TOP

Namikka alumbye Katikkiro mu kuziika

Added 14th September 2017

NNAALINNYA Beatrice Namikka yakozesezza omukolo gw’okutereka (okuziika) ssenga wa Kabaka n’ayambalira Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga.

 Abakungu b'e Mmengo nga bassa bendera ya Buganda ku mulambo gw'omumbejja Muggale

Abakungu b'e Mmengo nga bassa bendera ya Buganda ku mulambo gw'omumbejja Muggale

Bya DICKSON KULUMBA
NNAALINNYA Beatrice Namikka yakozesezza omukolo gw’okutereka (okuziika) ssenga wa Kabaka n’ayambalira Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga.

Namikka banne gwe baasoose okulemesa okwogera nga bamulagira akomye okweyita Nnaalinnya w’Amasiro g’e Kasubi kuba Kabaka yamuyimiriza yagambye nti, Katikkiro avunaanyizibwa ku ntalo eziri mu Balangira n’Abambejja era buvunaanyizibwa bwe okuzigonjoola.

Yadde abaabadde bawuliriza Namikka baasose kwogera butonotono, gye byaggweeredde nga waliwo ekibinja ky’abavubuka abaamukubidde mu ngalo ezitagambika ku kye baayise okusiima by’ayogedde.


Namikka we yayogeredde bino ku ssaawa 9:12 nga Katikkiro tannatuuka mu Masiro e Kasubi okwetaba awamu n’abakungubazi era aboogezi bonna abaabaddewo, baaweddeyo okutuusa eyabadde kalabaalaba w’omukolo, Omulangira Wasajja we yalangiridde nti ekiseera ky’okugenda emagombe kituuse naye nga buli omu, amagamaga kulaba oba Katikkiro Mayiga tazze ku mukolo gw’okutereka Ssenga wa Kabaka.


Oluvannyuma Katikkiro yatuuse n’akkirira mu Masiro wakati mu kwerinda okwamaanyi okuva mu bakuume ababadde bamaze okuwulira ebigambo obwedda ebiva mu kabinja k’abavubuka n’abantu abalala nga bamwemulugunyaako.

Mu kuva ku ntaana abavubuka abeeyita 'Eggye ly’Olulyo Olulangira', baatandise okusoomooza Katikkiro nga boogera ebigambo nti, “ Twakukoowa, fuluma Amasiro ogende. Ensonga zaffe tozikolako, otuyisaamu amaaso, genda, totuula…n’ebigambo ebirala,” okutuusa bwe yatudde mu ntebe eyabadde emutegekeddwa.

Bino byabadde mu Masiro e Kasubi eggulo ku mukolo gw’okuziika (okutereka) Omumbejja Juliana Beatrice Muggale nga yabadde Ssenga wa Kabaka asigaddewo nga gwakulembeddwaamu okusaba okwabadde mu Lutikko e Namirembe nga kwakuliddwa Dean wa Lutikko Can. Benon Kityo era ne kwetabwamu Nnaabagereka Sylivia Nagginda, Namasole Margaret Siwoza, ne bannalinya n’abalala.

Effujjo eryakoleddwa abavubuka Abalangira ku Katikkiro teryalobedde bantu baabulijjo kumwaniriza na kumuwerekera mu kitiibwa n’okumusuusuuta nti bamwagala olw’engeri gy’azzizza Obuganda ku Ntikko.

Wakati mu ssanyu lino Katikkiro mwe yafulumidde n’agenda ng’emikolo giwedde ng’ekire ky’enkuba kibindabinda.

KABAKA YASIIMYE EMIRIMU GYA SSENGA WE:
Mu bubaka obwamusomeddwa Nnaalinya Dina Kigga, Kabaka Mutebi II yatenderezza emirimu egikoleddwa omugenzi era n’amwebaza okukozesa ebitone ebingi Katonda bye yamuwa okuli obukkakkamu, obwetoowaze, okwewa ekitiibwa ate n’okubeera omuwi w’amagezi ku nsonga ezitali zimu.

Ng’ayogerera e Namirembe, Mayiga yagambye nti obumalirivu bw’omugenzi bwe bwetaagisa abantu ba Buganda okubeera nabwo,
Muggale 90, muwala wa Ssekabaka Chwa II nga yava mu bulamu bw’ensi ku Lwokutaano nga September 8, 2017 mu ddwaaliro e Mmengo gye yatwalibwa.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mabiriizi ng’agasimbaganye ne Ssaabalamuzi Dollo (ku ddyo).

▶️ Ssaabalamuzi Dollo ale...

SSAABALAMUZI Alfonse Owinyi Dollo agaanidde mu musango gwa Kyagulanyi Ssentamu n'agamba nti, yadde yawolerezaako...

Kyagulanyi ng’ayogera ku kuggyayo omusango.

Bobi okuggyayo omusango kik...

JUSTINE Kasule Lumumba, ssaabawandiisi wa NRM alangidde omubaka Robert Kyagulanyi obwannakigwanyizi olw'okuggyayo...

Abamu ku bannannyini masomero abeetabye mu lukiiko.

▶️ Ebisaliddwaawo mu lukii...

ABAKULIRA amasomero g'obwabannannyini bapondoose ne bakkiriziganya ne gavumenti okugaggulawo nga March 01, 2021...

Sipiiika (wakati) n’ab’amasomero.

▶️ Ab'amasomero ga nassale...

EKIBIINA ekigatta ebitongole ebikola ku nkuza y'abaana bagenze mu Palamenti ne beemulugunya olwa gaumenti okugaana...

Abatuuze ne poliisi ga bali we battidde Amolo.

▶️ Asse mukazi we n'amutem...

ASIKAALI ku kitebe kya UMEME e Mpigi asozze mukazi we ebiso mu bulago n'amutta oluvannyuma n'amutemako emikono...