TOP

Abachina basenze mmere y'abatuuze e Kigoogwa

Added 7th September 2017

Robinah Nantale y’omu ku batuuze abaasendeddwa emmere yaabwe yagambye nti, baali babawadde ebbanga lya myezi etaano okusobola okukuza emmere eno kyokka n’omwezi teguweze ne bagisenda ekintu kye batakkiriziganya nakyo

 Kansala Kivumbi (ku ddyo) ng'annyonnyola abatuuze.

Kansala Kivumbi (ku ddyo) ng'annyonnyola abatuuze.

Bya WASSWA B. SSENTONGO

ABATUUZE b'e Kigoogwa ekisangibwa mu ggombolola y'e Gombe mu disitulikiti y'e Wakiso bavuddeyo ne bakukkulumira kkampuni y'Abachina okusenda emmere yaabwe ng'ebbanga lye baabawa okugiggyamu terinnaggwaako.

Abatuuze abasoba mu 50 be babadde balimira ku ttaka lya Robert Mukasa lye yaguzizza kkampuni ya Gentex ekola ttanka ne payipu wabula ng'abatuuze baalabidde awo ng'emmere yaabwe esendebwa.

Ettaka kwe babadde balimira liri ku Block nnamba 82.

Oluvannyuma lw'abatuuze okufuna amawulire nga Mukasa bw'atunze ettaka kwe babadde balimira, baafuna bannaabwe nga bakulembeddwaamu Robert Ssempeebwa ne bagenda ewa Mukasa ne bamusaba okubawa ekiseera emmere yaabwe basooke bagikungule ne bagenda ne mu kkampuni okubasaba akadde basobole okukuza emmere yaabwe basobola okugikungula ne babakkiriza.

Wabula kibeewuunyisizza nga balaba weetiiye ng'esenda emmere yaabwe ng'ate ng'ebbanga lye baabawa teriweddeeko ekintu abatuuze kye baawakanyizza era ne balumba kkampuni eno nga beemulugunya ku ngeri gye boneonyeemu emmere yaabwe.

Robinah Nantale y’omu ku batuuze abaasendeddwa emmere yaabwe yagambye nti, baali babawadde ebbanga lya myezi etaano okusobola okukuza emmere eno kyokka n’omwezi teguweze ne bagisenda ekintu kye batakkiriziganya nakyo.

Nnannyini ttaka Mukasa yagambye nti yaguza kkampuni eno ettaka lino wabula n'abasaba okugumiikiriza abatuuze basobole okuggyamu emmere yaabwe ate kye bataakoze.

Mukasa agasseeko nti obuzibu Abachina bwe balina buli kikoola ekya kiragala baguyita muddo ne batamanya nti emu mmere y'abatuuze.

Kansala w'ekitundu kino Hussein Kivumbi Balinnya yagambye nti baakoze endagaano mu buwandiike n’abakulira kkampuni eno okulaba nga bawa abatuuze obudde okugyamu emmere yaabwe.

Akulira kkampuni eno eya Vigil Gunisha yagambye nti teyasobodde kutegeera nti asaawa mmere y’abatuuze era kati ba ddembe okugikungula ng'ekuze

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ab'e Korea batandise kampey...

AB’E Korea bali mu kugaba musaayi okumala ennaku ttaano okutaasa bannaabwe abakwatibwa ekirwadde kya Corona.

Omubaka Amelia Kyambadde nga yeegasse ku batuuze okukola bulungibwansi

Abakulembeze mwongere amaan...

EKIBIINA ky'obwannakyewa kikulembeddemu abatuuze b'e Mpambire ne bakola bulungibwansi omubaka Amelia Kyambadde...

Omugenzi Maj. Gen. Eric Mukasa

Kabaka atenderezza munnamag...

KABAKA Ronald Muwenda Mutebi II akungubagidde omugenzi Maj.Gen. Eric Mukasa gwayogeddeko ng’omu ku bavubuka abazira...

Ebiragiro by'akakiiko k'ama...

EBIRAGIRO by'akakiiko k'amasaza bitemyemu abaddukanya ttiimu ezenjawulo ng'abamu babiwagira ,ate ng'abalala bawera...

Aba akeedi bawanjagidde Gav...

ABAKULEMBEZE ba KACITA balabudde nti bavudde ku nkola y'akakiiko akassibwaawo okulambula akeedi mu Kampala okukakasa...