TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Ssenga wa Kabaka bamusabidde mu Full Gospel e Makerere

Ssenga wa Kabaka bamusabidde mu Full Gospel e Makerere

Added 11th September 2017

Ssenga wa Kabaka bamusabidde mu Full Gospel e Makerere

 Abakungubazi nga basabira omwoyo gwa ssenga wa Kabaka ku Full Gospel e makerere

Abakungubazi nga basabira omwoyo gwa ssenga wa Kabaka ku Full Gospel e makerere

OBWAKABAKA bwa Buganda butenderezeddwa olw’okuwa eddaala enzikkiriza y’obulokole mu ggwanga ng’eno y’ensonga lwaki bweyongedde okutinta .

Okutendereza kuno kwakoleddwa ab’ekanisa ya Full Gospel e Makerere mu kibuga Kampala olunaku lw’eggulo bwebadde basabira Omugenzi Beatrice Muggale nga ye Ssenga wa Kabaka abadde asigaddewo.

Pr. Paul Kinataama nga y’akulira ekkanisa za Full Gospel mu ggwanga ategeezezza nti Omumbejja ono yakola kinene mu kubawa obuvumu okutwala enjiri mu maaso okuva Ssekabaka Muteesa II bweyamutuma okuggulawo ekanisa y’e Makerere nga December 1962. “ Mu mbeera yonna obulokole gye buyiseemu okuli okuwerebwa eyali Pulezidenti Iddi Amin bwetutyo ffena essaala ez’okuta obulokole netuzisabira wamu.

Twebaza n’abolulyo Olulangira olwa byonna. Munnaffe waviiridde mu nsi ng’omulimu gwawagidde bwatyo guli mu kanisa kati 1870 okwetoolola eggwanga lyonna.” Joshua Mutebi nga yaliko omusumba w’omugenzi yatendereza obwesimbu n’obwesigwa bwa Muggale kubanga Amin bweyawera obulokole, gwe bakwasa ebiwandiiko by’ekanisa n’ebyapa okubitereka era embeera bweyaterera bwatyo nabikomyawo.

Famire y’omugenzi ng’ekulembeddwamu Mutabani we Grace Kitaka batendereza nnyabwe olw’okubakuliza mu ddiini ate abazzukkulu abakulembeddwamu Mubiru Kitaka baweze okugenda mu maaso n’emirimu gya mukadde waabwe ono. Mu ngeri y’emu, Mmengo erangiridde ng’okuva leero,bendera z’Obwakabaka zakwewubira wakati w’emirongooti era Katikkiro Charles Peter Mayiga yakunze Obuganda bwonna okujja okwetaba ku mukolo gw’okusibula Omumbejja Muggale enkya ku lwokusatu ku ssanya nnya mu Lutikko e Namirembe ate emisana okugenda e Kasubi mu masiro gyagenda okuziikibwa.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kangaawo ng'ayogera e Butuntumula.

Kangaawo akunze Abalemeezi ...

OMWAMI wa Ssaabasajja Kabaka atwala essaza ly' e Bulemeezi, Kangaawo Ronald Mulondo agugumbudde bassemaka  abaganza...

Pulezidenti wa DP Norbert Mao ne Ismail Kirya mu lukiiko ne bannamawulire.

Aba DP basabye Gavt. okuliy...

BANNAKIBIINA kya DP basabye Gavumenti okuliyirira abantu bonna abagenda okufiirwa ettaka awagenda okuyita payipu...

Dayirekita Wambuga (ali mu kkooti) ng' agezaako okunnyonnyola abasomesa abamutabukidde.

Abasomesa batabukidde dayir...

Emirimu gisannyaladde ku ssomero lya Good Luck Junior School e Katalemwa mu ggombolola y'e Gombe mu disitulikiti...

Omukazi nga bamusitula okumussa ku kabangali bamutwale mu ddwaaliro.

Kabangali ya poliisi etomed...

KABANGALI ya poliisi ewabye n'erumba okukazi abadde atambulira ku mabbali g'ekkubo okukkakkana ng'emumenye okugulu....

Mu Kkooti ye kkansala w'e Luzira, Willy Turinawe  ng'atottola obulumi bwe bayitamu.

Abatuuze batabukidde abayoo...

ABATUUZE ba Stage 7 e Luzira ekisangibwa mu Munispaali y'e Nakawa bavudde mu mbeera ne batabukira abakozi ba Kkampuni...