TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Akalulu ka Bukedde kakutte akati; Owa Tamale and sons akeenyigiddemu

Akalulu ka Bukedde kakutte akati; Owa Tamale and sons akeenyigiddemu

Added 6th September 2017

Akalulu ka Bukedde kakutte akati; Owa Tamale and sons akeenyigiddemu

BANAKAMPALA beyongedde okwetanira akalulu ka Bukedde ak’okugenda mu kibuga Abu Dhabi bwe baguze amawulire ga Bukedde  okusobola okutangaaza emikisa gy’okulinnya ennyonyi okugeako Abdabi

Olwaleero akulira kampuni ya “Tamale and sons Paul Tamale ye yasoose okugulira abakozi be kopi z’amawulire ga Bukedde n’ekigendererwa ky’okubasobozesa okujjuza obukonge okubatangaaliza emikisa ky’okuwangula olugendo lw’e Abu Dhabi.

Era bakira buli mukozi akwata akatabo ka Bukedde asooka kunoonya muko gw’akubiri awabeera akakonge kano okukajjuza nti aleme kusubwa mukisa gw’okulinnya ku bbaati ng’enjogera y’enakku zino bweri .

Embeera eno yawaliriza n’abamu ku ba poliisi abakulembeddwa Mohammad Rashid Byansi atwala poliisi ye Nateete ne Primrose Nantongo atwala poliisi ya Nanfuka zooni esangibwa mu kifo kye kimu(Nateete) okujja mu kifo kino okulaba ekigenda mu maaso.

Era gye byaggweeredde nga nabo bakwatiddwa ekinyegenyege ne basalawo okwegatta ku mukolo gw’okujjuza obukonge buno.

Mungeri y’emu n’abagagga abalala abakulembedwa David Ssembatya nannyini kifo kya “Makula Garden Spot” ekisangibwa e Kyengera ne Frank Jjumba akulira kampuni ya Jjumba Property Consultants nabo beetabye mu kalulu ka Bukedde bwe bagulidde abakozi baabwe ne bakasitooma ba Bukedde  abalala omwabade aba boda boda kopi 50 buli omu 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ebiragiro by'akakiiko k'ama...

EBIRAGIRO by'akakiiko k'amasaza bitemyemu abaddukanya ttiimu ezenjawulo ng'abamu babiwagira ,ate ng'abalala bawera...

Aba akeedi bawanjagidde Gav...

ABAKULEMBEZE ba KACITA balabudde nti bavudde ku nkola y'akakiiko akassibwaawo okulambula akeedi mu Kampala okukakasa...

Dr. Emmanuel Diini Kisembo eyaloopa omusango gw'ebyokulonda

Omusango ogwawaabirwa akaki...

KKOOTI enkulu etuula ku Kizimbe kya Twed Towers mu Kampala etandise okuwulira omusango ogwawaabirwa akakiiko k'ebyokulonda...

Omubaka Kato ekyenda bakizz...

OMUBAKA Kato Lubwama owa Lubaga South asulirira kusiibulwa oluvanyuma lw’ekyenda ekibadde kikuumirwa ebweru w’olubuto...

Kajoba azzeemu okukwatagana...

Ku wiikendi Vipers SC yawadde omutendesi Kiwanuka endagaano ya myaka ebiri okumyuka omutendesi Fred Kajoba ng’ono...