TOP

Museveni akaaye ku tteeka ly'ettaka

Added 7th September 2017

PULEZIDENTI Museveni atabuse ku tteeka ly’ettaka n’alabula nga bw’atajja kugumiikiriza nnannyini ttaka yenna anaagezaako okulemesa enkulaakulana ya Gavumenti.

 Pulezidenti Museveni ng’abuuza omukozi wa leediyo West. Amuddiridde y’akulira Vision Group, Robert Kabushenga.

Pulezidenti Museveni ng’abuuza omukozi wa leediyo West. Amuddiridde y’akulira Vision Group, Robert Kabushenga.

Bya MUSASI WAFFE

PULEZIDENTI Museveni atabuse ku tteeka ly’ettaka n’alabula nga bw’atajja kugumiikiriza nnannyini ttaka yenna anaagezaako okulemesa enkulaakulana ya Gavumenti.

Museveni eyabadde ayogeza obukambwe, yasinzidde Mbarara ku ttivvi West eya Vision Group efulumya ne Bukedde, n’akiggumiza nti Gavumenti teyinza kutunula butunuzi ng’abantu bagezaako okulemesa enkulaakulana olw’amateeka agaliwo agalemesa.

Pulezidenti yatandise kaweefube w’okutalaaga eggwanga ng’asomesa ensonga ezikwata ku ggwanga naddala mu bbago Gavumenti lye yaleeta mu Palamenti gye buvuddeko ng’eyagala babawe obuyinza obutwala ettaka ly’omuntu bateekako enkulaakulana ne bw’aba tamatidde na ssente ze bamuliyiridde.

Museveni eyayaniriziddwa Robert Kabushenga, akulira kkampuni ya Vision Group, yalabudde nga Gavumenti bwetakyayinza kuddamu kukkiriza kufiirwa ssente ng’emirimu giyimirira olw’abantu ssekinnoomu.

“Omuntu waabulijjo ayinza atya okugaana enkulaakulana ya Gavumenti, olw’okuba alina ettaka…? Eno y’ensonga lwaki twetaaga etteeka lino”, Museveni bwe yagambye.

Yalaze ebyokulabirako ebiwerako ebya bantu ssekinnoomu abalemesezza pulojekiti za Gavumenti olw’okuba baagala okusooka okubaliyirira obuwumbi bwa ssente.

“Waliwo omuntu eyali ayagala okumuliyirira obuwumbi 17 ku yiika ebbiri ez’ettaka. Kiki ekyali mu ttaka lye? Ku Bujagaali waliwo eyali ayagala obuwumbi 28 ku yiika ebbiri n’ekitundu ez’ettaka. Bwe kituuka ku pulojekiti za Gavumenti buli kintu kibeera mu buwumbi! ” Museveni bwe yeewuunyizza.

Yagasseeko nti abantu abamu balina enkola y’okulwisa emirimu gya Gavumenti okumala emyaka, olw’okuba baagala obutitimbe bwa ssente, kyokka nga bakontulakita balina okubasasula ssente mu biseera ebyo.

Museveni era yeemulugunyizza ku bakungu ba Gavumenti abalina enkola y’okumanya awagenda okuyita pulojekiti ne bagula ettaka lyonna mu kitundu ekyo, olwo ne balindirira okusasulwa obuwanana, ekintu kye yalabudde nti tajja kukigumiinkiriza.

“Tetuyinza kukkiriza babbi kunyaga Gavumenti nga tutunula. Twagala omubalirizi wa Gavumenti abalirire ssente ezisaanidde era tuziwe nnannyini ttaka.

Bw’aba tamatidde asobola okugenda mu kkooti, kyokka nga pulojekiti za Gavumenti bwe zigenda mu maaso.

Abagezaako okutulemesa ate be bajja okuvaayo okutuvumirira nti tetulina kye tukoze.” Museveni bwe yategeezezza.

Pulezidenti yalumbye abantu abagifudde enkola y’okubunyisa amawulire ag’obulimba nti ayagala kubba ttaka ly’abantu.

Yagambye nti enguudo nnyingi ezizze zikolebwa nga olwa Nothern Bypass, era tewali ayinza kulaga bantu nti yatwalako omugabo gwonna ng’omuntu.

Nga tannaba kugenda Mbarara yasookedde Kigezi gye yakungidde abaayo okuwagira ennoongoosereza y’eteeka eyaleeteddwa Gavumenti.

Yalaze nti yali Gavumenti ya NRM eyakola Konsitityusoni ya 1995, eyateekamu akawaayiro akagamba nti ettaka lya Bannayuganda. Teyinza ate kuba nga y’emu eyagala okutwala ettaka ly’abantu.

Museveni yagumizza abantu nti tewali gwe bajja kusengula ku ttaka nga tamaze kuliyirirwa. Kyokka anaaba tamatidde naye ajja kuba wa ddembe okujulira.

Baagala kumalawo buzibu bwa bannannyini ttaka abalina enkola y’okugenda mu kkooti ne balemesa pulojekiti yonna okugenda mu maaso ate ng’abalala mu kitundu bakkirizza.

Yavumiridde bannabyabufuzi naddala ab’oludda oluvuganya n’emikutu gy’amawulire egimu egyefunyiridde mu kuwa abantu amawulire ag’obulimba nti Gavumenti eyagala kubatwalako ttaka lyabwe n’agamba nti kye boogera si kituufu.

Mu kaweefube w’okutumbula ebyobulimi, Museveni yakubirizza abantu okwenyigira mu bulimi obuvaamu ssente, beenyigire mu bwegassi ng’olwo ne nkola ya Gavumenti eya Operation Wealth Creation lw’ejja okubayamba.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Minista Haruna Kasolo ng'asomesa ku kwekulaakulanya n'enkozesa y'ensimbi za MYOOGA

Abatuuze b'ekira basomesedd...

MINISITA omubeezi akola kunsonga z'ebibiina byobwegassi Kyeyune Haruna Kasolo, akubiriza abantu okwebereramu nga...

Aba Twaweza bafulumizza ali...

KUNOONYEREZA kuzudde nti ab’enganda okusaba abantu babwe sente okubayambako okuvvuunuka embeera kifuuse kyabulijjo...

Mwanje (wakati) nga "bamunywedde"

Ofiisa munsonyiwe nva kuziika!

MAKANIKA eyeeyise owa poliisi bamukutte n’alwanagana n’abaserikale ng’agamba nti tebalina kye bayinza ku mukola....

Abawawaabirwa, Christine Guwatudde Kintu, Joel Wajala , John Martin Owor  ne Lutimba Kyeyune Fred Martin nga bali mu kaguli

Bana basimbiddwa mu kkooti ...

Abakungu bana okuva mu ofiisi ya Ssaabaminisita abavunaanibwa okulya eza COVID19 basindikiddwa mu kkooti ewozesa...

Sazir Lumala disitulikiti Kaadi w'e Mukono ng'ayogera n'abamawulire ku poliisi e Mukono.

Disitulikiti Kaadi w'e Muko...

Bya ERIC YIGA POLIISI e Mukono ekutte disitulikiti Kaadi waayo Sheikh Sazir Lumala naggulwako omusango gw'okukozesa...