TOP

Omuzungu wa Vipers atuula bufoofofo

Added 15th September 2017

Omuzungu wa Vipers atuula bufoofofo

Vipers - BIDCO e Kitende

Soana - Bright Stars, Kavumba

VIPERS bwe yalemaganye ne Bright Stars (0-0) e Matugga ku Lwokubiri, omutendesi waayo Omuzungu, Miguel da Costa yeekwasizza kisaawe. Yagambye nti ekisaawe ky’e Mwereerwe okumpi n'e Matugga kibi nnyo nga kyalemesezza abazannyi be okusamba omupiira 'omuyonjo'.

Olwavudde ku ekyo ate n'awalalira ddiifiri Denis Batte nti yadibaze omupiira n'adda ne mu kati. Leero (Lwakutaano), Vipers ezannya omupiira ogwokubiri mu Azam Uganda Premier League ng'enoonya kimu buwanguzi okuzza omutima gwa nnyiniyo, Lawrence Mulindwa. Bakyazizza BIDCO mu St Mary’s Stadium e Kitende mu mupiira Miguel gw'alina okuwangula asigale ng'akyateekebwamu obwesige bw'okuwangula ekikopo.

Omupiira guno mukulu nnyo eri ttiimu zombi kuba buli emu yakoze maliri mu gwe yasookeddeko mu liigi. Ku ludda lwa Vipers, guno gwe gusoose mu kisaawe kyayo sizoni eno nga Miguel okutandika n’obuwanguzi abawagizi be yasuubizza ekikopo gye buvuddeko bamulabemu omulamwa.

Ekirala, Vipers yaguze abazannyi bangi nga singa ekubwa mu maka gaabwe, kyongera okussa Miguel ku puleesa. Miguel yakkirizza nti omupiira guno mukulu nnyo eri ttiimu ye kuba ebigendererwa byaffe kuwangula kikopo n'awera nti, "Tugenda kulwana tufune obuwanguzi kuba buli kimu tukikoze mu kutendekebwa.” BIDCO etendekebwa Kefa Kisala.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sheikh ng'annyonnyola okutalaka mu Busiraamu.

▶️ TAASA AMAKAGO: OKUTALA...

TAASA AMAKAGO: OKUTALAKA MU BUSIRAAMU KYE KI?

Lumbuye Nsubuga mmeeya wa Makindye Ssaabagabo (ku kkono), minisita Magyezi ne  Mbabazi RDC wa Wakiso nga balaga sitampu z’ebyalo ezaatongozeddwa.

▶️ Gavumenti etongozza si...

GAVUMENTI entongozza sitampu z'ebyalo, minisita wa Gavumenti ezeebitundu Raphael Magyezi n'alabula abakulembeze...

Owa LDU, Emmanuel Ogema (ku kkono), David Owiri (amuddiridde), Vincent Olenge ne Jakis Okot (ku ddyo) abaakwatiddwa.

▶️ Owa LDU bamukwatidde mu...

OMUJAASI wa LDU bamukwatidde mu kibinja ky'abakukusa amasanga n'ebitundu by'ensolo z'omu nsiko eby'omuwendo. ...

Papira (ku kkono), Acieng, Kobugabe ne Isaac Mukasa, akulira engule za Fortebet Real Star Monthly Awards. Mu katono ye Komakech.

Owa Hippos ajja kusinga Ony...

FLORENCE Acieng, nnyina wa ggoolokipa wa Hippos (ttiimu y'eggwanga ey'abali wansi w'emyaka 20), agambye nti mutabani...

Minisita Kitutu

Gavumenti yaakuwa abantu 30...

GAVUMENTI eyanjudde enteekateeka okuddamu okugabira amaka 300,000 mu byalo amasannyalaze okutandika ku Mmande ya...