TOP

Aggyiiridde mu mmotoka

Added 16th September 2017

Aggyiiridde mu mmotoka

EKIMOTOKA ky'amafuta ekibadde kiva e Hoima kiremereddwa ddereeva waakyo ne kigwa n'oluvannyuma ne kikwata omuliro ku kyalo Kagobe ekisangibwa mu ggombolola y’e Kapeke mu disitulikiti y’e Kiboga ku luguudo oluva e Kampala okudda e Hoima.

Ekimotoka kino nnamba KBB 236G kye kigudde wabula ddereeva waakyo ataategeerekese mannya ge aggyiiriddemu ate gw'abadde naye abadduukirize bamututte mu ddwaaliro e Kiboga ng’ali mu mbeera mbi nnyo era nga tasobola kwogera.

Tewali muntu yenna ategedde bikwata ku bantu bano bombi. Poliisi etuuse mu kifo kino wabula nga tekyalina ky'etaakiriza kyokka ne bafuba okuzikiza omuliro.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Chico ne mukazi we

Chiko bamuwonyezza okugwa m...

Kazannyirizi Frank Mubiru amanyiddwa nga Chiko awonye okugwa mu masiga n'okulya ebikomando. ‘‘Bannange ekintu...

Poliisi ng’eteeka ekiwuduwudu ky’omulambo gwa Kadiidi (mu katono) ku kabangali yaayo.

Akkakkanye ku jjajjaawe n'a...

Entiisa ebuutikidde abatuuze ku kyalo Rwengwe II ekisangibwa mu ggombolola y’e Kinkyenkye, mu disitulikiti y’e...

Poliisi ekyanoonyereza ku b...

OMWOGEZI w’ekitongole kya poliisi ekinoonyereza ku buzzi bw’emisango, Charles Twine yagambye nti okunoonyereza...

Kenzo ne banne. Mu katono ye Bobi Wine

Kiki ekiri emabega wa Kenzo...

Lubega agamba nti ekintu kya Kenzo kyapangibwa aba People Power okumusosonkereza nga bamujooga aggweemu essuubi...

Kenzo bye yayogedde ku Bobi...

Waliwo ne Bannayuganda abali emitala w’amayanja naddala Dubai abaamusabye aleme kuddamu kulinnya mu nsi zaabwe...