamukadde.

Olutalo luno lwafiiramu n’abaserikale ba poliisi abamu ne babaggyamu n’amaaso ne batta n’embwa za poliisi.

Wano Pulezidenti Museveni yasindika omugenzi Gen Kazini n’asalako ekibuga okukkakkana nga Kamoga atidde okugenda okugamba Abasiraamu baamuke Kampalamukadde nga bwe baali bamulagidde n’addukira e Kenya ate Kazini n’akwata Abatabbuliiki abavubuka mu biseera kino 400 ne babasiba e Luzira okwali Jamil Mukulu ne Yahaya Mwanje.

Olwo omuzikiti gw’e Nakasero ogw’Abatabbuliiki, aba Kampalamukadde ne bagweddiza, Sheikh Kakeeto yali yagenda Saudi Arabia kusoma n’akomawo mu 1991 wabula Abatabbuliiki abavubuka baali baawahhangukira e Katwe mu Kinyolo ne bamutuukirira ne bamwegayirira abakulembere n’agaana oluvannyuma yakkiriza n’akola nnyo okuddamu okubagatta ku Kampalamukadde ne Gavumenti.

Yalwana okulaba nga banne abasibe bava e Luzira era ne babayimbula.

Wabula okumanya olutalo luno lwali lwa maanyi Jamil Mukulu bw’akomawo okuva mu kkomera yeeyawula ku Kakeeto eyabakulembera n’afuna ekiwayi ekikye ate ba Sheikh Kirya nabo ne balonda Sheikh Abdul Akim Ssekimpi ne bakuba amakanda ku Market street Mukulu ne badda ku Lubaga Road.

Maj. Kiggundu yasaba Gavumenti ekisonyiwo n’akomawo mu Uganda mu 1997 ne bamukkiriza okudda mu magye ate Kamoga n’akomawo mu 2000 okuva mu buyeekera.

Kamoga bw’akomawo, ab’ekiwayi kya Ssekimpi ne bamulonda ku bukulembeze. Era n’alwana nnyo okudda e Nakasero ne bawamba Kakeeto n’adduka n’adda ku ssaawa ya Kkwiini.

Amangu ddala Kamoga yeegatta ku Kibuli okulwanyisa Kampalamukadde ate mu 2014 n’asala eddiiro ne yegatta ku Kampalamukadde n’ava e Kibuli.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

RDC Kirabira ne ssentebe Matia Bwanika nga batema ddansi. EBIFAANANYI BYA PETER SSAAVA

CAO wa Wakiso atabaganyizza...

Akabaga kano akaabaddewo ku Lwokuna ku Maya Nature resort mu ggombolola y'e Nsangi e Wakiso, keetabiddwaako abakulira...

Omugenzi Sgt. Dick Magala

Abapoliisi abaafiiridde mu ...

GIBADDE miranga na kwazirana ku kitebe ky’ekitongole kya poliisi ekinoonyereza ku buzzi bw’emisango (CID) e Kibuli...

Ebimu ku bibala ebitwalibwa ebweru. Mu katono ye Kanyije.

Abatwala ebirime ebweru bee...

Abat wala ebirime ebweru w’eggwanga beemulugunya ku buseere bw’entambula y’ennyonyi ez’emigugu ng’ebisale byalinnyisibwa...

Ssentebe wa Luwafu B, Iga Gonzaga ng’annyonnyola abamu ku batuuze be ebyavudde mu kkooti.

Kkooti eyimirizza NEMA okug...

ABATUUZE b’e Kansanga abasoba mu 300 bafunye ku buweerero Kkooti Enkulu bw’efulumizza ekiragiro ekigaana ekitongole...

Abamu ku baffamire mu maka ga Maj. Mukasa e Kagoma.

Munnamagye eyayambako okule...

MUNNAMAGYE omulala, Maj. Gen. Eric Mukasa 60, eyakuba emmundu okuwamba enkambi y’e Kaweeweeta mu lutalo olwaleeta...