TOP

'Amazzi amacaafu gatugobyeko abasajja'

Added 2nd September 2017

“Twalyaaki ffe okunaaba amazzi ag’ettosi? Amaka agamu gasasise, abasajja b’anoba,”

Bya TOM GWEBAYANGA

Abakya la b’e Budhaga mu ggombolola y’e Namasali e Kamuli bavudde mu mbeera ne beekalakaasa olw’abakulembeze baabwe obutabafaako ne babaleka okukozesa amazzi amacaafu.

Bagamba nti okuva amazzi bwe gaabula kati ge banaaba bagaggya mu ddaamu n’ebidiba by’ente ng’ate macaafu agatasobola kubatukuza bulungi.

Bagamba nti olw’amazzi okuba amacaafu abasajja babadduseeko kuba ne bwe banaaba basigala bawunya ekivundu.

Baabadde beekalakaasa nga bwe baleekaanira waggulu nti , “tetugenda kulumbibwa birwadde biva ku kunywa mazzi macaafu.

Gatusiiwa n’emibiri ne gikakanyala nga muwogo omwokye, abasajja tubawunyirira nga n’abamu batudduseeko bagamba bakooye ekivundu ekituvaamu”.

Beekokodde ssentebe wa LC lV, Tomas Kategere ne bakansala be, be baagambye nti bwe bagaba nnayikonto bo tebabawa ne basigala kukozesa mazzi g’ebiddiba nga n’ente mwe zimywa n’okunaaba.

“Twalyaaki ffe okunaaba amazzi ag’ettosi? Amaka agamu gasasise, abasajja b’anoba,”Scovia Namusobya, bwe yagambye.

ABAKULEMBEZE BOOGEDDE

Ssentebe wa LCll, Charles Kapiriri yagambye nti nnayikonto abatuuze b’omu kitundu kino gye basobola okukozesa eri ku kyalo ky’e Kakanhu ekyesudde kiromita bbiri nga n’abantu abagikozesa bangi.

Kapiriri yagambye nti akawunga ke bagoyezza nga bakozesa amazzi tegaliika kuba kaba kawunya bubi.

Monica Nabirye, akulira abakyala yagambye nti, “caayi tetukyatawaana kussaako majaani kuba amazzi gabeera gakyusizza dda langi, ate tawooma”.

Kansala w’eggombolola y’e Namasagali, Christine Owagage yagambye nti obutakkaanya kituufu we buli mu maka kuba abakazi bwe balwawo okudda awaka nga bagenze okunoonya amazzi abasajja nga babakuba kuba baba balowooza nti bali mu byabwe.

Baalayidde okugenda ku kitebe e Kamuli n’amazzi ge bakozesa babirage ssentebe waabwe nga bagamba nti lw’ajja okutegeera obuzibu bwe balimu.

Kyokka ssentebe Kategere yagambye nti embeera eno abadde tagimanyi era agenda kusisinkana bakansala bagisalire amagezi.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mmotoka ya minisita Atwoki eyakubiddwa amasasi.

Minisita asimattuse amasasi

Minisita omubeezi avunaanyizibwa ku byenfuna mu offiisi y'omumyuka wa Pulezidenti, Dr Baltazar Kasirivu-Atwooki,...

Kiddu (ku kkono) ne munne.

Bannabyamizannyo abattiddwa...

Nga December 30 omwaka oguwedde, abantu abatamanyiddwa baasindiridde Isaac 'Zebra' Senyange, eyaliko kapiteeni...

Sserunjogi ng’alaga ebintu by’atonaatona omuli essaati, ebikopo n’ebirala ebikozesebwa mu kunoonya obululu okusikiriza abalonzi.

Sserunjogi kkampeyini aziko...

AWAGWA ekku tewabula kalondererwa, ekiseera kya kkampeyini bangi bakikozesezza okuyiiya ssente era gubeera mugano...

Ssentebe Andrew Kasatiiro ng'agezaako okunnyonnyola abaatafunye butimba.

Ab'e Jinja Kalooli batabuki...

Abatuuze b'e Jinja Kalooli mu Wakiso beeweereza ebisongovu n'abakulembeze baabwe lwa butabawa butimba bwa nsiri....

Kasibante ku mpingu  ng'akwatiddwa.

Agambibwa okugezaako okufum...

OMUSUUBUZI   aloopye omuvubuka ku poliisi n'amulumiriza  okumuggyiraayo ekiso amufumite abaduukirize ne bamutaasa....