TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Ssaabasumba Kizito Lwanga avumiridde ettemu erisusse ensangi zino

Ssaabasumba Kizito Lwanga avumiridde ettemu erisusse ensangi zino

Added 4th September 2017

Ssaabasumba Kizito Lwanga avumiridde ettemu erisusse ensangi zino

Bya Sandra Namirimu

SSAABASUMBA w' eSsaza ekkulu erya Kampala Dr.Cyprian Kizito lwanga yennyamidde olw’ettemu erisusse mu ggwanga ng'abantu basanjaga bannaabwe awatali kusaasira.

Ssaabasumba agambye nti ffena twava mu kifaananyi kya Katonda tewali alina buyinza ku bulamu bwa munne n'olwekyo tulina okukomya ebikolwa eby'ettemu n'okulumya bannaffe.

 

Ssaabasumba okwogera bino abadde aggulawo eklezia y’ekigo ky’omutukuvu Gonzaga Gonza e kireka mu Kamuli gy'aweeredde eklezia omukisa okutandika okusumba abantu era n'asaba abakkiriza okuvaamu emitima egy'ekko n'okukola obubi bannaabwe.

Ronald Kasozi nga y'akulidde olukiiko oluzimbye kelezia eno ategeezezza nga bwewemmense obukadde obusoba mu 750 nga bagizimbidde emyaka musanvu era ne yeebaza bonna ababakwasirizzaako okulaba nga omulimu guno guggwa.

​ 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Olukiiko lwa NRM e Bukasa L...

WABADDEWO okusika omuguwa ku Ofiisi za NRM e Bukasa-Masozi mu Ggombolola y'e Bweyogerere mu Munisipaali y'e Kira...

Aba Takisi mu ppaaka y'oku ...

WABALUSEWO obutakanya mu ba takisi mu  ppaaka y'oku kaleerwe ekiwayi ekimu bwe kirumirizza nanyini ttaka kwe bakolera...

Nalweyiso ng'atottola obulamu bw'ekkomera

Gwe baakwatira mu Curfew ne...

OMUYIMBI  eyakwatibwa olw'okugyemeera ebiragiro bya pulezidenti oluvudde mu kkomera e Kigo nayiiya oluyimba lw'atumye...

Abaabadde batendekebwa okuyamba abakoseddwa mu mataba.

Ab'e Kasese abaakosebwa ama...

ABANTU b'e Kasese abaakosebwa amataba olw'omugga Nyamwamba okwabika bakyalaajanira gavumenti okubayamba waakiri...

 Abdallah Mubiru ng'ayogerako n'abazannyi be

Mubiru atendeka Police FC a...

OMUTENDESI wa Police FC, Abdallah Mubiru, aweze nga sizoni ejja bw’alina okulaba nga ttiimu ye evuganya ku bikopo....