TOP
  • Home
  • Amawulire
  • UNAA; Akawumbi ka ssente akaasasanyiziddwa ku babaka mu America kagasa katya Bannayuganda?

UNAA; Akawumbi ka ssente akaasasanyiziddwa ku babaka mu America kagasa katya Bannayuganda?

Added 8th September 2017

Ekyewuunyisa, ababaka ne bwe badda okuva mu nkuηηaana ez’ebweru nga UNAA tewali lipoota gye bakola, gye banjula mu Palamenti okuteesebwako wabula buli lwe badda ng’ate banuukanuuka kufuna ηηendo ndala ez’ebweru!

 Abamu ku babaka ba Palamenti abeetabye mu lukuηηaana lwa UNAA e Miami, Florida mu Amerika

Abamu ku babaka ba Palamenti abeetabye mu lukuηηaana lwa UNAA e Miami, Florida mu Amerika

Bya AHMED MUKIIBI

BULI lw’owulira nti omubaka wa Palamenti yagenzeeko ebweru w’eggwanga ku bugenyi obutongole, kimanye nti buli olunaku oluziba, omuwi w’omusolo amusasulira ssente ezisoba mu 2,500,000/- okutuusa lw’alidda!

Omubaka bw’aba waakumala wiiki ebweru w’eggwanga, awo ng’okubisaamu ddoola 720 (2,592,000/-) n’ogattako ssente eza ttikiti y’ennyonyi amagenda n’amadda okusinziira ku nsi gy’abeera agenze.

Weesanga ng’omubaka omu, Gavumenti emusaasaanyizzaako obukadde nga 30 mu wiiki emu so nga n’omusaala gwe ogw’omwezi ogw’obukadde obuli wakati wa 25 ne 30 nagwo gumusasuddwa.

Jjukira nti teri mubaka omu atambula wabweru wa ggwanga ku mirimu gya Palamenti emitongole wabula ababaka batambulira mu bibinja oluusi nga bawerekeddwaako n’abakugu ba Palamenti ab’emirimu egy’ekikugu.

W’osomera bino ng’ababaka ba Palamenti 23 baakadda okuva mu Amerika gye beetabye mu lukuηηaana olwa buli mwaka olwa Bannayuganda abali ku kyeyo abeetaggira mu kibiina kya Uganda North American Association (UNAA).

Olukuηηaana lw’omulundi guno, lwayindidde mu kibuga eky’ebbeeyi Miami mu ssaza ly’e Florida okuva ku Lwokutaano oluwedde nga September 1 ne luggwa September 3, 2017.

UNAA 2017 lwetabiddwaamu Bannayuganda abasoba mu 1000 nga lwabadde wansi w’omubala: Okuwa obusobozi ebyenfuna n’okuzza obuggya ebyobulamu (Economic Empowerment and Health Care Transformation)

Abateesiteesi b’olukuηηaana luno baali bayise ababaka ba Palamenti 100 kyokka Sipiika Rebecca Kadaga yabasunsula n’asalawo okutwala ababaka 23 bokka era wonna awamu Palamenti yatutte abantu 30 nga kuliko Sipiika Kadaga, abakozi ba Palamenti, abayambi n’omukuumi wa Sipiika.

Ababaka abeetabye mu lukuηηaana luno ye Johnson Muyanja Ssenyonga ( Mukono South-NRM), Muhammad Muwanga Kivumbi (Butambala-DP), Mohammad Nsereko-(Kampala Central-Independent), Judith Nabakooba (Mukazi Mutyana- NRM) Harold Tonny Muhindo( Bukonzo East-NRM), Judith Babirye (Mukazi Buikwe-NRM), Paul Musoke Ssebulime ( Buikwe North-NRM), Elijah Okupa ( Kasilo-FDC), Felix Okot Ogong ( Dokolo South NRM), ne Florence Nambozo (Mukazi Sironko - NRM).

Abalala ye: Isaac Mulindwa Ssozi ( Lugazi Municipality MP -NRM), Ruth Katushabe (Bukomansimbi North-NRM), Zaitun Driwaru ( Mukazi Yumbe -Independent), Hatwib Katoto (Katerera -NRM), Alex Ndeezi ( Balema-NRM), Kenneth Eitunganane Esiangu ( Soroti - Independent), Lydia Chekwel (Mukazi Kween- Independent, Nathan Igeme Nabeta-(Jinja Municipality East-NRM), William Nzoghu (Busongora North FDC), Alex Ruhunda (Fort Portal Municipality NRM), Leandro Komakech (Gulu Municipality-DP) ne Lucy Akello (Amuru-FDC).

Ababaka bano bonna buli omu Palamenti yasoose okumusasulira ssente eza viza ya Amerika ddoola 160 ( eza Uganda 576,000/-) , bonna awamu ze 17,280,000/-

Palamenti era yabagulidde buli mubaka ttikiti y’ennyonyi ey’ekikungu eyitibwa “Business class air ticket” ya ddoola 6,000 ( ssente za Uganda 21,600,000/) buli ttikiti, ekitegeeza nti Palamenti yasaasaanyizza obukadde 518 n’emitwalo 40 ku tikiti z’ababaka 23 ne Sipiika nga totaddeeko abantu abalala mukaaga be baagulidde tikiti ez’abantu ba bulijjo eziyitibwa Economy Class Air tikiti ez’obukadde nga mwenda buli emu.

Mu byentambula z’ennyonyi, ebifo omutuulwa abantu birimu emitendeta nga waliwo ‘Business Class’, omutuula abagagga n’abakungu nga ebifo ebyo birina endabirira ya njawulo era buli muntu w’atuula wagazi ekimala okugolola amagulu so nga mu ‘Economy Class’ we wandiyise aw’olukale, abantu batuula beenyize nnyo ng’abali mu bbaasi oba takisi era abo basasula ssente nntono nnyo.

Ng’ebyentambula biwedde buli omuli ku babaka yaweereddwa ddoola 720 ( 2,600,000/-) buli omu nga ssente ezo zaakubisiddwaamu ennaku ttaano ng’awamu, buli mubaka yafunye ddoola 3,600 ( mu ssente za Uganda baawareddwa 12,960,000/-). Jjukira nti ensako ya Sipiika ya njawulo ku y’ababaka!

Palamenti era yasasulidde ababaka ensimbi ez’okwewandiisa mu lukuηηaana lwa UNAA gattako ne ssente ez’okuyingira.

Waliwo ne ssente ddoola 50,000 ( eza Uganda obukadde nga 180), Palamenti z’etera okuwa aba UNAA buli mwaka okuyamba ku kibiina kino mu kuteekateeka olukunηηaana

BAMINISITA NABO BAAGENZE

Ku babaka ba Palamenti, kwegattiddwaako baminisita 10 okwabadde: Beti Olive Namisango Kamya (owa Kampala), Muruli Mukasa (ow’abakozi ba Gavumenti), Lt. Gen. Henry Tumukunde (wa Butebenkevu), Ruth Nankabirwa (Nampala wa Gavumenti), Betty Amongi (wa byattaka), Persis Namuganza (mubeezi ow’ebyettaka), Mbayo Esther Mbulakubuza (ow’Ensonga Ezobwapulezident) n’abalala.

Buli Minisita lw’afuluma ebweru w’eggwanga ku mirimu emitongole, Gavumenti emusaulira ddoola 800 (2,880,000/-) buli lunaku oluziba okutuuka lw’adda mu ggwanga ng’abamu baafunye ensimbi za nnaku musanvu okusinziira ku Minisitule zaabwe nga bwe zaabategekedde ekitegeeza nti buli minisita yagenze n’obukadde nga 15.

Tikiti z’ennyonnyi eza baminisita nazo zaawemense obukadde 210 bonna wamu kubanga ng’ababaka ba Palamenti batambulira mu ‘Business Class’ ey’abakungu.

Gavumenti yasalawo buli mwaka okuwa aba UNAA ensimbi eziri mu ddoola 20,000 ( eza Uganda obukadde nga 70) zibayambe okuteekateeka olukuηηaana luno.

Ekyebuuzibwa kiri, nti Munnayuganda omuwi w’omusolo afuniramu wa mu butitimbe bwa ssente Gavumenti z’eyiwaayiwa ku bantu ab’olubatu okugenda mu Amerika okwewummulirako?

Omubaka Ibrahim Semujju Nganda yeetaba mu lukuηηaana lwa UNAA olwatuula e Boston mu ssaza ly’e Massachusetts mu September wa 2016 wabula bwe yadda n’ategeeza nti ekibeera mu nkuηηaana za UNAA si kirala wabula ababaka kugenda kwewummulirako na kulya bulamu mu Amerika.

Semujju yategeeza nti omuwi w’omusolo talina ky’afunamu mu babaka okugenda mu UNAA kubanga ababaka tebalina kye bakola wadde ekiyamba abantu abaabalonda okuggyako okwekkusa n’okwefaako bokka.

Ggwe teeberezaamu ssinga ensimbi ezo, obukadde nga 40 buli mubaka ze yasaasanyiziddwaako okugenda mu lukuηηaana olw’ennaku essatu, zaabadde zissiddwa mu kitundu ky’akiikirira, katugamba ng’e Sembabule abantu gye banywa amazi amajama, obukadde 40 zandisimye enzizi mmeka era abantu bameka abandiganyuddwa era okumala kiseera ki?

Ekyewuunyisa, ababaka ne bwe badda okuva mu nkuηηaana ez’ebweru nga UNAA tewali lipoota gye bakola, gye banjula mu Palamenti okuteesebwako wabula buli lwe badda ng’ate banuukanuuka kufuna ηηendo ndala ez’ebweru!

BANNAYUGANDA BYE BAFUNYE EMU

  • Sipiika Kadaga bwe yabadde mu lukuηηaana luno, Bannayuganda ababeera mu Amerika yabasabye okwongera okuweereza obuyambi n’ebintu ebyekuusa ku byobulamu n’ebyenjigiriza n’abagumya nti tebatya URA tejja kubaggyako misolo ku buyambi bwe banaawereza.

 

  • Bannayuganda ababeera mu Amerika baasabye ensimbi ddoola 400/- ( eza Uganda 1,440,000/- ) okubakolera ku by’obutuuze obw’ensi ebbiri

 

  • Bannayuganda boolesa ebyobuwangwa, empisa n’ennono za Uganda eri amawanga ag’ebweru ekiyamba okusikiriza abalambuzi n’Abazungu okwongera okutegeera Uganda.

 

  • Baminisita n’ababaka ba Palamenti beeyambisa omukisa gw’olukuηηaana lwa UNAA okubuulira n’okunnyonnyola Bannayugana ababeera mu Amerika ku bigenda mu maaso mu ggwanga lyabwe naddala pulogulaamu za gavumenti.

 

  • Olukuηηaana luno luyamba ababaka n’abakulembeze abava mu Uganda okumanya emirimu bwe gikolebwa mu nsi endala naddala ezikuze nga Amerika.

 

  • Guba mukisa okusisinkana bamusigansimbi n’okubasikiriza okujja mu Uganda okutandikawo emirimu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Minisita Nabakooba

Abawala b'amassomero abafu...

OMUWENDO gw’abaana abato abafuna embuto mu kiseera ky’omuggalo gw’okwerinda obulwadde bwa ssenyiga gweyongedde...

Wakiso Giants esudde 2

WAKISO GIANTS FC mu liigi ya babinywera esazizzaamu endagaano z’abasambi babiri ezibadde zibuzaako emyaka ebiri...

Janet Museveni asimbudde tt...

MINISITA w’ebyenjigiriza n’emizannyo Janet Museveni asibiridde entanda ttiimu y’eggwanga ey’abaddusi bw'abade agisimbula...

Abakulembeze baloopedde Kis...

ABATUUZE mu Kisenyi n’abasuubuzi abatundira ebyamaguzi ku nguudo balaajanidde dayirekita wa Kampala omuggya Dorothy...

Amasannyalaze gakubye babir...

Entiisa yabuutikidde abatuuze ku kyalo Wantoni mu Mukono Central division, Mukono munisipaali, abasajja babiri...