TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Eddwaliro ly'omutima litongozza wiiki y'ebikujjuko

Eddwaliro ly'omutima litongozza wiiki y'ebikujjuko

Added 18th September 2017

Eddwaliro ly'omutima litongozza wiiki y'ebikujjuko

 Abasawo b'eddwaliro ly'omutima e Mulago ng'abannyonnyola ku bujjanjabi bwebawa abantu abatawaanyizibwa endwadde z'omutima

Abasawo b'eddwaliro ly'omutima e Mulago ng'abannyonnyola ku bujjanjabi bwebawa abantu abatawaanyizibwa endwadde z'omutima

EDDWALIRO ly'omutima erimanyiddwanga  Uganda Heart Institute e Mulago batongozza wiiki nnamba ey’ebikujjuko olw’obuwanguzi obutuukiddwaako mu kujjanjaba obulwadde bw’omutima  nga kati endwadde z'omutima ebitundu 95 ku 100 zisobola okukeberebwa ne zijjanjabibwa mu Uganda. 

Dr. John Omagino dayirekita wa Uganda Heart Institute bwabadde ayogerako eri bannamawulire e Mulago ategeezezza nti, emabega obulwadde bw’omutima bwonna abantu bwebabadde bafuna ng’ekirowoozo kibeera kimu kugenda South Afrika ne Buyindi.

Agasseeko nti, ku ssaawa eno, obulwadde bw’omutima basobola okubukebera ate ne babujjanjaba ku ssente entono.

Agamba nti, obulwadde bw’omutima babwawulamu emitendera esatu okuli; obusobola okujjanjabibwa mu lunaku lumu omulwadde n’adda ewaka okugeza abaana abalina ekituli ku mutima, omutendera ogw’okubiri bebalina ebituli ebibiri n’obuwujjo bw’omutima obuliko obuzibu nabwo basobola okubujjanjaba mu lunaku lumu.

Ayongerako nti, omutendera ogw'okusatu bwebwo bwebajjanjabira mu mitendera okugeza singa omwana  aba alina omutima omulwadde nga balina okusooka okumujjanjaba newayita ekiseera nebamuddamu okutuuka lwawona era bano bokka mwebayinza okufuna abayinga nebasalawo okuwereza ebweru w’eggwanga.

Omogino agamba nti, musango oguyinza n’okusibya omuntu mu Uganda singa awandiikira omuntu ebbaluwa emukkiriza okugenda ebweru okujjanjabibwa omutima ng’ate obusobozi webuli mu ggwanga.

Agattako nti, omulwadde w’omutima yetaaga ddoola 5,000 eza Uganda 18,000,000/- ekiyambako omuntu okukkekkereza ssente z’ennyonyi n’ebyetaago ebirala ebweru w’eggwanga.

Entikko y’ebijaguzo yakuberawo nga September 29, ensi yonna lwegenda okujaguza olunaku lw’omutima.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ba Kansala ku district e Ki...

Ba Kansala ku district e Kiboga bakubye ebituli mu budget ya District

Emitimbagano gya Vision Gro...

Emitimbagano gya Vision Group okuli ogwa bukedde.co.ug ne newvision.co.ug gyakuggalawo ku wiikendi eno okutandika...

Ensonga za Brian White ez'o...

Ensonga za Brian White ez'okkabasanya abaali abakozi be zisajjuse

Engeri akasaawe k'e Mulago ...

Engeri akasaawe k'e Mulago gye kaalera Jimmy Kirunda

 Poliisi n’abatuuze nga bateeka omulambo gwa Mukiibi ku kabangali.

Afiiridde mu kibanda kya fi...

Afiiridde mu kibanda kya firimu e Mukono