
Abantu nga bakung'aanidde awaafiiridde abantu
Bya Florence Tumupende
EKIKANGABWA kigudde mu kabuga k’e Kyazanga mu disitulikiti ey’e Lwengo abavubuka babiri bwe basangiddwa nga bafiridde mu muzigo.
Abafudde kuliko Ibrahim Nuwagaba 21 ng’ono nzalwa y’e Lwebitakuli
mu disitulikiti y’e Ssembabule ne Ronald Katumba 18 ng’ono bamuzaala ku kyalo Ngando mu ggombolola y’e Lwenjiri mu disitulikiti y’e Butambala.
Okuzuula emirambo gyabwe kidiridde omuwala Sharon Naturinda 13
akadde okuzuukusa abavubuka bano n'abasanga nga baafudde
kwekutemya ku batuuze awamu ne poliisi y’e Kyazanga.
Abagenzi basangiddwa nga babimba ejjovu mu kamwa ne mu nnyindo abatuuze kye balumiriza nti oba olyawo wandibaawo omuntu ow’ettima eyabalungidde obutwa oba nga baafudde ekiziyiro.
Kigambibwa nti abagenzi babadde baakamala wiiki bbiri nga baakaggya mu kitundu era nga babadde basiisi ba Chapati mu zooni ya Kanakulya.
Abatuuze nga bakulembeddwamu sentebe wa zooni eno Musiramu Kalifa ategeezeza nti abagenzi babadde baakeyanjula mu LC gyatwala era nga babadde tebalina Ndagamuntu wabula nga baliko ebbaluwa okuva ku bitundu byebavamu ebakiriza okunoonya emirimu.
Kalifa asabye abakulembeze okumenya obuyumba obutatukagana
na mutindo gwa kibuga kuba abagenzi mwebafiiridde basangiddwa mu kazigo nga kafunda kyokka nga basulamu n'amasigiri ekintu eky’obulabe ku bulamu bw’omuntu.
Bo abatuuze bakitadde ku bawala abayitiridde okugattika abasajja nga bagamba nti osanga omuwala eyababagulizzaako nga yeyavuddeko kalimanyweera w’okufa kwabwe.
Aduumira poliisi y’e Kyazanga Tim Rwothongeyo atuuse mu kifo
awagudde abantu bano webafiiridde n'akubiriza abantu okwewala okusula omugoteko mu buyumba obufunda kuba kitataganya enzisa y’omuntu ekiyinza okuvaako okufa.
Mukiseera kino poliisi eggalidde omuwala Naturinda
eyababagulizaako nga nokunonyereza ku kyafudde ku ttemu lino nga bwekugenda mu maaso. Omusango guli ku Fayiro SDR 03/15/2017.