TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Museveni annyonnyodde ekireesezza etteeka ly'ettaka

Museveni annyonnyodde ekireesezza etteeka ly'ettaka

Added 11th September 2017

Museveni annyonnyodde ekireesezza etteeka ly'ettaka

 Pulezidenti Museveni ng'annyonnyola ebikwata ku tteeka ly'ettaka

Pulezidenti Museveni ng'annyonnyola ebikwata ku tteeka ly'ettaka

PULEZIDENTI Museveni agambye nti Bannayuganda  ‘‘bakiri mululu’’  be baletedde Gavumenti okuleeta ebbago ly’etteeka erigiwa obuyinza okutwala ettaka ly’abantu okukolerako enkulaakulana bannyiniryo ne bwe baba bakyawalira olw’obutamatira na nsimbi ezibaweebwa mu kubaliyirira.

Museveni era akunze abantu okulonda aba NRM mu kulonda kw’obukiiko bwa LC okubindabinda  n’abasaba (obukiiko) baleme kubulekera ba DP gy’alumiriza nti eri mu kuzannya byabufuzi bya bulimba nga bijjudde n’obukyayi.

Museveni yayogedde ku kampeyini ya DP ey’obutakyusa Konsitityusoni eyakazibwako erya ‘’k’ogikwatako’’ n’agamba  : ‘’ Abo ba togikwatako balabe ba ggwanga’’. Yajjereze DP nti ‘teyaka’ n’agamba nti naye yagirimu wakati wa 1960 okutuuka mu 1970 ng’alaba terina gy’eraga n’agivaamu n’adda mu bintu ebitambula era ebibala  by’ekikolwa kye kati byeraga kuba waliwo omukululo (ogulekeddwa NRM).

Museveni yabadde ayogera ku nsonga ezitali zimu ku leediyo  ku nkomerero ya wiiki. N’agamba nti ebbago eriwa Gavumenti obuyinza okutwala ettaka ly’omuntu okulissaako ebigasa eggwanga ssi bbi kyokka waliwo bannabuabufuzi n’abantu abalala abalabe b’eggwanga nga n’abamu babbi  abaagala okukyayisa gavumenti nga be balyogerera amafukuule nti eyagala kulyeyambisa kunyaga ttaka.              

Yawadde eby’okulabirako ebiwerako nti gavumenti bw’eba erina ekintu ky’eyagala okukolera ku ttaka ly’omuntu ebadde emuliyirira bulungi kyokka waliwo abantu abalina omululu  abasaba gavumenti obutitimbe bw’ensimbi eziyitiridde  ezitaggya mu ttaka lyabwe nga bano be bazingamya enkulakulana.

Yategeezezza nti abantu nga bano be baletedde gavumenti okuleeta ebbago eryo nga ligenda kugisobozesa okufuna ettaka, nnyini lyo bw’aba tamatidde na ssente zimuliyiriddwa aba asobola okwekukubira enduulu mu kakiiko akagenda okuvunaanyizibwa ku nsonga zino oba okweyongerayo okujulira mu kkooti n’ezisala emisango mu bbanga eggere kyokka nga bino byonna biba tebigaana mirimu kugenda maaso nga nnyini ttaka bw’akaayana.

Kkooti oba akakiiko bwe kasalawo nti nnyini ttaka yetaaga okwongerwa ku nsimbi gavumenti ejja kuzimwongera.  

Museveni yakikatirizza nti tewali lukwe lwa kunyaga ttaka.Yagambye abalina kye beemulugunya ku ‘kibba ttaka’’  okugenda mu kakiiko k’omulamuzi Bamugemereirwe . N’agamba nti etteeka eririwo terikkiriza kugobaganya babibanja okuggyako nga balemeddwa okuwa obusuulu.

N’agamba nti abagobaganya abasenze n’abebibanja wamu n’abagenda babasalirako obutundu obutono ku bibanja byabwe bakikola mu bukyamu.Museveni yakubirizza abantu okwewala envuba embi n’ okwonoona obutonde bw’ensi nga basanyaawo ebibira n’entobazzi.

Era n’abakungu okweyambisa enkola y’okufukirira ebirime basobole okufuna mu bye balima. Yawakanyizza abagenda bagamba nti gavumenti eyagala kubba ttaka n’agamba nti NRM tesobola kubba ttaka ng’ate ye yaliddiza abantu. ‘’Bagamba nti Museveni ayagala kubba ttaka lyamwe. Ettaka gavumenti bw’essaako enkulakulana nze mba nfunye ki ng’omuntu ?’’ bwe yabuuzizza.  

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ennyumba y'oku kiggya abamu ku b'Engabi gye baagala Yiga aziikibwe. Ebifaananyi bya JOHN BOSCO MULYOWA

Abengabi beeyawuddemu ku by...

ABAKADDE b’ekkanisa ya Pasita Abizzaayo Yiga eggulo baatudde mu lukiiko olw’amangu olw’enkaayana ezaabaluseewo...

Paasita Bujjingo ng'agumya Jengo, mutabani w'omusumba Yiga

Ebiri mu katambi ka Paasita...

Ku Ssande nga October 25, 2020, Ssenyonga yasinziira mu kusaba mu kkanisa ye n’alumba abasumba ab’enjawulo omwali...

Paasita Ssennyonga ng'agugumbula Yiga mu lukung'aana lwa bannamawulire lwe yatuuzizza ku kkansisa ye

Okufa kwa Yiga kusajjudde e...

AKATAMBI Pasita Ssenyonga ke yakutte nga Yiga tannafa kongedde okusiikuula abasumba ne beetemamu ng’abamu boogerera...

Minisita Namisango Kamya ng’atuuse mu kkanisa awakumiddwa olumbe.

Beti Kamya atuusizza obubak...

Minisita w'ebyettaka Beti Olive Namisango Kamya agenze ku kkanisa ya Abizzaayo e Kawaala n'atuusa obubaka bwa gavumenti...

 Ekkanisa ya Paasita Yiga esangibwa e Kawaala.

Poliisi eremesezza aba fami...

POLIISI eremesezza aba ffamire ya Pasita Augustine Yiga Abizzaayo okusuza omulambo gwe ku kkanisa eya Christian...