TOP

Eyakwatiddwa ku nvuba embi basanze atugiddwa

Added 3rd September 2017

FAMIRE y’omuvubuka eyattiddwa ab’amagye abalwanyisa envuba embi ne bamusuula mu nnyanja baddukidde mu bannamateeka b’ekibiina ekirwanirira eddembe ly’obuntu lwa kubatiisatiisa okubatta.

 Omugenzi Kafeero

Omugenzi Kafeero

Bya PADDY BUKENYA

FAMIRE y’omuvubuka eyattiddwa ab’amagye abalwanyisa envuba embi ne bamusuula mu nnyanja baddukidde mu bannamateeka b’ekibiina ekirwanirira eddembe ly’obuntu lwa kubatiisatiisa okubatta.

John Kafeero 24, eyali omutuuze w’e Lubombwe mu kizinga ky’e Bunjakko mu ggombolola y’e Buwama mu Mpigi yakwatibwa amagye agakola ku nvuba embi oluvannyuma omulambo gwe ne gusangibwa mu nnyanja.

Omulambo gwa Kafeero gwasangiddwa mu nnyanja wakati w’omwalo gw’e Ggolo ne Lwalaalo nga gusibiddwa emiguwa mu kiwato okwabadde amayinja amanene nga baasooka kumusiba amagulu n’emikono gattako omuguwa mu bulago oguteeberezebwa okuba nga gwe baamutugisa.

Famire ye yategeezezza nti tebakyasula mu nnyumba olw’abasajja okuli Wasswa Musumba ne Abdu Lumu abaanona Kafeero mu bbaala nti babatisatiisa nti essaawa yonna nabo bagenda kubuzibwawo singa tebakomya kubatambulirako.

Joseph Ssali kitaawe w’omugenzi agamba nti ekimwewuunyisa kwe kuba nti mutabani we teyali mubvubi kyokka Lumu ne Musumba ne bamutwala nga bamulumiriza okwenyigira mu nvuba mbi era okuva olwo tebaddamu kumulabako okutuusa bwe baagudde ku mulambo gwe nga yattibwa.

Bino baabinnyonnyodde munnamateeka w’essaza lya Mawokota Simon Peter Kawuki akulira ekibiina ky’eddembe ly’obuntu ekya AROJPED gye baddukidde okuyambibwa okutambuza omusango guno oluvannyuma lw’obutayambibwa poliisi y’e Buwama.

AB’AMAGYE BADDUKIDDE KU POLIISI

Munnamateeka Simon Peter Kawuki ategeezezza nti ab’amagye ga UPDF nga bamaze okufuna amawulire nti famire ya Kafero ebagguddeko omusango baategenze ku poliisi e Buwama ne bakola sitatimenti nti Kafeero yabatoloseeko ekiro n’adduka.

POLIISI TENNAKWATAYO MUNTU YENNA

Joseph Ssali agamba nti wadde waliwo obujulizi obulaga nti waliwo abaanona mutabani we mu bbaala ne bamukuba bubi nnyo tewali yali akwatiddwa ng’ate poliisi yamusaba ssente 80,000/- okugula amafuta okugenda okubakwata.

EBBALUWA Y’OMUSAWO BAGIBANJA

Famire y’omugenzi Kafeero yategeezezza nti poliisi yabategeeza nti ebbaluwa y’omusawo eraga ekyatta omugenzi ekyakolebwako.

Bongeddeko nti, poliisi bwe yatuusa omulambo gwa Kafeero e Mulago yakyusa amannya ge ne bamutuuma Misuseera Kafeero mu kifo kya John Kafeero.

Abdu Lumu omu ku be balumiriza okukwata Kafeero ategeezezza nti, ye yakoma ku kulagirira bannamagye Kafeero we yali era olwamukwata ebibye we byakoma.

Akulira okunoonyereza ku buzzi bw’emisango mu disitulikiti y’e Mpigi, Rose Natukunda agambye nti abagambibwa okukwata omugenzi bagenda kubakwata banoonyerezebweko.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omusango gwa Kibalama gulek...

OMUSANGO gwa Moses Kibalama ogw’obwannanyini bw’ekibiina kya NUP gwakusalwa nga October 16. Kyokka we banaagusalira...

Kibalama

Kibalama ayogedde lwaki yak...

EYALI Pulezidenti w’ekibiina kya National Unity and Reconciliation Party (NURP) Moses Nkonge Kibalama, agamba nti...

Owa North Korea yejjusizza ...

AMAGYE ga North Korea okutta munnansi wa South Korea gwe baasanze abuuse ensalo ng’ali mu mazzi gaabwe biranze....

Omukungu wa Twaweza ng'annyonnyola

Aba Twaweza bafulumizza ali...

LEERO Mande September 28, 2020 giweze emyaka 15 nga Uganda eyisizza etteeka erikkiriza abantu okufuna amawulire...

Amaka ga Seya Sebaggala

Seya alese omukululo mu byo...

EBYOBUFUZI ebyali bibuutikiddwa abayivu, Seya yabikyusa n’abiyingizaamu n’abantu ba wansi abaali beerabiddwa.