
Bya Sandra Namirimu
JOSHUA Bob Muhumuza ng'amannya ge amatuufu ate aga siteegi ye Jimica y’omu kw'abo ab’esowoddeyo okubaako okwebaza kwebalaga eggwanga lyabwe okuweza emyaka 55 n’okweyozaayoza nga bayimba ennyimba ezisuuta eggwanga lino.
Ono mutuuze w’e Ntebe ku kyalo Nkumba, wa myaka 24 ng'abadde muyizi ku tendekero lya Nkumba yunivasite gy’eyafudidde diguli mu by’obulambuzi.
“Sweet Uganda” lweruyimba lweyayiiyiza okuyimbira eggwanga okuliyozaayoza ng'ategeeza nti lujjudde okwagala, okuwaana, ekitiibwa, okwewulira, omwoyo ggwegwanga, okwagaliza byonna ebisangibwa mu ggwanga lyatu.
Oluyimba luno luli mu nnimi ssatu ezisinga okutegeerwa abantu mu ggwanga okuli oluzungu, oluganda n’oluswayiri ng'ayolesa nti buli lulimi oluleetebwa mu ggwanga lino lukirizibwa.
Ono agamba ekyamusikiriza okutandika okuyiiya akayimba kano kubanga yawulira akulira vision group Robert Kabushenga ng'ategeeza abavubuka okuvaayo okuyiiya ekintu kyona ekisobola okusuuta n’okuyozaayoza abantu ne ggwanga okutuuka ku kkula ly’emyaka gino.
Muhumuza agamba yatandika okuyiiya oluyimba luno wiiki emu emabega era n'afulumya eddoboozi mu sityudiyo ya Waterfront esangibwa e Ntebe, asuubira bwanaba afunnye okuyambibwa okufulumya vidiyo ng’ebijjaguzo by’amefuga tebinatuuka.