TOP

Omusajja weekwate bino owangaalire e Namboole

Added 6th September 2017

Omusajja weekwate bino owangaalire e Namboole

SUZAN Nakigudde ow’e Kawempe agamba nti okwegatta kwamutama lwa bba butabaako w’amutuuka mu nsonga zino. “Munnange namulemerako tufuneyo ku ddagala asobole okuwangaalira mu kisaawe naye nga tafaayo ekiraga nti yeefaako yekka ne bwe sinyumirwa si nsonga gyali..,” bwatyo Nakigudde bw’anyumya ku nsonga y’akaboozi mu bufumbo bwabwe akatuuse okubatabula.

Abaagalana bangi abali mu mbeera eno, ng’omusajja tawangaalira mu kisaawe, olwo n’aleka munne ng’awankawanka. Ensonga ezireeta embeera eno mulimu;

1 Ebirowoozo. Abaagalana kasita mwegatta nga mulina ebirowoozo bingi kino kireeta obuzibu bw’okumalamu amangu akagoba kubanga muba mwegatta kutuusa mukolo naye ng’omutima teguli ku kwegatta.

2 Amaddu bwe gayitirira ku ludda lw’omusajja kiba kizibu okuwangaalira mu kisaawe kubanga oluba okutandika ng’atuuka ku ntikko olwo munne n’asigala nga tamatidde.

3 Obukodyo obumu abaagalana bwe bakozesa nga beegatta nabwo oluusi buleetera omusajja okutuuka amangu ku ntikko. Okugeza omusajja bw’aba n’obwagazi obungi tekiba kirungi kwesiba ku bukodyo obumuteeka munda mu bukyala, kubanga ebbugumu bwe liyitirira limutuusa mangu ku ntikko.

4 Oluusi okutuuka amangu ku ntikko kiva ku muntu kwefaako yekka n’atakitwala nga kikulu naye okumalamu akagoba.

5 Omwenge. Abasajja abamu bwe banywa omwenge bacamuka ne bafuna obwagazi bungi. Kino oluusi kye kibaleetera okumalamu amangu akagoba.

6 Oluusi embeera eno eva ku musajja obutategeka bulungi munne n’afubutuka bufubutusi. Mu mbeera eno kiba kizibu okuwangaalira mu kisaawe kubanga omusajja aba alowooza kimu kya kumalamu kagoba.

7 Ku basajja abamu kino kibaawo ssinga baba baludde okwegatta, olwo bw’afuna omukisa okuddamu okwegatta, kiba kizibu okuwangaalira mu kisaawe kuba obusajja buba tebumanyidde mbeera eno.

EBIYAMBA OKUWANGAALA Senga Zalikah Nalubwama ow’e Gayaza agamba nti omuntu yenna asobola okuba n’obusobozi okulwa mu kisaawe era n’anyumisa akazannyo kano ne munne n’akkuta bulungi ssinga abeera akoze bino;  Omusajja bw’olaba ng’ogenda kutuuka ku ntikko, kwata mpola mu ntula zo.

Ddira engalo ensajja n’eyawakati weekubeko mpolampola. Kino kiyambako okukanga amazzi agaba gatandise okufuluma ne gasiriikiriramu, n’ogenda mu maaso.  Bw’olaba nga kikuyitiriddeko, osobola okukyusaamu n’odda ku bbakuli, naddala nga munno agyagala.

Ate jjukira nti ebbakuli eryongera omukazi obwagazi era ojja kwesanga nga ne munno atuuse ku ntikko.

Omusajja okweyisaako akawero akannyogoga nakyo kiyinza okumuyamba obutamalaamu mangu kagoba n’atwazaayo eddakiika eziwera. Akawero ako kayamba okukkakkanya ku bbugumu ly’aba afunye okuva mu bukyala n’asobola okukkakkana.  Musobola n’okukyusa ekifo we mubadde munyumiza akaboozi, ojja kulaba nga munno atwaliriza ekiseera.

 Mukyuse ku sitayiro ze mubadde mumanyidde, era ojja kulaba ng’embeera eyongedde okuba ennyuvu.

 Oluyimba lw’eggwanga nayo nsonga nkulu eyamba abaagalana okuwangaalira mu kisaawe. Ssinga mwembi mulwetabamu ate ng’omukazi akozesa ebigambo ebituufu kyongera okuwaga omusajja n’acanga akapiira okutuusa bombi lwe bamatira.

 Kikulu ebirowoozo okubiteeka ku kigenda mu maaso. Kino kijja kubongera okunyumirwa omukwano era ekigendererwa ky’okusanyusibwa kituukirire.

 Okunyeenya ekiwato mu ngeri entuufu nakyo kirungo mu nsonga z’omukwano ekiziyamba okugenda obukwakku. Ssinga omukyala akinyeenya obulungi kyongera omusajja obuswandi olwo ekigwo ne kinyumira ddala.

 Enkozesa y’enkumbi entuufu nakyo kikulu mu nsonga z’ekisenge kubanga ssinga omukyala abudaabuda bulungi munne ng’akozse enkumbi kijja kumuwa amaayi agongera okumusanyusa, kubanga n’engeri gy’amulongoosaamu eyongera ebbugumu mu mukwano gwabwe.

 Obutasuulirira kaboozi nakyo kikulu. Abaagalana gye bakoma okwegatta amaddu gagenda gakendeera era batuuka ekiseera ng’omusajja awangaalira ddala. Wabula bwe baba balwawo okwegatta buli lwe basisinkana amaddu gaba gakyaliwo era gano ge galemesa omusajja okuwangaala obulungi.

 Weetegeke nga tonnatandika kwegatta. Kakasa nti ekifo we muli mwembi mukyagala era kinaabawa emirembe.

 Yogera ne munno amanye ky’oyagala. Omukyala ayinza okwagala okumala amangu n’akozesa obukodyo obumumazisa amangu wabula ggwe bw’oba ng’ekigendererwa kyo

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

RDC Kirabira ne ssentebe Matia Bwanika nga batema ddansi. EBIFAANANYI BYA PETER SSAAVA

CAO wa Wakiso atabaganyizza...

Akabaga kano akaabaddewo ku Lwokuna ku Maya Nature resort mu ggombolola y'e Nsangi e Wakiso, keetabiddwaako abakulira...

Omugenzi Sgt. Dick Magala

Abapoliisi abaafiiridde mu ...

GIBADDE miranga na kwazirana ku kitebe ky’ekitongole kya poliisi ekinoonyereza ku buzzi bw’emisango (CID) e Kibuli...

Ebimu ku bibala ebitwalibwa ebweru. Mu katono ye Kanyije.

Abatwala ebirime ebweru bee...

Abat wala ebirime ebweru w’eggwanga beemulugunya ku buseere bw’entambula y’ennyonyi ez’emigugu ng’ebisale byalinnyisibwa...

Ssentebe wa Luwafu B, Iga Gonzaga ng’annyonnyola abamu ku batuuze be ebyavudde mu kkooti.

Kkooti eyimirizza NEMA okug...

ABATUUZE b’e Kansanga abasoba mu 300 bafunye ku buweerero Kkooti Enkulu bw’efulumizza ekiragiro ekigaana ekitongole...

Abamu ku baffamire mu maka ga Maj. Mukasa e Kagoma.

Munnamagye eyayambako okule...

MUNNAMAGYE omulala, Maj. Gen. Eric Mukasa 60, eyakuba emmundu okuwamba enkambi y’e Kaweeweeta mu lutalo olwaleeta...