TOP

Ying. Badru Kiggundu yeewuunyizza ab'e Kenya

Added 3rd September 2017

YING. Dr. Badru Kigundu eyali akulira akakiiko ke by’okulonda mu Uganda yeewunyizza nnyo ekya kkooti ensukkulumu mu Kenya okusazaamu obuwanguzi bwa Uhuru Kenyatta n’ategeeza nti abalamuzi eggwanga balitadde mu ddubi.

 Kiggundu

Kiggundu

Bya KIZITO MUSOKE

YING. Dr. Badru Kigundu eyali akulira akakiiko ke by’okulonda mu Uganda yeewunyizza nnyo ekya kkooti ensukkulumu mu Kenya okusazaamu obuwanguzi bwa Uhuru Kenyatta n’ategeeza nti abalamuzi eggwanga balitadde mu ddubi.

Yagambye nti buli nsi ebeera n’amateeka gaayo g’egoberera, era asuubira nti ge baasinziddeko okusazaamu obuwanguzi bwa Uhuru.

Okutegeka okulonda kwa Pulezidenti mu nnaku 60 zokka kubeera kugezesa kwa maanyi era bannansi beetaaga ssaala.

“Simanyi oba ng’abalamuzi baatunuulidde ensonga zonna , era bamanyi eddubi lye baasudde mu nsi zaabwe. Ensobi ze baazudde sinazitegeera olwo nsooke ntegeerere ddala kwe baasinzidde okusazaamu okulonda.” Kigundu bwe yategeezezza.

Bwe yabuuziddwa eky’okuyiga Uganda kyefuna mu kulonda kwe Kenya, yagaanye okukyanukula n’ategeeza nti kino kisobola okufunika nga bamaze okwetereza ensala yonna mu bujjuvu eyabadde tennaba kufunika.

EKITONGOLE EKIRAMUZI KYOGEDDE

Vincent Mugabo, omwogezi w’ekitongole ekiramuzi yagambye nti amateeka ga Kenya ku misango gy’okulonda ga njawulo nnyo ku ga Uganda, wadde nga fenna tusangibwa mu Buvanjuba bwa Africa.

Yategeezezza nti Ssemateeka wa Uganda agamba nti akalulu okusazibwamu, emivuyo egyali mu kalulu girina okuba nga gyali gisobola okukyusisa ebyava mu kulonda.

Abalamuzi balina okuba nga bamativu nti osanga ssinga emivuyo egyo tegyalimu , obuwanguzi bwandibadde bwa muntu mulala.

Kyokka e Kenya amateeka googera ku mivuyo egiba gibadde mu kulonda. Abalamuzi basobola okusinziira ku bujulizi obuba buleeteddwa nga bukakasa nti mwalimu emivuyo ne basazaamu okulonda.

Yabuuziddwa ku nkola egambibwa obutaba na bwerufu etakkiriza Bannayuganda kumanya ngeri abalamuzi gye basunsulwamu.

Abalamuzi ba Uganda akakiiko ka Palamenti bwe kabeera kabasunsula tewakkirizibwayo wadde bannamawulire.

Kino yagambye nti ne mu Kenya kiri ku bifo bimu, nga nayo balina ebifo bingi gye basunsula abantu nga tebali mu lujjudde.

EYALABIRIRA OKULONDA E KENYA AKUKUBYEMU EBITULI

Michael Osinde Orachi, omwogezi wa UPC era omu ku batunuulizi abaalabirira okulonda kwe Kenya, yagambye nti wadde baabakkiriza okutuuka mu bifo we balondera, kyokka abasinga tebaatuuka mu kifo we baagattiranga obululu.

Yagambye nti mu kibinja kye yalimu, Muky. Angelina Wapakhabulo naye be bokka abaatuuka e Bomas we baali bagattira obululu bwonna.

Wadde okulonda okutwaliza awamu kwali kwa mirembe, kyokka talina bukakafu nti obululu bwagattibwa bulungi kuba teyafuna mukisa gutunula ku bululu nga bugattibwa.

“Twabuuza engeri obululu gye bwatuukanga mu kifo we bagattira, kyokka Dr. Ezra Chiloba, eyali akulira akakiiko ke by’okulonda n’atutegeeza nti bye tulaba ku ntimbe tuleme kubitwala ng’ekikulu kuba byali bya kiseera.

Baatugamba nti empapula zennyini kwe baali balondedde zaali zijja era nga ze zijja okuba ezenkomeredde.”

Yagambye nti wadde ng’oluvannyuma empapula entono zajja ne tuzirabako, kyokka nga tetusobola kukakasa oba nga ddala ze ntuufu ze baali baggye mu bitundu ebyenjawulo.

Ezisinga baatugamba nti baali baziweererezza ku kompyuta ate ng’ezo tetusobola kuzifuna butereevu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omusango gwa Kibalama gulek...

OMUSANGO gwa Moses Kibalama ogw’obwannanyini bw’ekibiina kya NUP gwakusalwa nga October 16. Kyokka we banaagusalira...

Kibalama

Kibalama ayogedde lwaki yak...

EYALI Pulezidenti w’ekibiina kya National Unity and Reconciliation Party (NURP) Moses Nkonge Kibalama, agamba nti...

Owa North Korea yejjusizza ...

AMAGYE ga North Korea okutta munnansi wa South Korea gwe baasanze abuuse ensalo ng’ali mu mazzi gaabwe biranze....

Omukungu wa Twaweza ng'annyonnyola

Aba Twaweza bafulumizza ali...

LEERO Mande September 28, 2020 giweze emyaka 15 nga Uganda eyisizza etteeka erikkiriza abantu okufuna amawulire...

Amaka ga Seya Sebaggala

Seya alese omukululo mu byo...

EBYOBUFUZI ebyali bibuutikiddwa abayivu, Seya yabikyusa n’abiyingizaamu n’abantu ba wansi abaali beerabiddwa.