TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Abasirikale ba spc balaajanidde Kayihura ku by'okukuzibwa

Abasirikale ba spc balaajanidde Kayihura ku by'okukuzibwa

Added 6th September 2017

Abasirikale ba spc balaajanidde Kayihura ku by'okukuzibwa

Bya Evelyne Nalule

Abasirikale ba poliisi ab’enyigira mu by’emizannyo bawanjagidde Gen Kale Kayihura okubalinnyisa amadaala.     Abamu ku basirikale abataagala kwatikiriza mannya gaabwe bategeezezza Bukedde nti, bamaze emyaka egisoba mu 11 nga bali ku daala lya SPC (Special Police Constable ) nga baweereza eggwanga naye nga tebagyibwa ku ddaala lino.

Bagamba nti bali abasirikale 90 ku 100 mu Bbandi ya poliisi abali ku ddaala lya SPC .  Bagamba nti SPC asasulwa emitwalo sh275,000 gyoka omwezi.

Eddaala lino terikuwa nkizo yakuweebwa looni mu Bbanka kyoka nga balina obuvunaanyizibwa okuli okuweerera abaana, okusasula amayumba, okulabirira bazadde baabwe, okulabirira famire zaabwe.

Ekirala tebaweebwa nsimbi nga bamaze okuweereza eggwanga (Pension) kyoka nga bakola omulimu gw'egumu n’abasirikale  abalala.

Bagenze mu maaso ne bategeeza nti bafulumya enyimba ez’okukuuma eddembe (Community policing songs) nga bakozesa ensimbi zaabwe awatali kuyambibwaako poliisi.

Asan Kasingye, omwogezi wa poliisi ategezeezza Bukedde nti SPC si ddaala lya poliisi.    

Aba SPC baweebwa kontulakiti (ebbanga eggere) lya mwaka gumu okuyamba ku poliisi .     Bano basasulwa ssente okusinziira ku ndagaano yaabwe.

Singa ebbanga lino ligwaako endagaano yaabwe netadizibwa bugya ng’olwo baddayo ku mirimu gyabwe.

 Abagamba nti bakoze okumala emyaka 11 sikyangu kyakukkiriza okuggyako nga batulaze endagaano zaabwe.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omusajja yansuulawo ng'omwa...

Nze Scovia Twetise 28, mbeera Bulamu-Gazaya, Texas. Mu 2005, nalina emyaka 15 omusajja yantuukirira n’ahhamba nti...

Eyagenda okusoma ddiguli e ...

Talina mpapula kw’akolera era agamba tasobola kudda kubanga bw’adda taddayo

Abatudde okuva ku kkono; Godfrey Nyola, Saul Kizito, Isaac Ngobya ne Pasita Paul Musisi ate abayimiridde okuva ku kkono; Kennedy Lubogo, Edward Baguma, Jimmy Ssekandi

Aba 'Former Footballers In...

Abaaguzannyako abaabaddewo kuliko; Saul Kizito (Nile FC), Isaac Ngobya (Bell), aba Express okuli Kennedy Lubogo,...

Kamaanyi eyatolosa Ssekabak...

Dan Kamaanyi, eyatolosa ssekabaka Muteesa II ekibabu kya Milton Obote eyalumba olubiri mu 1966 ng'ayagala okumutta,...

Muyigire ku bajulizi abakki...

MUK'OMULABIRIZI wa West Buganda Can.Elizabeth Julia Tamale y'ayigirizza mu kusaba okw'okujjukira abajulizi ba...