TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Omugagga Ntaganda bamututte mu kkooti lwa bukadde 914

Omugagga Ntaganda bamututte mu kkooti lwa bukadde 914

Added 15th September 2017

Omugagga Ntaganda bamututte mu kkooti lwa bukadde 914

 Ntaganda

Ntaganda

OMUGAGGA Ephrahim Ntaganda bamututte mu kkooti lwa bbanja lya 914,000,000/-, eryava ku ssente ezaafikka oluvannyuma lw’okutunda ebyobugagga by’omuntu gwe yali abanja.

Erieza Kaggwa ng’ayita mu bannamateeka be aba Onyango & Company Advocates, yaloopye Ntaganda owa E Towers mu Kkooti Enkulu ekola ku nkaayana z’ebyobusuubuzi ng’omusango guli fayiro nnamba CS 714/17.

Kaggwa yannyonnyodde nti nga August 24, 2011 yatuukirira Ntaganda amuwole 750,000,000/-, nga kuliko amagoba ga bitundu 15 ku buli 100 buli mwezi. Kyokka yalemererwa okusasula ebbanja nga bwe baali bakkaanyizza ne liwera 4,209,000,000/- Bakkiriziganya Kaggwa atunde ebyobugagga bye asobole okusasula ebbanja eryo n’amabanja amalala ge yalina.

Nga June 14, 2012 Ntaganda ne Kaggwa bakkiriziganya okutunda ettaka eriri ku poloti 74, 75, 76, 77, 49, 182, 181, 52, 46,141, 142,144, 145, 204, 169 ne 107 ku bbuloka 443 Kogero Busiro lya yiika 9.70 era lyatundibwa 7,100,000,000/-.

Kaggwa mu mpaaba ye agamba nti yalina amabanja amalala era bombi ne bakkiriziganya nti ssente ezivudde mu ttaka bazisasule bwe bati; Kenya Commercial Bank Ltd, efune 1,490,000,000/-, Real Life Company Ltd 27,000,000/-, FINCA (U) Ltd 60,000,000/- , ne Ntaganda yeesasule 4,209,000,000/-.

Obukadde 100 zisasulwe abasenze abaali ku poloti 77, obukadde 100 zisasulwe mukyala wa Kaggwa, nga ye Nnaalongo Allen Kitengo yalina okuweebwa obukadde 200 nazo zisasulwe abaali bamubanja abalala.

Ne kisalibwawo nti amabanja bwe gaggwa okusasulwa, Ntaganda awe Kaggwa bbaalansi wa 914,000,000/-, eyali asigaddeko kyokka nga n’okutuusa kati Ntaganda ssente akyagaanyi okuzisasula. Kaggwa kwe kusalawo okwekubira enduulu mu kkooti.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Muwonge (ku ddyo nga bw'afaanana) ng'abuusizza ddigi.

Mutabani wa Super Lady alaz...

FILBERT Muwonge, ng'ono mutabani wa kyampiyoni w'emmotoka z'empaka owa 2011 ne 2018, afuludde banne mu ddigi z'empaka....

Ebyana nga binyumirwa obulamu e Kamwokya.

Ebbaala zigyemye ne ziggula...

EBBAALA zeewaggudde ku mateeka agaayisibwa poliisi ku kutegeka ebivvulu ku lunaku lw'Amazuukira. Ekivvulu ekyamaanyi,...

Katikkiro Mayiga (mu kkooti) ng'abuuza ku Ssaabasumba Kizito Lwanga, minisita Muyingo. asembye ku ddyo ye Bp. Ssemwogerere.

'Ssaabasumba abadde assa ek...

Buganda ebadde esula Ssaabasumba Lwanga ku mutima era abadde omutumbuzi w'ennono n'obuwangwa. Mu kufa kwa Dr.Lwanga,...

Okidi ng'alya obulamu ne Nnaalongo we e Kalangala.

Bawangudde okulambula mu bi...

Oluvannyuma  lw'akazannyo akaategekebwa ekitongole ky'ebyobulambuzi mu ggwanga ekya Uganda Tourism Board akamanyiddwa...

Kibowa (mu kiteeteeyi ekya kyenvu) n'abakyala be yabadde asisinkanye.

Abakyala basabye Museveni a...

SSENTEBE w'obukiiko bw'abakyala mu ggwanga, Faridah Kibowa asabye gavumenti okubongera ssente kibayambe okwongera...