TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Ssentebe wa NRM ebweru w'eggwanga ayaniriziddwa mu kitiibwa

Ssentebe wa NRM ebweru w'eggwanga ayaniriziddwa mu kitiibwa

Added 27th August 2017

Ssentebe w'ekibiina kya NRM ebweru w'eggwanga ayaniriziddwa mu kitiibwa

 Patrick Asiimye ng'atuuse e Turkey

Patrick Asiimye ng'atuuse e Turkey

SSENTEBE ow’ekiseera ow’abawagizi ba NRM obweru wa Uganda Mw. Patrick Asiimwe ayaaniriziddwa mu bbugumu bw’abadde atuuka mu kibuga Istanbul  ekya Turkey gy'agenze okukunga Bannayuganda abaliyo okwongera okwegatta ku kibiina kya NRM.

Mu kutuuka ku  kisaawe ky’ennyonyi e  Istanbul Atarkuk mu  Turkey yayaniriziddwa Bannayuganda abawagira NRM abakulembeddwamu Ssentebe waabwe Hussein Wasswa.  “Ekindeese wano kwe kubalabako, okwongera okuliisa enjiri ya NRM tusobole okufuna bammemba abapya ate n’okufuna ebirowoozo byamwe ku ngeri gye tusobola okwongera okulongoosa empeereza yaffe ng’abakulembeze gye muli”, Asiimwe bwe yabategeezezza abawagizi abakunganidde  ku Kigilasi Hall mu kibuga Istanbul.

Kwe kubakakasa ng’enteekateeka z’okulonda abakulembeze abaggya omwaka ogujja bwe zigenda mu maaso n’abasaba okwewandiisa n’okujjumbira okulonda kuno bwe kunaaba kutuuse.

Asiimwe era yabakunze okuwagira kaweefube yenna gwe baliko ng’ekibiina omuli okulwanyisa obubenje ku nguudo zomu Uganda, okutumbula eby’obulamu, eby’obulambuzi n’okusikiriza mu musiga nsimbi okujja mu Uganda batandikemu emirimu.

Akulira ettabi ly’e Turkey , Wasswa mu kwogera kwe yasiimye ebituukiddwako mu bukelembeze bwa Mw. Asiimwe era ne yeyama ku lwa banne okugenda mu maaso n’okumuwagira n’enteekateeka zonna ezikoleddwa obukulembeze bwe.

Ate omwogezi w’ekibiina kino ow’ekiseera Mw. Moses Kimuli, yagambye nti olugendo luno mukamaawe Asiimwe lwe yatandikidde Turkey lugenda kumutuusa ne mu mawanga amalala okuli Egypt, South Africa, Dubai ne  Qatar  ng’agenda abunyisa enjiri ya NRM, okukunga abantu okugyegattako, okuwagira enkulaakulana ate n’okulaba amatabi gaabwe mu mawanga gano bye gatuuseeko era nga wakutuuka ne Japan ne China 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omulimu gw'okuddaabiriza Nk...

Abaasomerako ku ssomero lya Nkumba P/S bayingidde omutendera ogw'okusatu mu kuddaabiriza ebizimbe ku ssomero lino...

UGANDA EKWATA KISOOKA MU AF...

OMUWANDIISI w'enkalakkkalira mu minisitule y'ebyobulamu Dr Diana Atwine abugaanye essanyu oluvanyuma lw'okufuna...

Joseph Nuwashaba ng'atwalibwa mu kkooti

Eyakwatibwa ku by'omwana ey...

Omusajja agambibwa okutemako omwana Faith Kyamagero ow'emyaka 4 omutwe aleeteddwa mu kkooti.

Omwana eyasalibwako omutwe ...

Omwana eyasalibwako omutwe e Masaka ne bagutwala ku Palamenti aziikiddwa

Ssebbumba eyakubiddwa lwa bubbi

Abadde mu jjaamu e Kawempe ...

Abadde mu jjaamu e Kawempe bamukubye mizibu