TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Desire Luzinda ayogedde ekimulemezza ku myaka 25

Desire Luzinda ayogedde ekimulemezza ku myaka 25

Added 26th August 2017

OMUYIMBI Desire Luzinda ajaguzza emyaka 25 omulundi ogwokuna ekitabudde abawagizi kyokka bano abakkakkanyizza bw’ababuulidde ekyama ky’alina mu myaka gino.

Desire agamba omuwala ow’emyaka 25 abeera akyali mbooko nga n’abasajja bamuyaayanira nga naye bw’ali era emyaka gino giggyayo ffi ga ye, endabika ye, obulungi n’okubeera n’akasusu akaweweevu.

Desire eyayingiddewo mu sswagga ng’akuumibwa bakanyama bana (4) yagasseeko nti abo abamulumba nti asala emyaka bamulinako nnugu naye tabafaako.

OMUGAGGA LWASA AYOGEDDE KU NKOLAGANA YE NE DESIRE

Ku kabaga kano akaabadde ku Space Lounge, omugagga Emmanuel Lwasa yatudde okuliraana Desire(Birthday girl) nga ye Lwasa abantu obwedda bamuyita ‘Birthday boy’ abalala nti ‘Uncle Desire’.

Yalabye ebigambo bimuyitiriddeko kwe kutegeeza nti Desire mukwano gwe n’abayimbi abalala, eky’enjawulo nti yamuwa n’omulimu okutumbula ebbaala ye Club Tavern Kick e Masaka.

MODDO SSEMPAKA ALAZE OMULENZI WE

Debby Ssempaka moddo era omu ku bawala abamanyiddwa okulya obulamu mu Kampala ng’ono mu kiseera kino nnakawere yasinzidde ku kabaga kano okulaga mu butongole bba omugagga omuto Abraham Luzzi amanyiddwa nga Mr. Economy eri abantu abaludde nga bamubuuza omusajja amubiita era bano gwe mulundi gwabwe ogusoose okulabikako bombi mu lujjudde mu kifo ekisanyukirwamu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Embeera y'amasiro nga bwegali mu kiseera kino

Omuwanika wa Buganda Waggwa...

OMUMYUKA ow’okubiri owa Katikkiro era Omuwanika wa Buganda,Robert Waggwa Nsibirwa bwe yabadde asoma embalirira...

Abakozi abakolera mu Owino balaajanidde Gavumenti ku mmaali yaabwe

Abakolera mu Owino balaajan...

ABASUUBUZI abakolera mu katale ka St.Balikudembe balaze obutali bumativu olw'abeebyokwerinda okubagaana okutaasa...

Eyafumitiddwa ebiso nga bw'afaanana

Kamyufu afumise munne ebiso...

OLWAMAZE okufumita munne ebiso n’agenda nga yewaana nti, ‘mumaze naye agende yejjanjabe nga nange bwe ngenda okwejjanjaba’....

Nnamwandu Sarah Nassiwa ng'akungubagira bba

Kamyufu afumise munne ebiso...

OLWAMAZE okufumita munne ebiso n’agenda nga yewaana nti, ‘mumaze naye agende yejjanjabe nga nange bwe ngenda okwejjanjaba’....

Ronald Kyobe ng'alaga emmwanyi ze. Ebifaananyi bya Ssennabulya Baagalayina

Abalimi b'emmwanyi e Lwaben...

ABALIMI b'emmwanyi mu ggombolola y'e Lwabenge e Kalungu kwe basinzidde okusaba Gavumenti nti tekoma kubakunga wazira...