TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Akabenje katuze basatu okubadde n'owoolubuto e Namanve

Akabenje katuze basatu okubadde n'owoolubuto e Namanve

Added 12th September 2017

Akabenje katuze basatu okubadde n'owoolubuto e Namanve

 Abantu nga bakung'aanidde awagudde akabenje

Abantu nga bakung'aanidde awagudde akabenje

Bya Erick Yiga

Emmotoka ekika kya prado nnamba UAD 496E ebadde eva e Kampala okudda e Mukono eyingiridde boda boda nnamba UEF 914W ebadde  ewese  maama abadde
olubuto ssaako n’omwana okukakana nga bonna baffiriddewo bulaga.

Akabenje kano kagudde okumpi ne kampuni ya Coca cola kunsalo eyawula Mukono ne Wakiso era nga wanno kibadde kinnya n’ampindi ne poliisi ye Namanve.

Omugenzi ategeerekeseeko erya Joshua ng’abadde akolera ku siteegi ye Namanve wabula  ye omukyala amannya tegategeerekese 

Abamu ku batuuze ababaddewo ng’akabenje kagwawo bagamba nti ddereva abadde avuga sipindi  kwekusisikana n’omugoba wa bodaboda ono abadde asala okudda ku mukono gwe bwatyo nabafudiza wakati mu luguddo
wabatidde.

Abatuuze bategezezza ng’ekifo kino bwekifuse akatiro ng’abantu bangi bazze baffirawo bwebatyo nebasaba poliisi y’ebidduka  okubayambako okubeera mu kifo ekyo buli kadde.

Wabula wentuutukidde mu kifo ng’emibiri gy'abagenzi poliisi egigyewo nga gitwaliddwa mu ggwanika mu ddwaliro ekkulu e Mulago.


More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kabineeti eteesezza okuggul...

KABINEETI eggulo yateesezza ku kuggulawo akeedi n’ebirina okussibwa mu nkola nga ziggulwawo.

Ekibalo ky'okulima ennyaany...

ENNYAANYA kireme ekyettanirwa abangi olw’okuba kikula mangu ate nga kirina akatale okutandikira ku bantu b’okukyalo...

Basajjabalaba

Ebyapa Basajjabalaba by'ali...

EBYAPA omugagga Haji Hassan Basajjabalaba bye yafuna ku ttaka lya Panda PL e Luzira, bisattiza abatuuze nga bagamba...

Abatuuze nga bagezaako okuzikiriza omuliro

Omuliro gwokezza amayumba 1...

ABATUUZE b’e Kawaala bali mu maziga olw’omuliro ogugambibwa okuva ku masannyalaze okusaanyaawo amayumba agawera...

Abakozi ba Imperial Royale ...

ABAKOZI ba wooteeri ya Imperial Royale bavunaaniddwa okujingirira ebiwandiiko n’okufiiriza gavumenti ya Uganda...